TOP

Poliisi ewadde amataaba ga bukadde 5

By Joseph Mutebi

Added 12th September 2018

POLIISI ekubagizza kitaawe w’omugenzi Muhammad Kirumira n’obukadde butaano bumuyambeko okuzzaawo ku ssente ze yakozesezza mu kuziika omuserikale waabwe kubanga tebaasobola kutuusa bubaka buno olw’embeera abantu baabulijjo gye baabayisaamu.

Babe 703x422

Kawooya (wakati) ne batabani be nga bava okunona ssente ku kitebe kya poliisi e Naggulu.

Ssente zino ku lwa poliisi Hajji Kawooya zimukwasiddwa akulira abakozi mu poliisi AIGP Moses Balimwoyo.

Mu kuzimukwasa, Balimwoyo ategeezezza nti, Kirumira abadde muserikale ayagala omulimu gwe era poliisi yaakumusubwa.

Ye Hajji Kawooya yagambye nti, wadde mutabani we yalina obutakkaanya n’abapoliisi abamu naye ekibi kyazze era tayinza kudda mu kulwana ntalo. Wabula n’asiima amataaba agamuweereddwa.

N’ategeeza nti zaakumuyamba okusasula amabanja agasukka mu bukadde omukaaga obwakozesebwa mu kuziika z’abadde anoonyeza mu kiwato ng’amazina.

Yagambye nti, talina ky’ababanja kubanga abasse Kirumira tabamanyi era asuubira nti engeri pulezidenti Museveni gy’ali mukwano gwe ng’omuntu era ng’abadde mukwano gw’omugenzi, ajja kukola ekisoboka okubakwata.

Yasabye Museveni okuyamba ku baana ba Kirumira kubanga abadde muserikale we era ssinga tavaayo kubayamba batuuse obutasoma olw’obutabaawo busobozi kubaweerera.

Agambye nti Kirumira yamulaamira okukuza abaana be ate nga bangi.

Dduwa ya Kirumira yaakulombebwa nga October 21, 2018, n’asaba abaziirakisa bamudduukirire n’obusobozi bw’ensimbi ku ssimu ze 0772394982 ne 0703878544 mu mannya ga Abubaker Kawooya, okumuyambako munteekateeka za dduwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sev3 220x290

Museveni agguddewo olusirika lwa...

Museveni agguddewo olusirika lwa NRM

Kab2 220x290

Ababadde bazze okupima ettaka emmotoka...

Ababadde bazze okupima ettaka emmotoka yaabwe bagikumyeko omuliro

Lab2 220x290

Kirya yeesozze "quarter" za Uganda...

Kirya yeesozze "quarter" za Uganda Cup n'okontola

Pop1 220x290

Okusunsula abayizi abagenda mu...

Okusunsula abayizi abagenda mu S5 kuwedde

Lop2 220x290

Ababbi balumbye ebyalo abatuuze...

Ababbi balumbye ebyalo abatuuze ne battako omu