TOP

Mutwegatteko tulwanyise obutemu - Poliisi

By Lawrence Kitatta

Added 10th September 2018

POLIISI eraajanidde Bannayuganda baveeyo bagyegatteko olulwanyisa ebikolwa ebyettemu ebigenda mu maaso mu ggwanga.

Kayima1 703x422

Kayima

Bya LAWRENCE KITATTA NE HANNINGTON NKALUBO
 
POLIISI eraajanidde Bannayuganda baveeyo bagyegatteko olulwanyisa ebikolwa ebyettemu ebigenda mu maaso mu ggwanga.
 
Bino omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Emilian Kayima, yabitegeezezza bannamawulire mu lukungaana olw’amangu olwatudde ku kitebe kya poliisi e Naggulu okwogerako eri eggwanga, ku kuttibwa kwa ASP Muhammad Kirumira.
 
Poliisi yategeezezza nti, Kirumira yakubiddwa amasasi agaamusse ku Lwomukaaga ekiro ne Resty Naalinnya nga naye mutuuze w’e Bulenga.
 
Kayima yagambye nti: “Ekikolwa ekyakoleddwa kyabadde kya bulumi nnyo eri buli omu era tukivumirira.”
 
Kayima yayongeddeko; “ Tugumya Bannayuganda mwenna nti abatemu abagenda mu maaso n’okutirimbula abantu tugenda kukola buli ekisoboka okubakwata bavunaanibwe”.
 
Kayima yagambye nti ebitongole byonna mu ggwanga ebikola ku byokwerinda
byegasse okulaba nga bikola ekisoboka kyonna okuzuula abatemu abaabadde emabega w’okutemulwa kwa Kirumira era agambye nti tebagenda kulemererwa.
 
Yagambye nti Kirumira yayingira poliisi nga January 29, 2005 nga yafulumira ku ddaala lya Constable.
 
Yakolako nga mbega era ng’emirimu gye yagitandikira Kibaale gye yaggyibwa
n’akolerako ku CPS mu Kampala oluvannyuma n’azzibwa mu baserikale abambala yunifoomu ya poliisi.
 
Kayima yannyonnyodde nti Kirumira bwe yali n’emisango egy’enjawulo gye yali attunka nagyo mu kakiiko ka poliisi akakwasisa empisa, emisango egimu gy’amuggyibwako ate emirala ne gimusinga era ne kirangirirwa nti yali waakuggyibwako amayinja abiri (2).
 
“ Wabula yajulira ku bibonerezo ebyamusinga, bwatyo n’asigaza amayinja ge era afiiridde ku ddaala lya Assistant Supretendant of Police (ASP).
 
Poliisi yasoose mu kafubo n’aba famire ya Kirumira abaakulembeddwa kitaawe, Abubaker Kawooya Mulaalo era bakkaanyizza ku nteekateeka ez’enjawulo omwabadde
n’ez’okumuziika.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Crisps4webuse 220x290

Kulisipu ze nsiika mu ndiizi mwe...

Okusoma ebya bizinensi nalina kusiika kulisipu za ndiizi ne nsoboa okusasula fiizi.

Kamunguluze 220x290

Bamuggunze eng'uumi n'awunga

TONY Bellew baamuwumizza ekikonde 'tonziriranga', ne kitakoma ku kumusubya musipi, wabula ne kimuleka ng'awunze....

Suzanmuwonge 220x290

Engeri Susan Muwonge gy’alidde...

Mu mpaka ezaawedde eggulo e Mbale, Super Lady (musomesa), yawangudde Mbale Rally bwe yavugidde essaawa 01:33:38...

Toronto 220x290

Mutabani wa Mesach ekintu akiwanise...

Katende ali ku misomo mu Toronto University mu Canada gye yalagidde obukugu mu kucanga omupiira era empaka zaagenze...

Ssekamatte1 220x290

Muwala ki ono akozesa Ssekamatte...

MU basajja abalidde obulamu, Grace Ssekamatte gwe baakazaako erya ‘Kirikitya’ tomubuusa maaso.