TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Owa Poliisi eyakolako ne Kirumira afudde kikutuko

Owa Poliisi eyakolako ne Kirumira afudde kikutuko

By Henry Kasomoko Henry Kasomoko

Added 12th September 2018

Nansaba nga tannatwalibwa Kayunga yakolerako mu Kampala ku poliisi ya Kira Road gye yamala emyaka egiwera ng’era yakolako nga DPC wa poliisi eno oluvannyuma lw’eyali agikulira, SP Micheal Kasigire okusindikibwa mu kutendekebwa.

Peace3 703x422

Abamu ku baserikale ba poliisi mu kusabira omwoyo gw'omugenzi Nansaba (mu kafaananyi akatono ku ddyo) ku St.John's church e Kamwokya.

Peace Nansaba, 35, eyaliko DPC wa Kira Road ku ntandikwa y’omwaka  guno kyokka  oluvannyuma n’akyusibwa n’atwalibwa e Kayunga okukulira poliisi y’ekitundu kino, yalumbiddwa  ekimbe ekyamuttidde mu lunaku lumu oluvannyuma lw’okutwalibwa mu ddwaaliro e Nsambya.

Nansaba kigambibwa nti yasoose kutwalibwa mu ddwaaliro e Naggalama  abasawo kyokka oluvannyuma lw’embeera okutabuka baasazeewo bamwongereyo e Nsambya  gye yafiiridde.

John Magimbiri taata wa Nansaba yategeezezza ng’okulwala kwa muwala we  bwe yakutegeeredde akaseera akatono n’ategeeza  nti baamukubidde essimu be basooka okumutegeeza nga bw’ali mu ddwaaliro kyokka oluvannyuma ne bamubikira nti afudde ekintu kye yagambye nti  kyabadde kya bwangu nnyo.

Kamisona wa poliisi, Hadija Namutebi omugenzi yamwogeddeko ng’eyamwagazisa  omulimu gw’obuserikale n’ategeeza nti mu kiseera ekyo ye yali akulira ettendekero ly’e Kabalye Nansaba  mwe yatendekebwa mu 2010, kyokka n'ategeeza  nti obulamu bwe  bwonna Nansaba abadde mwegendereza ng’era afudde talina muntu amulinako  nziro.

Namutebi  yayongedde nti Nansaba abadde yateekebwa mu kamu ku  bubinja bwa  poliisi obukola ebikwekweto n’atendereza  obumalirivu n’obumanyirivu bw’abadde nabwo ku mulimu.

Nansaba  nga  tannatwalibwa Kayunga yakolerako mu  Kampala  ku poliisi ya Kira Road  gye yamala emyaka egiwera ng’era  yakolako nga DPC  wa poliisi eno  oluvannyuma  lw’eyali agikulira,  SP Micheal Kasigire okusindikibwa mu kutendekebwa.

Omwogezi wa  poliisi mu ggwanga,  Emirian Kayima yategeezezza abakungubazi  mu kusabira omwoyo gw’omugenzi nga  poliisi  bw’erekeddwa n’eddibu eddene  oluvannyuma lw’okuviibwako abaserikale baayo mu bbanga  ettono.

Omugenzi waakuzikibwa ku kyalo  Kyebisumbi mu disitulikiti y’e Lwengo.

Engeri Nansaba gye yakolako ne Kirumira

Nansaba amaze ebbanga ebbanga ng'akola nga OC Station wa Kira Road etwala Kikaaya, omugenzi Muhammad Kirumira gye yakyakira ennyo olw'ebikwekweto bye yakola ku babbi.

Nansaba yali mukama wa Kirumira era ng'amukkiririzaamu nnyo mu nkola y'emirimu , obumanyirivu bwe n'obulambulukufu era yakwataganga nre Kirumira okulaba ng'abamenyi b'amateeka be yakwatiranga mu bikwekweto batwalibwa mu kkooti ne bavunaanibwa.

Kigambibwa nti Nansaba olwategedde ku mawulire g'okufa kwa Kirumira okukubwa amasasi n'afiirawo, puleesa zaamukubiddewo n'addusibwa mu ddwaaliro e Naggalama nga biwalattaka .

Ku Mmande embeera yatabuse abasawo ne bamwongerayo e Nsambya gye yafiiridde ku ssaawa 12 ez'akawungeezi.

Aziikiddwa leero ku bijja bya bajjajjaabe e Kyebisumbi mu disitulikiti y'e Lwengo 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kyapa1 220x290

Bagobye abakozi mu kitongole ky’ebyettaka...

Abadde akulira ebyamateeka mu BLB, Barnabas Ndawula agobeddwa wamu ne munnamateeka, Abdul Malik Bulondo.

Mugimu1 220x290

Eby’omugagga poliisi gwe yatwalako...

DOKITA omugagga w’omu Kampala abadde attunka ne poliisi emuddize ssente ze baamunya­gako asangiddwa ng’afudde mu...

Lyagondamarketinghisbamboocharcoalwebuse 220x290

Engeri ennyangu gy'okola amanda...

Kola amanda mu mabanda ofune ekiwera nga bw'okuuma obutonde bw'ensi

Kita 220x290

Kitatta waakumala wiiki endala...

EBYA Abudallaha Kitatta okuva mu kkomera byongera oku­wanvuwa buli olukya n’eggulo byagaanyi oludda oluwaabi bwe...

Kawooya2 220x290

Kitaawe wa Kirumira agobye abaserikale...

“Omwana wange baalemwa okumuwa obukuumi ng’akyali mulamu n’attibwa mu bukambwe kati okukuuma amaka ge nga yafa...