TOP
 • Home
 • Agawano
 • Ebigambo bya Muhammad Kirumira ebitajja kwerabirwa

Ebigambo bya Muhammad Kirumira ebitajja kwerabirwa

By Musasi wa Bukedde

Added 12th September 2018

ASP Kirumira abadde musajja wa bigambo era bino by’ebimu ku bijja okusigala nga bimujjukirwako:

Taata1 703x422

Kirumira (wakati), Godfrey Nyakana ne Bob Wine ku (ku kkono) mu bikonde e Lugogo nga April 17, 2016.

 • Okukwata Kayihura kisobola okuyambako okumalawo ettemu kyokka mu poliisi kawukuumi akyalimu mungi ...
 • Nja kugenda mu miritale nkole sitetimenti, Kitatta mmumanyi yakuba abantu nga mmulaba, kwaliko ab’ekibiina kya Century ne Safe Boda.
 • Nze tebambala neewummuza, buli agezaako okuntataaganya waali? Kayihura waali?
 • Bwe wabeerawo ekyetaagisa okufiirira eggwanga nze nja kugenda, lyo lisigale. Nabagamba mu poliisi mulimu ababbi ne bawakana, nze nasooka okuwa pulezidenti lipooti nti mulimu ababbi nga Kitatta n’abalala. Bwe baamukwata okumutwala okuvunaanibwa mu kkooti ya poliisi yabagamba; Mwategeeza nti temunneetaaga mu poliisi ne mbaviira, ate kati munjagaza ki?
 • Nze nkyaliyo mu luwummula lwe nneewa okutuusa nga pulezidenti ampise. Nkyayongera okuwa ekifaananyi ku biri mu poliisi.
 • Ndekulira mu poliisi olw’okutulugunyizibwa, buli kiseera munteekako emisango. Kale nze omubi kahhende mbalekere ba Kitatta ne Sobi, eggwanga lino nsobola okuligattako ettoffaali nga ndi mu kifo ekirala ng’omubaka wa palamenti.
 • Bansibira e Nalufenya nga balowooza nti nja kufiirayo, amazima gange sijja kugavaako. Ng’enda kulwanagana n’abasajja abanene okutuusa nga mbatadde ku ttaka.
 • Lwe bamutta ekiro yaweerezza abaamawulire obubaka; “Baganda bange mwenna ne bannyinaze abaamawulire mbayozaayoza...bayiseemu mbayozaayoza n’abatayiseemu nti muyise mu mitendera gy’akalulu egitaliimu mivuyo.”
 • Mufube nnyo okulaba ng’ekifaananyi kya poliisi kitereera si kwekangabiriza. Ndaba engeri gye mukwatamu bodaboda mubakwata bubi, gye mukutte leero n’enkya mugiddamu... mujja kubisasulira.
 • Bwe kibeera ng’okutereeza ekifaananyi kya poliisi kyetaaga kusaddaaka abamu ku ffe, nze banziika Mawokota e Mpambire wali e Mpigi mujjanga ne munziika.
 • Nze seetaaga bakuumi Allah yekka y’amanyi.
 • Sigenda kudda mu poliisi kubakolera okuggyako nga pulezidenti Museveni yennyini y’ampise.
 • Omuntu bw’abeera alina ky’akoze nga bamwagala ng’akozesa amaanyi amangi bagamba nti ky’akoze kituufu bwe babeera tebakwagala n’obeerako ky’okoze nti eyo si nkola yaffe.
 • Bwe baba kkooti bagiggaddewo tebaagala baamawulire kuyingira kitegeeza nti ensi erimu ebitannaba kutereera. Okubeera mu poliisi si mulimu gwa kwebaka mu mifulejje n’okusula mu kasasiro.
 • Bw’osirika bakutta ne bw’oyogera era bakutta, waakiri nja kufa ng’abantu bafunye obubaka bwange.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pliz 220x290

Yinginiya w'ekizimbe ekyatta abantu...

YINGINIYA w’ekizimbe ekyagwa ne kitta abantu 13 e Kansanga asimbiddwa mu kkooti n’avunaanibwa emisango 19 egy’okulagajjala...

Church 220x290

Eyavunaanibwa ne RDC Sakwa naye...

OMULAMUZI akulira kkooti ento mu Jinja, Jesca Chemeri ayimbudde omu ku basajja ababiri abavunaanibwa ne RDC wa...

Run 220x290

Owa Poliisi aggyiddwa mu ofiisi...

AMYUKA ddayirekita w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango ekya CID, Joseph Obwona aggyiddwa...

Ugx 220x290

Nameere asonyiye Faridah Nakazibwe...

JUSTINE Nameere asonyiye Faridah Nakazibwe omukozi w’oku Ttiivi bwe bamaze ekiseera nga bagugulana kyokka ono amulabudde...

Bwetyo 220x290

Dokita w'e Mbale atemuddwa mu ntiisa!...

ENTIISA ebuutikidde abatuuze b’e Namatala mu munisipaali y’e Mbale, omusawo ate nga mutuuze mu kitundu kino, bw’asangiddwa...