TOP

Kirumira: Abakazi be 7 baleese abaana

By Musasi wa Bukedde

Added 12th September 2018

ABAKYALA abalala abalina abaana b’omugenzi ASP Muhammad Kirumira bakyesomba. Kati abaana baweze musanvu buli omu ne nnyina kw’ogatta abalala abana ab’omukyala wawaka Mariam Kirumira.

Abaana4 703x422

Mariam Kirumira (ku ddyo) ng’ali n’abaana be abana. Ku kkono ye mwannyina w’omugenzi Kirumira.

Abubaker Kawooya Mulaalo, kitaawe wa Kirumira, yagambye nti mutabani we yabadde akisuubira nti ssaawa yonna baze Bamutta, wabula mu kiseera kino asinga kweraliikkirira w’agenda okuggya ssente okulabirira bazzukulu be.

“Kirumira abadde alina abaana bangi naye ng’asobola bulungi okubalabirira era ng’abasomeseza mu masomero ag’ebbeeyi.

Kati ne bano baakandeeterako musanvu bokka n’abalala bakyaliyo ate nga bonna kumpi bali mu myaka gye gimu” Bwatyo Muzeeyi Kawooya bwe yategeezezza.

Yagambye nti, abaana bano be bamuleetedde bali wakati w’emyezi omukaaga n’emyaka ebiri wabula n’awa amagezi abakyala bonna abatannaba kuleeta baana ba mutabani we babaleete mu nnaku zino 40 nga tebannamulombera dduwa ate bwe wabaayo n’abali embuto bajje beeyanjule abamanye.

Yasabye pulezidenti Museveni okumudduukirira ku baana bano okulaba nga basoma, gattako okubategekera ebintu ebikalu omunaava fiizi kubanga yali asuubira nti ajja kumuyamba amuwe obukuumi okusinziira ku bbanga ly’amaze ng’amulaajaanira nti bagenda ku mutta.

 arah evin akimbowa omu ku bakazi abagamba nti irumira yabazaalamu abaana ano ngasitudde omwana gwayita uhammad irumira awooya owomwaka ogumu Sarah Kevin Nakimbowa omu ku bakazi abagamba nti Kirumira yabazaalamu abaana. Wano ng’asitudde omwana gw’ayita Muhammad Kirumira Kawooya ow’omwaka ogumu.

ABAANA BA KIRUMIRA 

1 Yasin Kalule myezi 6.

2 Baker Kawooya myezi mukaaga 6.

3 Shadia Nalukenge mwaka gumu n’ekitundu

4 Shahaz Nakawooya 1.

5 Hassan Jjungo 2.

6 Muhammad Kirumira 4.

7 Shira Nakawooya 4.

Abaana b’omukyala ow’omu maka Mariam Kirumira kuliko;

8 Sophia Naggayi 10.

9 Sauda Nalukenge 6,

10 Sula Kigongo Kirumira 4

11 Shakuru Kaweesi Kirumira (myezi musanvu) era y’abadde akyasembyeyo mu mukyala ono.

 itaawe wa irumira bubaker awooya ngali nabamu ku bazzukulu be abomugenzi irumira Kitaawe wa Kirumira, Abubaker Kawooya ng’ali n’abamu ku bazzukulu be ab’omugenzi Kirumira.

Buli mukyala olwamaze okwanjula omwana we ng’addayo era bajja kudda ku dduwa.

Wabula tusangirizzaawo abakyalla babiri nga baleese abaana okuli, Provia Kahenda ow’e Ntebe akola mu minisitule y’ebyokwerinda era nga yagambye nti, amaze ne Kirumira ebbanga lya myaka munaana wabula okuzaala kwasooka ne kugaana.

Wabula Katonda abadde yaakabawa omwana omu ayitiibwa Shahaz Nakawooya 1. Ne Saudia Karabia w’e Bwera ku booda ya Uganda ne Congo azaala Hassan Jjungo 2.

OMULANGA ERI ABAGAGGA

Muzeeyi Kawooya agamba nti, Kirumira abadde alina abagagga abamuyambako okumuwa ku ssente okuva lwe baamugoba ku mulimu n’abalala mikwano gye b’abadde akolagana nabo mu ngeri ey’enjawulo okuli Hajji Hamis Kigunddu [Ham] , Sofia Namutebi [Maama Fiina], Godfrey Kirumira n’abalala asabye baveeyo bamudduukirire waakiri buli omu aweerereko omwana omu asobole okulaba nga bazzukulu be basoma wano ne pulezidenti kw’anaatandikira.

 arabia ku ddyo nnyina wa jungo gwe yazaala mu irumira wano yabadde ne muganda we mu lumbe Karabia (ku ddyo) nnyina wa Jjungo gwe yazaala mu Kirumira, wano yabadde ne muganda we mu lumbe.

AMAZE WIIKI BBIRI NGA YEEKENGERA

Nnamwandu Mariam Kirumira yategeezezza nti, bba amaze wiiki bbiri ng’akyuse nnyo mu nkola y’ebintu bye.

Nga yatuuka n’okunnsyimiriza ne muwala waffe omukulu mu kiro ekyakeesa Olwokutaano okulaba oba amusinga obuwanvu era yakomekkerezza amukuutira kundabirira ne bato be ng’alinga atusiibula.

“Afande wange feesi ye ebadde epeeruuse nnyo ennaku zino wabula nga nange sitegeera bigenda mu maaso”, Mariam bwe yategeezezza oluvannyuma lw’okukomawo mu maka gaabwe e Bulenga mu Gogonya Zooni B ku lw’e Mityana.

Bwe yabuuziddwa ku by’abaana ab’ebbali, Mariam yagambye nti, takimanyi era abadde tabalabangako wabula n’agattako nti tabalinaako mutawaana kubanga bonna baana ate abatalina musango ekikulu kati kusalira wamu magezi ku nkuza yaabwe.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190722173519 220x290

Banjoman muto wa Bobi Wine alina...

Banjoman muto wa Bobi Wine alina ke yeekoleddewo

Annotation20190722170617 220x290

Omwana eyattibwa aziikuddwa: Eyamutta...

Omwana eyattibwa aziikuddwa: Eyamutta abadde yamuziika mu nju

Annotation20190722170129 220x290

Ssentebe asobezza ku bazukulu be...

Ssentebe asobezza ku bazukulu be 2: Poliisi eyazizza amakaage ng'adduse

Dem2 220x290

Omukazi atuludde abasajja entuuyo...

Omukazi atuludde abasajja entuuyo

Hit2 220x290

Champion bagenze bakolima

Champion bagenze bakolima