TOP
  • Home
  • Agawano
  • Omu ku bannamwandu ba Kirumira ayogedde: 'Omwana wange twamuzaala ng’ekijjukizo kya laavu yaffe'

Omu ku bannamwandu ba Kirumira ayogedde: 'Omwana wange twamuzaala ng’ekijjukizo kya laavu yaffe'

By Sarah Zawedde

Added 12th September 2018

NGA bw’etera okuba enkola ku bantu ab’amannya nga bafudde abakazi okutandika okuleeta bamulekwa ab’ebbali ne ku mugenzi Muhammad Kirumira kitandise.

Abaana1 703x422

Nakimbowa ng’asitudde mutabani we Kawooya.

Omu ku baggudde oluggi lw’okuleeta bamulekwa ba Kirumira ye Sarah Kevin Nakimbowa bw’aleese ebbujje lya mwaka gumu n’agamba aba famire naye tebamubuusa amaaso nga babala bamulekwa abalina okuyambibwa.

Omwana yabbulwa mu mannya ga Kirumira era ye Muhamad Kirumira n’amwongerako n’erya jjajja we erya Kawooya.

Nakimbowa agamba nti, omugenzi abadde muganzi we newankubadde ng’enkolagana yaabwe tebadde mu lujjudde kyokka yali yamupangisiza ennyumba ku luguudo lw’e Bombo era gye babadde basisinkana.

KIRUMIRA ABADDE ASUUBIRA OKUFA

Nakimbowa yagambye nti, Kirumira abadde akyogera lunye nti waliwo abantu abamutambulirako era ebiseera bwe tubadde tusisinkana ng’akihhamba nti essaawa yonna bagenda kumutta, wabula nga ky’asinga okweraliikirira kwe kuleka abaana be nga bakyali bato.

“Okumanya baze abadde atambulira mu kufa, bwe twazaala omwana ono yasalawo okumubbulamu amannya ge.

Bwe namubuuza lwaki asazeewo okukikola kwe kunziramu nti; Omuntu bwe yebbulamu amannya ng’akyali mulamu kitegeeza nti agenda kufa, ssinga sikikola kati balimanya batya nti ogwo musaayi gwange?” Nakimbowa bwe yagambye.

Wabula obulumi bwe ndiko kwe kuba nga simanyi bwe ndinnyonnyola mwana ng’akuze engeri kitaawe gye yafaamu.

TWAGALANYE EMYAKA 15

Nakimbowa yagambye nti, “twatandika okwagalana ne Kirumira emyaka nga 15 egiyise era omukwano gwaffe gwatandika nga tannaba na kuwasa.

Wabula omukwano gwaffe gwaddirira bwe yatwalibwa e Kagadi ne tuba nga tetukyalabagana bulungi naye ate bwe yakomawo ne tuddamu buto era mu nkwatagana eno mwe mwava okusalawo okuzaala omwana nga bwe twefumiitiriza ebbanga lye twagalanye nga tusaana okuteekawo ekijjukizo. Era mu August 2017 ne tuzaala omwana. Era Kirumira w’afiiridde nga mutabani we abadde yamwanjulayo dda mu bamu ku booluganda lwe ne jjajja we Mw. Kawooya muzzukulu we ono amumanyi bulungi.

OBUBONERO OBWALANGA OKUFA KWE

“Yankubira essimu ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde ne tumala ekiseera nga twogera ku nsonga ez’enjawulo. Twali tumaliriza okwogera kwe kuhhamba nti essaawa yonna agenda kufa kuba waliwo abantu abamulondoola era n’ankuutira okukuza omwana waffe n’obutatya okumulaga abantu n’ansiibula era lwe nasemba okwogera naye” Nakimbowa bwe yagambye.

Mu kwogera natuuse okumwekaanya nga bwe nakoowa emboozi ye ey’okufa, kuba ebadde temuva ku mumwa kumbe nabadde simanyi nti bye bigambo bye bye nsemba okuwulira.

Enkeera ku Lwomukaaga ku ssaawa nga 11:00 ez’akawungeezi n’ambuuza ku mbeera ya mutabani we.

Omwana ono naye kirabika abadde yafuna ekyebikiro kubanga amaze omwezi mulamba ng’akaaba buli kiro nga nneebuuza oba yabaaki kyokka okuva kitaawe lwe yafudde omwana tayazzeemu kukaaba kiro!

Wabula nange emisana nasiibye ndi munafu, era waliwo mukwano gwange gwe nabadde nnina okukyalira ne sigenda nga mpulira sirina maanyi.

Twabadde tukyayogera kwe kuhhamba nti akyali ku mukolo wabula waakuddamu okunkubira oluvannyuma.

Kyokka ku ssaawa nga 3:00 ez’ekiro omuntu eyabadde ku luguudo lw’e Mpigi (amanyi ku nkolagana yaffe) yankubidde essimu ng’ayagala okukakasa oba ddala Kirumira afudde.

Yagenze okunkubira nga sinnaba kukiwulirako, wabula amangu ago nakubidde omu ku booluganda eyankakasizza nti Kirumira bamukubye amasasi e Bulenga n’afa”.

Nakimbowa yaliko munnamawulire wa Star FM, Voice of Teso naye nga mu kiseera kino akola n’ekibiina ky’obwannakyewa ekiyamba abantu ku byobulamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190722173519 220x290

Banjoman muto wa Bobi Wine alina...

Banjoman muto wa Bobi Wine alina ke yeekoleddewo

Annotation20190722170617 220x290

Omwana eyattibwa aziikuddwa: Eyamutta...

Omwana eyattibwa aziikuddwa: Eyamutta abadde yamuziika mu nju

Annotation20190722170129 220x290

Ssentebe asobezza ku bazukulu be...

Ssentebe asobezza ku bazukulu be 2: Poliisi eyazizza amakaage ng'adduse

Dem2 220x290

Omukazi atuludde abasajja entuuyo...

Omukazi atuludde abasajja entuuyo

Hit2 220x290

Champion bagenze bakolima

Champion bagenze bakolima