TOP

Abasumba ba balokole baabanguddwa mu bukodyo bw’okwekulaakulanya.

By Deo Ganyana

Added 11th September 2018

Abasumba ba balokole n'aba LC baabanguddwa mu bukodyo bw’okwekulaakulanya.

Owc 703x422

Lt. Gen. Charles Angina ng'asomesa

Lt. Gen. Charles Angina omumyuka w’akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’enkulaakulaana ekya ‘Operation Wealth Creation’ (OWC) awadde abantu abaagala okufuna obuyambi okuva mu kitongole kino okwekolamu ebibiina basabe obuyambi bwe beetaga.

Angina okwogera bino abadde asomesa Basumba okuva mu kkanisa z’Abalokole n’abakulembeze okuli aba LC ne bakansala mu musomo gw’olunaku olumu ogubadde ku Tick hotel e Kawempe.

Ng’oggyeko amagezi n’obukodyo bw’abawadde, afubye okubakuutira okuba abeerufu n’okukozesa obulungi ebintu ebibeera basobole okuganyurwamu.

 okuva ku kkono iraje semanda t en ngina ne ranklin ondo ugisha okuva ku kkono; Siraje Ssemanda, Lt. Gen. Angina ne Franklin Mondo Mugisha

 

Agasseko nti gavumenti ng’eyita mu kitongole kya OWC netegefu okuyamba bannaddini abavuddeyo okukyusa embeera yabwe n’ey’abantu basumbaala singa batuukiriza ebisaanyizo ebyetagibwa.

Omusomo guno gutegekeddwa abasumba Siraje Ssemanda owa Rivival Church Bombo ne Franklin Mondo Mugisha nga bayita mu kitongole kya Hands Across The World.

Omusumba Siraje asanyukidde amagezi agabawereddwa Lt. Gen. Angina nakubirizza basumba banne okutandikirawo okwekolamu omulimu  ne mu bantu be basumba basobole okuganyurwa mu pulojekiti za gavumenti okulaba nti bekulaakulaanya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Thursday991633393 220x290

Abalenzi baleebezza abawala mu...

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kifulumizza ebyavudde mu bibuuzo bya PLE ebiraze nti...

105190074ibraronepa 220x290

Zlatan acoomedde Ronaldo: 'Tolina...

ABAALIKO ba Sitta ba Man U batabuse omu n’acoomera munne okweyita kafulu nga talina ttiimu nafu mwe yali azannyidde....

Babuweb 220x290

Abeebikonde beebugira mpaka za...

Ttiimu z'ebikonde ez'enjawulo ziri mu keetalo nga zeetegekera okwetaba mu mpaka za National Boxing Open Championship...

Mugoodaweb 220x290

Bamusaayimuto banattunka mu mizannyo...

Bamusaayimuto e Jinja oluwummula baakulumalako nga basanyufu nga battunka mu mpaka za 'Go Back to School Gala'...

Bampa 220x290

Ekyakonzibya ebikonde bya Uganda...

KIZIBU munnabyamizannyo yenna okukkiriza kati nti omuzannyo gw’ebikonde gwatuusaako Uganda mu kifo ekyokusatu mu...