TOP

Boogedde ebikankana olwa Kirumira

By Ponsiano Nsimbi

Added 10th September 2018

ABASIRAAMU banyiize ne boogera ebikankana mu kusaalira Muhammad Kirumira era Mufti wa Uganda, Sheikh Shaban Mubajje n’abakunga nti buli omu gy’ali awanike emikono alaajanire Allah ataase eggwanga akaseerezi lye kalimu.

Besigye1 703x422

Besigye ng'ayogerera mu muzikiti gwa Old Kampala. Addirirddwa Mufti Mubajje. Mu batudde (asooka ku ddyo) ye Hajj Kawooya, kitaawe wa Kirumira.

Bya POSIANO NSIMBI NE HANNINGTON NKALUBO
ABASIRAAMU banyiize ne boogera ebikankana mu kusaalira Muhammad Kirumira era Mufti wa Uganda, Sheikh Shaban Mubajje n’abakunga nti buli omu gy’ali awanike emikono alaajanire Allah ataase eggwanga akaseerezi lye kalimu.
 
Okusaala kwabadde ku muzikiti gwa Old Kampala nga kwakulembeddwa Mufti yennyini Shaban Mubajje. Kwetabiddwaamu abanene okuli Dr. Kiiza Besigye, Juma Seiko, omumyuka wa Mufti Sheikh Mohamed Waisswa n’abakulu ab’enjawulo mu Busiraamu.
 
Mubajje yagambye nti embeera y’ebyokwerinda mu ggwanga buli lunaku yeeyongera kwonooneka kyokka ebisuubizo ebikolebwa tebituukirira. Omumyuka wa Mufti yasoose kutegeeza nti Abasiraamu battiddwa nnyo ate n’abalala bavundira mu makomera n’asoma olukalala lw’abattiddwa.
 
Yategeezezza nti abattiddwa bonna olukwe luba lupange kuba babatta mu budde bwe bumu ate n’enzita y’emu n’ategeeza nti Abasiraamu balabika balumbiddwa.
Yasabye Mufti alangirire edduwa ey’enjawulo kuba embeera esajjuse.
 
“Tulinze lipooti naye zonna tezirabika. Mufti ssebo tusaba olangirire edduwa ey’enjawulo era otukulemberemu tusabire eggwanga” Waiswa bwe yagambye.
 
Kino Mubajje yakikkirizza n’ategeeza nti obulumbaganyi obukoleddwa ku Basiraamu bususse. Mubajje yayogedde ku mugenzi ng’abadde ayagala ennyo eddiini ye era alumirirwa ennyo emirembe.
 mulambo gwa irumira nga gutuusibwa e ampalamukadde Omulambo gwa Kirumira nga gutuusibwa e Kampalamukadde.

 

 
Yategeezezza nti Kirumira alangiddwa kwogera mazima era yasiimye taata we okumukuliza mu ddiini n’amuyigiriza okwogera amazima. Yagambye nti abantu bangi abafudde nga teboogerwako kyokka nga tewali kikolebwa era ekibuuzo ekyebuuzibwa lwaki Abasiraamu bangi bafudde!
 
Oluvannyuma Mubajje yawadde Dr. Kiiza Besigye akazindaalo naye n’ayogera nti eggwanga liri mu mbeera mbi. Yagambye nti wateekwa okubeerawo ekikolebwa era amaanyi g’abantu singa galekebwa ebbali ne batayambibwa, ebintu bikyayongera okwonooneka.
 
Yagambye nti Kirumira abadde ddoboozi ddene ery’abantu abanyigirizibwa era abaagala okuyambibwa ssaako aboogera amazima.
 
Yagambye nti embeera eri mu ggwanga mbi era yeetaaga eky’enjawulo kikolebwe okutaasa abantu.
 
Ate taata wa Kirumira Hajj Abubakar Kawooya yeebazizza abantu okwagala mutabani we kuba byonna by’abadde akola eggwanga libadde libisiima.
 
Yategeezezza nti eggwanga lyetaaga okusabirwa ennyo kuba ettemu eririwo lisukkiridde era abadde tannaba kukiraba atuule akyefumiitirizeeko.
 
Yagambye nti wadde Kirumira afudde naye abalala tebasaana kuttibwa kubanga okufa kwe kufiirizza eggwanga lyonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lungujja 220x290

Ab'e Lungujja bafunye Ssentebe...

Kyaddaki Ssendawula zooni e Lungujja mu munisipaali y'e Lubaga efunye ssentebe

Kiibi 220x290

Fr. Kiibi avumiridde abakulisitu...

FAAZA Deo Kiibi asinzidde mu Kitambiro kya Missa gyayimbye mu kisomesa ky'e Kasangati, n'alabula abatanawasa okusooka...

Takoze 220x290

Waswa Bbosa takoze nkyukakyuka...

OMUTENDESI wa ttiimu y’eggwanga eyabatasuussa myaka 23 afulumizza ttiimu etandika egenda okuttunka ne South Sudan...

Cahill 220x290

Tim Cahill akaabye, ng'asiibula...

Cahill yali muwuwuttanyi wa ntomo, ateeba ggoolo era nga yeesigamwako ttiimu y'eggwanga eya Australia mu mupiira....

Mutebile2 220x290

Mutebile aleese ebiwandiiko ebitakwatagana...

Ebiwandiiko ebimu obwedda biteereddwako emikono gy'abantu (signature) kyokka nga tekuli mannya gaabwe nga kino...