TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kirumira yasoose kubuulira bantu be; Essaawa yonna banzita

Kirumira yasoose kubuulira bantu be; Essaawa yonna banzita

By Musasi wa Bukedde

Added 10th September 2018

Kirumira azze akikkaatiriza nti amanyi nti essaawa yonna attibwa, era mu February yategeeza bannamawulire nti: “Sikyalina mbeera gye ntya; bwe kuba kufa ndi mwetegefu. Bwe nfa abantu bange nnabalaze entaana yange w’enaayitira wansi w’omuyembe mbeere awo ‘mpowe’ mu kasiikirize”.

Kirumira1 703x422

Omugenzi Kirumira

Bya BASASI BAFFE
MUHAMMAD Kirumira yasoose kubuulira bantu be abamuli ku lusegere nti obudde
bwe bulabika buweddeyo, essaawa yonna attibwa!
 
Yabadde alaalikiddwa era mu be yategeezezza nti essaawa yonna asobola okutuusibwako obuzibu kwabaddeko nnyina Sarah Namuddu, kitaawe Abubaker Kawooya Mulaalo, nnamwandu Mariam Kirumira ne mikwano gye naddala abali mu byokwerinda.
 
Maj. Galabuzi Musisi eyafuuka mukwano gwa Kirumira oluvannyuma lw’okukwatibwa
ku by’okutta Kaweesi n’atulugunyizibwa wabula oluvannyuma n’ayimbulwa, y’omu
ku baayogedde ne Kirumira nga tannattibwa.
 
Kirumira yabadde awerekedde Galabuzi ng’agenda okwanjulwa e Kawuku ku lw’e Ntebe era yategeezezza nti baayogedde ku mbeera eriwo.
 
Maj. Galabuzi yagambye nti Kirumira yamugambye nti: “Omulabe tumugonzezza
anafuye, naye ekizibu talina feesi”.
 
Nti yamugattiddeko na bino: “Ekizibu ekiriwo, omulabe buli lw’abeera mu mbeera
eyo abeera wa bulabe kubanga abeera asambagala era asobola okukusamba!
 
Galabuzi yagambye nti Kirumira abadde alina ekiwandiiko kye yabadde atwalidde Pulezidenti gye buvuddeko, wabula abakola mu maka ge (pulezidenti) ne bamulemesa
okukimutuusaako.
 
wannyina wa irumira audah alukenge ngakaabaMwannyina wa Kirumira Saudah Nalukenge ng’akaaba.

 

YALAGA ABANTU W’ANAAZIIKIBWA
Mu mbeera ey’okulaalikibwa, Kirumira yagenda e Mpambire mu Mpigi n’alaga abantu ekifo we banaamuziika ng’afudde.  Ekifo ekyo kiri wansi w’omuyembe.
 
Azze akikkaatiriza nti amanyi nti essaawa yonna attibwa, era mu February yategeeza bannamawulire nti: “Sikyalina mbeera gye ntya; bwe kuba kufa ndi mwetegefu. Bwe
nfa abantu bange nnabalaze entaana yange w’enaayitira wansi w’omuyembe mbeere
awo ‘mpowe’ mu kasiikirize”.
 
AMAZE EMYAKA ESATU NG’ALI MU KUTYA
Mu 2015, Kirumira lwe yatandika okufuna obuzibu ne bakama be mu Poliisi, azze
akyogera lunye nti obulamu bwe buli mu matigga era azze abuulira aba famire ne
mikwano gye nti ekiseera kyonna bagenda kumutta.
 
Bannamateeka be; Jude Mbabazli ne Medard Seggona baategeezezza abakungubazi e Mpambire nti omugenzi yabazza mu kyama gye buvuddeko n’abategeeza nti ekiseera kyonna yali waakuttibwa, n’abasaba nti ne bw’aba attiddwa, ensonga zaabadde alemerako bafubanga okuzitwala mu maaso.
 
B’ANI ABAMUSSE?
Kirumira atutte akaseera ng’aliko abanene mu poliisi baalumiriza okuwagira abamenyi
b’amateeka era bwe yalekulira obwa DPC e Buyende, yategeeza bannamawulire
mu Februay 2018 nti Poliisi yali evunze okuva waggulu, n’agamba nti engeri
yokka ey’okugigogola ye Pulezidenti Museveni okugiyiwa okuviira ddala waggulu okutuuka wakatikkati.
 
Kyokka Omuduumizi wa poliisi ebiseera ebyo, Gen. Kale Kayihura yayanukula nti Kirumira by’ayogera tebiriimu kanigguusa.
 
Waayita omwezi gumu, Kayihura n’akyusibwa era n’akwatibwa nga June 13,
2018, okutuusa wiiki bbiri eziyise lwe yayimbuddwa mu kkomera ly’amagye e
Makindye.
 
Kayihura yagenda okugobwa nga bofiisi ba Poliisi abawerako era abaamannya bakwatiddwa nga ku basajja ba Kayihura abaakwatibwa kuliko; Nixon Agasirwe, Joel
Aguma, Benon Atwebembeire, Sgt. Abel Tumukunde, Faisal Katende, Col. Atwooki
Ndahura, Amon Kwarisima era abamu ku bano Kirumira yali azze abakolokota mu
lwatu.
 
Abakungubazi abeetabye mu mikolo egy’okusiibula Kirumira mu maka ge e Bulenga, ku muzikiti e Kampalamukadde, n’e Mpambire gye yaziikiddwa baalumiriza nti abasse Kirumira bantu ababadde banyigibwa olw’amazima gaabadde ayogera era abamu baatuuse n’okutegeeza Pulezidenti nti abasse Kirumira balina akakwate n’ekitongole kya Flying Squad.
 
