TOP
  • Home
  • Amawulire
  • ‘Abaana ba Kirumira tubakebeza maaso okubakakasa’

‘Abaana ba Kirumira tubakebeza maaso okubakakasa’

By Paddy Bukenya

Added 12th September 2018

OMUWENDO gw’abaana b’omugenzi Kirumira gweyongedde, omukazi omulala bw’aleese omwana ow’omunaana ne bawera omugatte gwa baana 12 ate omulala n’ayanjulira ssezaala we olubuto lwa myezi esatu.

Ta 703x422

Kawooya (taata wa Kirumira) n’abamu ku baana be baakakasizza. Ku ddyo, Najjingo (ssenga wa Kirumira), omu ku bakebera abaana.

Owoolubuto yayitiddemu taata Abubaker Kawooya engeri gye baakwatagana ne mutabani we kati omugenzi Kirumira.

Okusinziira ku ssenga w’abaana bano Dimintiria Najjingo (mwannyina wa Abubaker Kawooya), abaana b’omugenzi Kirumira abaaleeteddwa okuva ng’afudde baweze munaana.

Kuno kwe bagasse n’omukazi eyazze n’olubuto olw’emyezi esatu era ono nti yalaze n’obujulizi ku ssimu obulaga nti abadde n’enkolagana ey’enjawulo ne Kirumira.

Najjingo yategeezezza nti, abaana bonna abaaleeteddwa oluvannyuma lwa Kirumira okufa baakakasiddwa mu kika era tewali gwe babuusabuusa nti si waabwe kubanga abaana bonna balina obubonero obw’enkukunala obulaga nti ba kika.

“Abaana abaffe tebabula, era bwe twabakebedde bonna twazudde ba mu nju,” Najjingo bwe yakkaatirizza.

“Eyazze n’olubuto naye twamukkirizza era tugenda kulaba ng’afuna obuyambi kyokka okukakasa nti omwana wa Kirumira alina kusooka kuzaala ne tusooka tumukebera, bwe tumukakasa nga tumuwa erinnya ly’ekika” Najjingo bwe yagambye.

Najjingo yategeezezza nti, omugenzi Kirumira abadde alina aba famire b’ategeeza ku byama bye era beesigamiziddwaako nnyo ne mu nsonga z’abaana okukakasa nti abaleeteddwa bonna bamulekwa ba Kirumira.

Kino kitegeeza nti ssinga omwana ono azaalibwa ne bamukakasa nti wa Kirumira, omuwendo gujja kulinnya okutuuka ku 13 ab’ebbali mwenda ng’obagasse ku bana ab’omukyala ow’awaka Mariam Kirumira.

Abaana omusanvu abaasoose okuleetebwa ku Mmande kuliko: Yasin Kalule wa myezi mukaaga, Baker Kawooya myezi mukaaga, Shadia Nalukenge mwaka gumu kitundu, Shahaz Nakawooya 1, Hassan Jjungo 2, Muhammad Kirumira 4 ne Shira Nakawooya 4.

Bazaalibwa abakyala ab’enjawulo okuli Sarah Kevin Nakimbowa eyaleese omwana omu Kirumira Kawooya, Provia Kahenda omwana omu ne Saudia Karabia eyaleese omwana omu okuva e Bwera ku nsalo ya Uganda ne Congo.

BAAGALA GAVUMENTI EWEERERE ABAANA BANO

Najjingo yagambye nti, nga tebannawanjagira muntu yenna kubawa buyambi, gavumenti esaanye okuweerera abaana ba Kirumira n’okubalabirira kubanga kitaabwe yafiiridde ku mulimu ate ng’abadde muweereza mulungi.

Ayongerako nti, ekika kyonna kibadde kiyimiridde ku Kirumira nga bonna bamulinamu essuubi ery’enjawulo okuli okuyamba abantu be naddala bazadde be be yali yasuubiza okuzimbira amaka ag’ekitiibwa n’abalala b’abadde aweerera, kyokka yabalese ttayo, kati batunuulira jjajjaabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...