TOP

Bobi Wine akungubagidde Kirumira

By Musasi wa Bukedde

Added 10th September 2018

BOBI Wine asinzidde mu Amerika gy’ajjanjabirwa n’akungubagira munywanyi we Mohammad Kirumira eyakubiddwa amasasi ku Lwomukaaga ekiro e Bulenga ku luguudo lw’e Mityana.

Kirumirabobi1 703x422

Bobi Wine ne Kirumira ng’akyali DPC wa Old Kampala.

Bya BASASI BAFFE
BOBI Wine asinzidde mu Amerika gy’ajjanjabirwa n’akungubagira munywanyi we Mohammad Kirumira eyakubiddwa amasasi ku Lwomukaaga ekiro e Bulenga ku
luguudo lw’e Mityana.
 
Bobi mu bubaka bwe yatadde ku mukutu gwe ogwa ‘Facebook’ yagambye nti, ‘Naakafuna amawulire ga mukwano gwange ateerya ntama ayogera kaati era omuserikale Mohammad Kirumira okukubwa anasasi. Kibi nnyo eyo y’ensi gye tulimu tewali ali mu mirembe ensi yaffe ekaaba musaayi kiruma nnyo.’
 
Bobi Wine yeegattiddwaako bannabyafuzi abalala okuli Loodi Meeya wa Kampala, Erias Lukwago eyagambye nti, naye mweraliikirivu eri obulamu bwe kubanga erinnya
lye wiiki ntono emabega lyafulumira ku lukalala lw’abalina okuttibwa.
 
Kyokka ekikwasa ennaku, abatemu batta abantu ne bafuna n’obudde obukakasa nti gwe baagala okutta bamusse ne bavaawo ng’ebitongole ebikessi ebingi mu ggwanga tebirina kye bikozeewo.
 
Ne pulezidenti wa FDC, Patrick Amuriat Oboi yatadde obubaka ku mukutu gwe ogwa ‘Facebook’ n’ategeeza nti, okuttibwa kwa Kirumira kiraze lwatu nti, ebyokwerinda
mu ggwanga bikyabuliramu ddala.
 
Yagambye nti, yeewuunya buli w’ayita mu kibuga alaba amagye agagumbye kyokka ne gatabaako kye gakolawo ng’abatemu batta Kirumira mu kabuga akali bbize e
Bulenga.
 obi ine ngajjanjabibwa mu ddwaaliro mu merika Bobi Wine ng’ajjanjabibwa mu ddwaaliro mu Amerika.

 

 
ABASAWO BAWADDE ESSUUBI KU BULAMU BWA BOBI WINE
Barbie Itungo Kyagulanyi muka Bobi Wine amujjanjaba mu Amerika yagambye nti, abasawo baabategeezezza nti, obulamu bwe tebweraliikiriza era embeera gy’alimu nnungi.
 
Ebiwundu bye mu bbanga ttono bigenda kuwonera ddala. Barbie yagambye nti, ku ssaawa eno, balindiridde ebinaava mu kukebera omusaayi kubanga gwe basinga okweraliikirira olw’empiso empitirivu ezaamukubwa abasawo b’amagye ze batakakasa ddagala ttuufu lyalimu.
 
Barbie ayongerako nti, abasawo babasuubizza okwongera okwekebejja omulwadde okulaba ng’awonedde ddala, okuva ku biwundu ebimuli ku mubiri okutuusa munda mu misuwa, amagumba n’ebitundu ebirala.
 obi ine ngalaga ebimu ku biwundu bye yafuna Bobi Wine ng’alaga ebimu ku biwundu bye yafuna.

 

 
EBIKWATA KU PEOPLE POWER
Bobi Wine yannyonnyodde nti, People Power kitegeeza eddembe ly’abo abanyigirizibwa, abaasoma nga tebalina mirimu, ebbula ly’eddagala mu malwaliro
n’ebintu ebirala ebinyigiriza Bannayuganda ebyetaaga okugonjoola.
 
People Power okukozesebwa tekitandikidde Uganda, amawanga mangi okuli Philippines mu 1986 baagikozesa okumaamulako Gavumenti ya Ferdinand Marcos.
Enkola eno esobola okubeera ey’obwegugungo obw’emirembe omutali kuyiwa musaayi oba okubeeramu akanyolabikya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Koma 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO AFULUMYE...

Tukulaze engeri gye baakutte Bobi Wine e Ntebe okumuleeta e Kampala. Eby’afande Kirumira poliisi ebiyingizzaamu...

4218619822279454041062156863652704476987392n 220x290

Abantu beeyiye mu maka ga Bobi...

ABANTU beeyiye mu maka ga Bobi Wine e Magere okumwaniriza.

Kirumiramuhammad 220x290

Amagye gakutte owa Flying Squad...

AMAGYE gakutte omuserikale wa Flying Squad agambibwa okuba mu by’okutemula Afande Muhammad Kirumira.

131736705311775037218421032422864993791094n 220x290

Omusajja gwe baakwatidde ewa Kirumira...

Francis Mayengo omusuubuzi wa sipeeya e Lubowa ku lw’e Ntebe okumpi ne Roofings yakwatiddwa bambega ba poliisi...

Unai 220x290

Emery asonze ku muzannyi gw'agenda...

Banega, muwuwuttanyi era Arsenal yeetaagayo omuzannyi anaaggumiza amakkati.