Bwe yali mu kkooti ya poliisi ng’awozesebwa emisango egyamuggulwako ng’ali e Buyende, Kirumira yalumiriza nti abantu b’azze ayanika be bamujweteseeko ebisangosango.
 
Kino ky’aleese abakungubazi okwebuuza oba ddala abanene b’azze ayayogerako
abamulwanyisa mu poliisi be bamulukidde olukwe okuttibwa ne wabulawo awondera.
 
BALINA AKAKWATE KU BYA KAWEESI?
Bwe batta Kaweesi omwaka oguwedde, Kirumira yatandikirawo okweraliikirira.
Olumu yategeeza nti yali agenze ku kitebe kya poliisi e Naggulu nga Kaweesi yaakattibwa n’asisinkanayo ofiisa wa poliisi omu eyamukudaalira nti; “Ggwe obadde otusumbuwa nga bw’omala oddukira wa Kaweesi, kati tugenda kulaba gy’oddukira.”
 
Bino Kirumira yabitwala ng’okulaalika kubanga ofiisa nti yali akwatagana n’ekibinja kya Flying Squad ekyenyigira mu bumenyi bw’amateeka nga kikozesa emmundu.
 
Kirumira azze akoonagana n’abaserikale mu bitongole bibiri: Flying Squad ne Special Operations Unit ekyali kikulirwa SSP Nixon Agasirwe eyaggalirwa amagye ku misango gy’okuwamba Abanyarwanda n’abazza e Rwanda mu bukyamu.
 
Kirumira olumu yattunka ne Faisal Katende owa Flying Squad nti y’omu ku bakolagana n’abamenyi b’amateeka era akagugulano kaabwe kaatuuka wala okutuusa Kaweesi lwe yabakkakkanya.
 
Mu bya Kaweesi, abamu ku baakwatibwa nabo baali mu bitongole ebibiri ebyo:
Flying Squad ne Special Operations Unit.
 
Kigambibwa nti abadde alina obujulizi ku bikolobero by’abamu ku baali bakola mu bitongole ebyo obwekuusa ku butemu omuli n’okutta Kaweesi obugambibwa nti nabwo
bwandiba nga bwavuddeko obuzibu.
 bamu ku batuuze be ulenga mu kifo irumira we yafiiridde Abamu ku batuuze b’e Bulenga mu kifo Kirumira we yafiiridde.

 

 
ABAZIGU B’AZZE ALWANYISA
Kirumira era abadde agugulana n’abantu ab’enjawulo naddala bazze ng’alumiriza nti babbi okuli Pius Kato nga yamulumiriza okumutulugunya wabula abaserikale ne
bamuttira mu bubbi e Bweyogerere nga ne munne Majwega baamuttira mu babbira mu takisi.
 
Kiteeberezebwa nti ekibinja ekyo kinene era abamu babadde bamulaalika okumutta nga bawoolera eggwanga olwa bannaabwe abattibwa n’abakwatiddwa ne baggalirwa mu makomera.
 
Kirumira bwe yasindikibwa e Buyende nga DPC nga bamuggya ku Old Kampala, yalwana okulaba ng’adda mu Kampala era nga yagendako ne State House e Ntebe n’asisinkana Pulezidenti kyokka eby’okumuzza bakama be ne babirinnyamu eggere.
 
Okusisinkana Pulezidenti kyaddirira okutemula abakazi e Nansana ne Ntebe era abatuuze b’e Nansana ne beekalakaasa nga basaba babakomezeewo Kirumira amalewo ekitta bakazi.
 
Kigambibwa nti bwe yasisinkana Museveni yamuloopera ebintu bingi ebiri mu poliisi nga bizingiramu bakama be okukolagana n’abamenyi b’amateeka era nabyo yamuleetera obuzibu, nga tekimanyiddwa oba birina akakwate ku butemu.
 
Minisita Gen. Kahinda Otafiire bwe yali ku mukolo ku Old Kampala gye buvuddeko yasiima Kirumira nti tabeera kubeera ye, tebanditegedde “Kawuukuumi” ali mu poliisi.
Abakungubazi bangi baawunzise nti amazima g’abadde ayogera ge gaamussizza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190718192802 220x290

Okwogera kwa Pulezidenti Museveni...

Okwogera kwa Pulezidenti Musevebni eri eggwanga. Tuli mu maka g'Obwapulezidenti e Nakasero

Massagebeingdonewebuse 220x290

By'olina okutunuulira nga tonnakola...

Nakola masaagi ne ntemwako okugulu era ntambulira mu kagaali - Dr. Karuhanga

Omukubayizingalikobyanyonyolawebuse 220x290

Abawala abazaddeko mubazze mu masomero...

Abawala abazaddeko okudda mu masomero kyakuyigiriza abalala obutakola nsobi n'okubudaabuda abafunye obuzibu bwe...

Teekawo1 220x290

Akakiiko ka bannamateeka kasazizzaamu...

OLUKIIKO olufuzi olwa bannamateeka ba Uganda Law Society olukwasisa empisa lusazizzaamu ekibonerezo ky'emyaka ebiri...

Club 220x290

Vipers bagitutte mu kkooti lwa...

KIRAABU ya Vipers bagitutte mu kkooti lwa kukozesa akabonero kaayo (logo) nga tebasasudde yakakola. Era eyabawawaabidde...