TOP

Abadde afera famire ya Kirumira bamukutte

By Musasi wa Bukedde

Added 12th September 2018

WALIWO omusajja eyawulidde okutemula kwa Muhammad Kirumira n’alabawo omuwaatwa w’ayinza okuliira.

Kiru 703x422

Abooluganda nga bakungubagira omugenzi

Obudde bwe bwawungedde ku Mmande n’agenda mu maka g’omugenzi n’abategeeza nti mujaasi azze kunoonyereza ku ngeri gye baatemuddemu omuntu waabwe.

Muganda w’omugenzi ayitibwa Mahad Mugenyasooka yategeezezza nti, omusajja ono yategeerekeseeko erya Kateete ate oluusi yeeyita Mugisha.

Baasoose kumulaba ku lunaku lwe baatemula Kirumira nga yeefudde afaayo ennyo.

Mugenyasooka yagambye nti, baasisinkana agenda Lubaga gye baali batutte Kirumira ne wabaawo omusajja owa booda eyamwesoose okumutwalako ku bwereere e Lubaga.

“Bwe yantuusizza e Lubaga yanninze oluvannyuma lw’esssaawa nga bbiri n’amala n’antwala e Mulago ku ggwanika era y’omu ye yankomezzaawo e Mulago enkeera.

Yaddira ekikooti kye yalina n’akimpa olw’empewo wabula bwe twatuuka awaka ne ngimuddiza”. Bwatyo Mugenyasooka bwe yagambye.

Yayongeddeko nti, yasazeewo okubeesibako n’asulawo era n’ababuulira nti mujaasi ali ku ddaala lya meeja (Major) era akolera mu maka ga Pulezidenti.

Yagambye nti, tebaasoose kumufaako naye ku Mmande ekiro baatandise okumwekengera kuba abantu abaabadde bazze okubakungubagirako baabadde baweddewo awaka naye nga ye agaaniddewo ne batandika okumubuuza bw’abadde ayita omugenzi Kirumira nga tanyega.

Kyabawalirizza okumuggyako essimu, era okugikebera ng’erimu amasimu g’abajaasi n’abapoliisi abanene mu ggwanga.

Okwongera okumwaza ng’alina n’ebbaluwa ya poliisi emulaga nti ali ku kakalu ka poliisi okuva ku poliisi y’omu Kisenyi nga baamuyimbudde wiiki ewedde.

Amangu gano abaamagye abaaweereddwaayo Lt. Gen Henry Tumukunde eri famire ng’abaleetedde obuyambi baamukutte ng’abatuuze batandise okumutimpula n’atwalibwa mu kifo ekyekusifu.

Wabula abamu ku baalabise nga bamumanyi baagambye nti, yali wa bodaboda ng’avugira mu maaso ga poliisi y’e Kibuye nga ku “Prayer Palace” nga yeeyita Mugisha. Era omusajja ono abadde alabibwako nnyo mu nkuhhaana za bannabyabufuzi abavuganya gavumenti era abantu abamu mu Kampala bamumanyi ng’omujaasi.

Muky. Sarah Kalule ssentebe w’e Bulenga B, Kirumira mw’abadde asula yagambye nti; Mu wiiki nga bbiri emabega Kirumira yamutuukirira n’amutegeeza nga bwe waliwo abatemu abamulondoola ku pikipiki ennene era n’amuwa amagezi okugenda ku poliisi aggulewo omusango era tamanyi oba yakikola.

Kuba ye omusango gwali munene nga tasobola kuba na buyambi bwonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...