TOP

Museveni agumizza eggwanga ku byokwerinda

By Musasi wa Bukedde

Added 10th September 2018

PULEZIDENTI Museveni atuuzizza olukiiko olw’oku ntikko olw’Ebyokwerinda ne kisalibwawo nti engeri yokka ery’okumalawo ettemu ly’emmundu erikudde ejjembe, kwe kuddayo mu nkola enkadde ez’ekiyeekera ezaakozesebwa e Luweero ku batemu abatta abantu abatalina musango.

M7bulenga1 703x422

Pulezidenti Museveni (mu nkoofiira) ng’ayogera n’abatuuze e Bulenga we battidde Kirumira.

Bya AHMED MUKIIBI, STUART YIGA NE HENRY KASOMOKO
 
PULEZIDENTI Museveni atuuzizza olukiiko olw’oku ntikko olw’Ebyokwerinda ne kisalibwawo nti engeri yokka ery’okumalawo ettemu ly’emmundu erikudde ejjembe, kwe kuddayo mu nkola enkadde ez’ekiyeekera ezaakozesebwa e Luweero ku batemu
abatta abantu abatalina musango.
 
Olukiiko lw’ebyokwerinda Museveni yalutuuzizza ku ssaawa 4:00 ez’oku makya ku Ssande nga lwetabiddwaamu abakulira ebitongole byokwerinda byonna mu
ggwanga, ne baminisita abatwala minisitule ezeekuusa ku byokwerinda n’obutebenkevu.
 
Olwavudde mu lukiiko luno, Museveni yafulumizzaayo ekiwandiiko n’akakasa Bannayuganda nti abasse Afande Muhammad Kirumira, be yayise embizzi, bagenda kukwatibwa basasulire ebikolobero byabwe.
 
Yagambye nti akakodyo akaakozesebwa nga bali mu lutalo lw’ekiyeekera e Luweero
ke bagenda okukozesa ku batta abantu n’agamba nti enkola enkadde eza Poliisi mu kulwanyisa obuzzi bw’emisango si baakuzeesigamako.
 
Akakodyo k’e Luweero, Pulezidenti yagambye nti Gavumenti keegenda okugira nga yeeyambisa ng’eno kkamera ez’oku nguudo bwe zirindirirwa okusimbibwa mu
bitundu by’eggwanga ebyenjawulo okuyamba mu kulwanyisa ettemu n’obuzzi bw’emisango.
 
Museveni yannyonnyodde nti obuzibu businze kuva ku miwaatwa egiri mu byokwerinda abatemu gye beeyambisa okutta abantu ab’obwereere n’agamba
nti emiwaatwa egyo yagitegeeza eggwanga mu kwogera kwe eri palamenti nga June 20, 2018.
 bantu nga bakaabira irumira e ulenga Abantu nga bakaabira Kirumira e Bulenga

 

 
MUSEVENI E BULENGA
Museveni yatuuseeko e Bulenga abatemu abatannategeerekeka we baakubidde Kirumira amasasi agaamuttiddewo wamu n’omukyala Resty Naalinnya abadde
alina akaduuka ka Mobile Money mu kifo we bayita ewa Musoke.
 
Museveni, eyagudde obugwi ku ssaawa 5:00 ez’ekiro, yatambuzza bigere n’atuuka ku mmotoka mwe battidde Kirumira n’agyekebejja.
 
Yasoose kwetegereza bituli by’amasasi agaakubiddwa mmotoka ya Kirumira, oluvannyuma n’atandika okubuuza aduumira Poliisi mu Kampala n’emiriraano,
Kaminsona Moses Kafeero amunnyonnyole ekyabaddewo.
 
Abalala be yabuuzizza kwabaddeko akulira okunoonyereza mu Poliisi mu bitundu bya Kampala n’emiriraano, D/SSP Johnson Olal, Kaminsona w’ebyobukessi mu Poliisi, Fortune Habyara, wamu n’omubaka we atwala Wakiso, Rtd. Maj. David Matovu.
 
Ye akulira poliisi erwanyisa obutujju, AIGP Abbas Byakagaba mu kiseera ekyo yabadde ayita mu basajja be nga bw’abawa ebiragiro ebyokumukumu olw’ensonga nti, Pulezidenti teyalaze nti agenda kujja ekintu ekyabatadde ku bunkenke.
 
 
fiisa wa poliisi am mara e ulengaOfiisa wa poliisi, Sam Omara e Bulenga.

 

Ng’amaze okuwuliriza basajja be abapoliisi bye baamugambye, Pulezidenti yatambudde n’agenda abantu gye baabadde balingiriza ebyabadde bigenda mu maaso, okubasaasira ku kyabadde kiguddewo.
 
Engeri gye wataabadde bubonero bulaga nti yabadde agenda kujja, abantu abamu tebasoose kukikkiriza nti yabadde ye, wabula oluvannyuma baasembedde we yabadde
n’ababuuza oba waliwo eyalabye ku batemu amuyambe amuwe amawulire.
 
Mu kiseera kino, buli muntu yabadde ayogera kikye kyokka oluvannyuma waliwo abavubuka babiri abaavuddeyo ne bamutegeeza nti abatemu baabalabye nga
batambulira ku pikipiki.
 
Pulezidenti yayise abamu ku bakuumi be n’abakwasa abavubuka ababiri era nga mu kusiibula baagenze nabo mu mmotoka zaabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kig7 220x290

Omugagga Ham azzeemu ebibuuzo 20...

Omugagga Ham azzeemu ebibuuzo 20 ku katabo ke n'obulamu bwe.

Abamukubakulembezebekasawoababaddebeetabyemulukungaanaluno 220x290

Ab'e Kasawo bakukkuluma olw'ababasaba...

“Twetaaga okumanya ekituufu ku nsonga z’okwewandiisa oba nga ssente ziteekeddwa okusasulwa tusabe obuyambi okuva...

Kabuta2 220x290

‘Temwongeza bbeeyi ya nnyama ku...

Abatemi b'ennyama abeegattira mu kibiina kya, “Kampala Butcher Trader’s Association” (KABUTA) ekikulemberwa Sennabulya...

Ras22 220x290

Bakitunzi ba Rashford bamutaddeko...

Rashord, 21, yava mu akademi ya ManU okwegatta ku ManU kyokka waliwo ebigambibwa nti Barcelona emuperereza.

Barnabasnawangwe703422 220x290

Makerere University esabye Gav't...

YUNIVASITE y’e Makerere esabye gavumenti egyongere obuwumbi 47 ziyambe mu kukola ku by’okusasula emisaala gy’abakozi...