TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba UMEME bannyonnyodde lwaki amasannyalaze gaavuddeko

Aba UMEME bannyonnyodde lwaki amasannyalaze gaavuddeko

By Benjamin Ssebaggala

Added 13th September 2018

BANNAYUGANDA baasigadde beebuuza ebibuuzo bingi ku kizikiza ekyabuutikidde ebitundu by’eggwanga ebisinga obungi ekiro ku Lwokusatu.

Electricianworkingonpowerlines 703x422

UMEME yafulumizza ekirango nti waabaddewo obuzibu ku biyiriro e Jinja nga kye kyavuddeko obuzibu amasannyalaze ne gavaako okwetooloola eggwanga.

Bangi baasigadde bakiwakanya nga bagamba nti, kyabadde kigenderere okuggyako amasannyalaze mu kiseera Omubaka wa Kyaddondo East, Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) we yabeeredde ku pulogulaamu ya Straight Talk Africa ku TV ta Voice of America.

Baatadde obubaka obw’enjawulo ku mikutu gya ‘Social media’ nga bagamba nti okuggyako amasannyalaze kyabadde kigenderere.

UMEME yayongedde okuteekako obubaka ku mikutu nga twitter ne facebook nga bannyonnyola nti obuzibu bwabadde ku Owen Falls dam e Jinja, wabula UETCL yabadde ekola ekisoboka okulaba nga babitereeza era mu kiro ekyo gazzeeko.

Embeera eno yawalirizza ekitongole ekivunaanyizibwa ku kubunyisa amasannyalaze mu ggwanga UEDCL, okusitukiramu ne batwala abaamawulire e Jinja okubalaga ebyuma ebyafunye obuzibu amasannyalaze ne gavaako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri...

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri kivuddeyo ku bye bbibiro lya Murchion Falls

Afiiriddemukkanisa3 220x290

Afiiridde mu kkanisa

Poliisi y’ekitundu ereese kabangali okutwalirako omulambo mu ggwanika kyokka abagoberezi ne bagiremesa nga bagamba...

Dsc8388 220x290

Weewale okukuba endobo mu mmotoka...

N (Neutral) baagiteeka mu mmotoka si kugikozesa kukuba ndobo wabula kwawula D (Drive) ne R (Reverse).

Abasubuuzingabatunuliraemaaliyabweeyayidde2 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ekibanda...

Bano balumiriza omukulu w’essomero lya Biral P/S, Tekana Bruhan erisangibwa e Bwaise okuba emabega w’okwokya ekibanda...

Lop2 220x290

Ssebo Square Milez omukono teguwaba...

Ssebo Square Milez omukono teguwaba