TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abasawo b’omu Amerika bawadde Bobi Wine ebiragiro

Abasawo b’omu Amerika bawadde Bobi Wine ebiragiro

By Musasi wa Bukedde

Added 12th September 2018

ABASAWO abakola ku mubaka wa Kyaddondo East, Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) mu Amerika mu Washington DC bamuwadde ebiragiro ne bamulabula nti bw’abivaako kijja kumubeerera kizibu okutereera.

Img201809060857062 703x422

Bobi Wine ne looya we

Ebiragiro bino biddiridde Bobi Wine okwongera okukaaba obulumi mu mugongo naddala wansi okumpi n’ekiwato. Obulumi obw’amaanyi bumumazeeko ennaku bbiri.

Bobi Wine abasawo baamukebedde ebitundu by’omubiri ebyenjawulo ne bazuula nti ennyama yayongedde okuyingira mu magumba g’oku mugongo kwe kumulagira adde mu ddwaaliro bongere okumwekebejja awatali kutaataaganyizibwa.

Abasawo bamugaanye okukwata amasimu, okwogera n’abaamawulire ssaako n’abantu ababadde bamukyalira okuggyako mukyala we Barbie Itungo.

Bwe twayogedde ne mukyala we Barbie, okusalawo kw’abasawo yakuwagidde olw’ensonga nti bba abadde atandise okwongera okukogga okutuusa abasawo bwe baamutegeezezza nti eddagala ly’akozesa lya maanyi nnyo eryetaaga okuwummula.

Kati buli lw’atawummula, lirina engeri gye limunywa. Bino we bijjidde nga waliwo ebigambibwa nti Bobi Wine abadde alina enteekateeka z’okugendako mu palamenti ya Amerika eya Congress annyonnyole ebyaliwo n’engeri gye yatulugunyizibwa. Bino byonna byayimiriziddwa okutuusa ng’ateredde.

ZAAKE AYONGEDDE OKUTEREERA

Ye omubaka wa Munisipaali ye Mityana, Francis Zaake ali mu ddwaaliro lya Manipal mu Buyindi embeera ye yeeyongera okulongooka.

Era yaggyiddwa mu kasenge k’abayi ne ku byuma. Dan Mugambwa, muganda wa Zaake yagambye nti omubaka Zaake agenda atereera ng’era kati asobola okwogera.

Yagambye nti yamukubidde ku ssimu ne banyumyamu n’amugumya nti ekiseera kyonna agenda kusiibulwa era akomewo ku butaka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wat2 220x290

Olukiiko olutegeka amazaalibwa...

Olukiiko olutegeka amazaalibwa ga Kabaka lulambudde Ndejje SS

Wab1 220x290

Atutte abakozi be ku poliisi ng'abalumiriza...

Atutte abakozi be ku poliisi ng'abalumiriza okumubba

Kab2 220x290

Bawambye abadde y'akakuba embaga...

Bawambye abadde y'akakuba embaga ne bamutta omulambo ne bagusuula mu kibira

Sanyu 220x290

Abatembeeyi basagambiza nga akimemezza...

MINISITA wa Kampala Beti Namisango Kamya alagidde buli mutembeeyi eyaggalirwa mu kkomera ku misango gya KCCA gimuggyibweeko...

Ekibiina ky'amawanga amagatte kifulumizza...

Ekibiina ky'amawanga amagatte kifulumizza alipoota ku mazzi n'obutonde