TOP

Famire ya Kirumira esaba bukuumi

By Musasi wa Bukedde

Added 12th September 2018

MINISITA w’obutebenkeevu Gen. Elly Tumwine agenze mu maka g’omugenzi Kirumira e Bulenga B, Gogonya n’akubagiza Nnamwandu Mariam Kirumira, abaana n’abazadde ba Kirumira.

Elly2 703x422

Gen. Elly Tumwine

Nnamwandu Mariam asabye Gen. Tumwine okubayambako mu kuzuula abasse Kirumira obwenkanya bukolebwe n’amusaba n’okubawa obukuumi nga famire kubanga bali mu kutya nti nabo bayinza okutuusibwako obuzibu.

Tumwine eyatuuseewo ku ssaawa 7:00 ez’emisana n’abakuumi be yeevumbye akafubo ne Nnamwandu akatakkiriziddwaamu bannamawulire.

Akafubo kaabaddemu ne maama w’omugenzi Sarah Namuddu.

Gen. Tumwine oluvannyuma lw’akafubo yasuubizza okuwa aba famire obukuumi era yawaddeyo ebbaasa y’amabugo.

Abantu ab’enjawulo eggulo baagenze mu maka ga Kirumira okusaasira aba famire era kuno kwabaddeko ne bannamagye ababadde mikwano gya Kirumira.

Kyokka abamu baalaze okutya olw’abantu abaakwatibwa ku by’obutemu abazze bayimbulwa be bagamba nti bandiba nga be battukizza embeera y’obunkenke n’obutemu obubadde bwasirika.

Mu ngeri y’emu abantu ab’enjawulo okuli n’aba takisi ssaako bodaboda baagambye nti, Mufti Shaban Mubajje teyakoze bulungi bwe yasabye nti ne Abdallah Kitatta ayimbulwe kubanga ekyo kirina kusalwawo kkooti ate nga waliwo abantu bangi abazze bamwemulugunyaako n’akabinja ka Bodaboda 2010.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Butwa2 220x290

Babateze obutwa mu busera, omu...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Katuulo mu ggombolola y'e Kyazanga mu disitulikiti y'e Lwengo omuntu atanamanyika...

Nakiwala 220x290

Nakiwala avuddeyo ku mwana omubaka...

Minisita Nakiwala Kiyingi waakukaka omubaka Onyango okulabirira omwana gwe yasuulawo.

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...

Newsengalogob 220x290

Ayagala tuddiηηane

WALIWO omusajja twali twagalana n’awasa omukyala omulala ne bazaala n’abaana naye kati yakomawo gyendi nti ayagala...

Newsengalogob 220x290

Sikyafuna bwagazi kwegatta

Naye ng’omwami wange alina abakyala abalala basatu nze takyanfaako era agamba nti abakyala abalala bamusanyusa...