TOP
  • Home
  • Agawano
  • Bp. Ssebaggala asabye Museveni okukendeeza mu muwendo gwa baminisita

Bp. Ssebaggala asabye Museveni okukendeeza mu muwendo gwa baminisita

By Musasi wa Bukedde

Added 13th September 2018

Omulabirizi w’e Mukono, Rt Rev Bp. William Ssebagala asanyukidde ekya gavumenti okusalawo okugatta ebitongole ebibadde bikola emirimu egifaanagana era n'asaba omukulembeze w’eggwanga okukendeeza ne ku muwendo gwa baminisita abatuula mu kabineti olw’obutaba na kye bayamba ggwanga ng'ate basasulwa.

Rtrevbishopjameswillliamssebaggalangayogera 703x422

Bp. Ssebaggala

BYA JOANITA NAKATTE

“Waliwo ba minisita abaliwo olw’ebiruubirira byabwe  nga kwogasse n’ abawabuzi b’omukulembeze w’eggwanga abatalina magezi ga nkulakulana ge bamwongerako okujjako okumusombera entalo mu bantu ab’enjawulo”Ssebaggala bwe yagambye.

Bwe yabadde ayogerako n’olupapula lwa Bukedde, omulabirizi Ssebagala yategeezezza nga kino bwe kigenda okuyamba gavumenti, okukugira ssente ezibadde zisaasAanyizibwa mu ngeri eya kyeyonoonere.

“Ebitongole bingi ebibaddewo ng’abakozi bakola emirimu  egifaanagana olwo gavumenti ne yeesanga ng’ebadde erina obuzito bw’okusasula omusaala eri abantu abo abakola omulimu ogumu,” Ssebaggala bwe yategeezezza.

Ono era asabye Museveni okufuba okulaba ng’akola kyonna ekisoboka okuggalira n’emikutu emirala emitonotono egisigalidde  egyonoona ssente z’eggwanga kubanga eyo y’emu ku ngeri eyinza okuziyiza ensaaasaanya y’ensimbi ezandibadde zikolebwa okukulaakulanya eggwanga lyaffe.

“Abantu bafa enkya n’eggulo olw’obutaba na ddagala nga kw'ogasse n’ebikozesebwa okujjanjaba abantu nga n’amasomero agamu, eby’enjigiriza bikyali wansi ddala olw’obutaba na kuyambibwa kwonna kuyinza kugayamba kuddaabulula bayizi  okugeza ng’obutaba na basomesa bamala saako n’ebitabo ebiyinza okubayamba okuyita obulungi,” Ssebaggala bwe yagambye.

Yayongeddeko nti kino kyandibadde kyakolebwa dda olw’ensonga nti eggwanga libadde liri mu katuubagiro mu myaka egiyise nga gavumenti esaasaanya kyenkana obuwumbi nkaaga (60 billions) buli mwaka okusasula abakozi ba gavumenti wabula nga  ne bye basasulira tebiriiyo.

“Abasinga ku bbo babadde tebalina mirimu gye bakola wabula nga beerimbika mu kifaananyi eky'okuba nti bakozi,” Ssebaggala bwe yagambye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono