TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Lwaki Kirumira teyaziikiddwa mu bitiibwa bya poliisi

Lwaki Kirumira teyaziikiddwa mu bitiibwa bya poliisi

By Musasi wa Bukedde

Added 12th September 2018

ENKOLA ya poliisi nga bakungubagira n’okuziika omuserikale ‘mayinja’ erina obulombolombo obugobererwa.

Kiba 703x422

Abaserikale nga baddusa omwogezi wa poliisi, Kayima mu kuziika Kirumira.

Muno mwe muli okusitula omulambo n’okukuba amasasi.

Wabula mu kuziika Muhammad Kirumira, bino byonna tebyakoleddwa ekireeseewo okwebuuza nti lwaki! Kirumira yafiiridde ku ddaala lya Assistant Superintendent of Police (ASP).

Ofiisa ow’eddaala lino, poliisi eronda abaserikale abali ku ddaala lye limu be basitula omulambo.

Omuserikale ali ku ddaala erya wansi akulemberamu ng’asitudde ekifaananyi ky’omugenzi olwo ne kuddako omulala asitula ekiso n’enkoofiira y’omugenzi, okusinziira ku mwogezi wa poliisi Emilian Kayima.

Abaserikale bwe bamala okuteekayo omulambo e magombe, wabeerawo okukuba amasasi mu bbanga.

Eddaala Kirumira kw’afiiridde baabadde balina okukuba amasasi 18 naye tekyakoleddwa.

Embeera eno Kayima yaginnyonnyodde bwati: “Kyennyamiza nti omuserikale omutendeke nga Kirumira teyaziikiddwa mu bitiibwa ebijjuvu kuba abantu baalemesezza enteekateeka eno. Era tuvumirira abo abekiise mu kino,” Kayima bwe yategeezezza.

Yagambye nti omulambo gwa Kirumira nga tegunnatwalibwa kuziika, poliisi yasoose n’esisinkana abooluganda lwe abaakuliddwa kitaawe Abubaker Kawooya ne babaako bye bakkaanyizzaako.

Muno mwabaddemu poliisi okutwala obuvunaanyizibwa okukulemberamu emikolo gy’okuziika wabula bwe baatuuse e Mpambire ng’abantu ne bannabyabufuzi omukolo bagwefuze.

Yagasseeko nti poliisi yatutte abaserikale abaabadde bagenda okusitula omulambo gwa Kirumira (Pole Bearers) wamu n’abaabadde bagenda okukuba amasasi ng’akabonero akalaga nti basiibula omuserikale omutendeke era baabadde bagenda kumukubira amasasi 18 wabula kino nakyo baakibalemesezza. Era poliisi teyawadde bubaka bwayo mu butongole.

FAMIRE EYOGEDDE

Ne Jamirah Najjingo, mwannyina w’omugenzi Kirumira, yategeezezza nti poliisi baabadde nayo era abaserikale abaabadde balina okusitula omulambo baabaddewo okuva ku ggwanika e Mulago, okugenda ku muzikiti n’okugenda okuziika nga bali mu bbaasi kyokka embeera yabalemesezza.

Taata wa Kirumira, Abubaker Kawooya yategeezezza nti yatudde n’abakulu mu poliisi ne bakkiriziganya poliisi ekole ku bintu byonna kyokka amaanyi g’abakungubazi ge gaakyusizza ebintu ne babagoba.

Yagambye nti famire teyabadde na mukono gwonna mu kugoba bakungu wabula bangi baabadde banyiivu.

KAYIMA AVUMIRIDDE EFUJJO ERYABADDE MU KUZIIKA KIRUMIRA

Abantu baatabukidde Kayima ng’agenze mu kuziika Kirumira ne bamukasuukirira amayinja.

Minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga Jeje Odongo naye tebaamutalizza. Era abakuumi be baamuggyeewo ne bamulinnyisa kabangali ya poliisi nga tali na mu ngatto ne bamuddusa.

Kayima yagambye nti embeera eno waabaddewo abaagikumyemu omuliro era ng’abaakoze kino bannabyabufuzi.

“Twabadde tusobola okukwata bonna abaakoze effujjo mu kuziika Kirumira naye obutaleetera bantu kuva mu mbeera, abaserikale abaabaddewo twabagaanyi okukuba omukka ogubalagala yadde okukwata omuntu yenna kwe kusalawo minisita n’abaserikale abalala okuvaayo ne tugenda.”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Yop2 220x290

Production beetisse ekyemizannyo...

Production beetisse ekyemizannyo mu Vision Group

Nan1 220x290

OLuyimba lwa tukiggale lutabudde...

OLuyimba lwa tukiggale lutabudde Carol Nantongo ne Racheal Namiiro

Seb2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'ekinzaali okulwanyisa alaje

Kab3 220x290

Ebyabaddewo ng'aba Poliisi bagobwa...

Ebyabaddewo ng'aba Poliisi bagobwa mu palamanti

Fub2 220x290

Entalo ezibadde mu ssomero ery'ayidde...

Entalo ezibadde mu ssomero ery'ayidde e Rakai