TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Palamenti esiimye Kirumira: Ababaka batadde minisita ku nninga annyonnyole ku by'okumutemula

Palamenti esiimye Kirumira: Ababaka batadde minisita ku nninga annyonnyole ku by'okumutemula

By Musasi wa Bukedde

Added 12th September 2018

ABABAKA ba Palamenti basiimye emirimu ASP Mohammed Kirumira gy’akoledde eggwanga ne batendereza n’obuvumu bw’abadde akozesa okulwanyisa abamenyi b’amateeka.

131736705311775037218421032422864993791094n 703x422

Omugenzi Kirumira Muhammad

Palamenti eggulo ng’ekubirizibwa Sipiika Rebecca Kadaga yalaze okutya olw’embeera y’ebyokwerinda eri mu ggwanga ne basaba wabeewo ekikolebwa eky’amangu okumalawo ettemu erisusse.

Omubaka Theodore Ssekikubo yagambye nti eggwanga liri ku bunkenke kubanga omunene n’omutono bonna battibwa.

Ababaka okuli Joseph Ssewungu ne Florence Namayanja baatenderezza obuvumu bwa Kirumira naye ne bakolokota Gavumenti obutakola kimala kumalawo butemu omuli obw’emmundu, obw’ebijambiya, obutayimbwa n’obumenyi bw’amateeka obulala.

Ababaka baatadde Minisita omubeezi ow’ensonga z’omunda Obiga Kania ku nninga annyonnyole ku by’okutemula Kirumira kubanga azze alaga okutya nti baagala kumutta naye n’atayambibwa.

Kania yasuubizza okutegeeza Palamenti ebinaaba bituukiddwaako ku nsonga z’abaatemudde Kirumira mu nnaku bbiri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabenje3 220x290

Omu afudde mu kabenje ka loole...

LOOLE ya seminti eyingiridde ey’omusenyu ku lw’e Masaka okukakkana ddereeva omu n’afiiriwo ate abalala 5 ne baddusibwa...

Kleziabobi1 220x290

Bobi Wine atutte famire mu Klezia...

Bobi Wine agenze mu Klezia e Gayaza n’agamba nti agenda kuttukiza okuwakanya omusolo gwa ‘Mobile Money’ kubanga...

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...