TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebimu ku bigambo bya Kirumira by’abadde ayita eby’obunnabbi

Ebimu ku bigambo bya Kirumira by’abadde ayita eby’obunnabbi

By Musasi wa Bukedde

Added 14th September 2018

OBUMU ku bubaka Muhammad Kirumira bwe yasembye okuteeka ku mikutu gye, ogwa Facebook ne WhatsApp, yabadde ayanika abasajja abaagenze mu kkooti e Makindye mu kuwulira okweyimirirwa kwa Gen. Kale Kayihura.

Kirumiranew5 703x422

Omugenzi Kirumira Muhammad

Mu bubaka buno, Kirumira yagambye nti abamu abaabadde beeyita abooluganda lwa Kayihura n’abawagizi be abava e Kisoro baabadde balimba nga si baaluganda era nti baabadde tebava Kisoro nga bwe baategeezezza.

Yatandikidde ku Sankara gwe yagambye nti, ono wadde ayogera Olufumbira kyokka Mukonjo era ava Kasese.

Yayongedde okuleeta by’amanyi ku Sankara n’alambulula nti: Erinnya lye ettuufu ye Adam ava ku kyalo Kyabolooca mu Bwera Town Council.

Yayongedde nti Sankara be yabadde nabo kuliko: Apollo Nsamba ne Muhammed Ssenyonga. Yannyonnyodde nti, Sankara yali Crime Preventer ng’abeera Katwe - Kinyoro.

Mu bubaka buno, Kirumira yagambye nti abamu ku baabadde ku kkooti nga beefudde abava e Kisoro, ffeesi zaabwe aludde ng’aziraba mu bakifeesi n’anokolayo amannya abiri aga bakifeesi be bakolagana nabo Shaggy ne Surefire. Bino yabiwandiise nga August 28, 2018.

Yayongeddeko obubaka ng’alaga nti okuva mu 2013 abadde alwana okufufuggaza abantu abakyamu kyokka nga bawagirwa abamu ku bakama be mu poliisi ya Uganda era nga babakozesa okumuwaako obujulizi obujingirire mu kkooti.

Abamu ku be yabadde alumiriza yategeezezza nti babadde beerimbika mu bitongole eby’enjawulo okuli; Fly-ing Squad, Crime Intelligence, Special Operations Unit n’abamu mu kitongole ekibuuliriza ku misango ekya CID ate abalala baali bakolera Nalufenya.

Yalambuludde obubaka bwe n’ategeeza mu bubaka buno nti abalala abali ku lukalala lw’abo b’azze agugulana nabo abamu bali mu kaduukulu era yamenye amannya musanvu: SSP Nixon Agasirwe, ACP Muhangi Herbert, Faisal Katende, SPC Minaana, ASP Abel Kitagenda, ASP Magada, AIGP Atwooki Nduhura.

EBIMU KU BIGAMBO BYA KIRUMIRA

September 7, 2018: Buli kiseera, ku mulimu wabeerawo akabinja k’abantu akakolerera okusuula abalala, “Twegatte tulemese gundi ne gundi”, kambuuze nga ngeegeenya eddoboozi lya Tamale Mirundi; olowooza kibeera kitya ssinga omuntu oyo abeefuulira n’alemesa akabinja kammwe n’ebigendererwa byammwe eby’ekko?

Ssinga kye mubala tekiyitamu munaawulira mutya?... tulina olunyiriri mu Kulaani olugamba nti, essaala y’oyo anyigirizibwa eyanukulwa mangu ku lukalala lw’ebintu Katonda by’awa omukisa okusooka okukolako.

September 5, 2018: Bwe twabadde tujaguza Amatikkira ga Kabaka mu Lubiri e Mmengo, abakulembeze b’ensikirano abalala baabaddeyo.

Mu ngeri y’emu Obwakyabazinga bwa Busoga bugenda kujaguza amatikkira ag’omulundi ogwokuna era ndi waamukisa okubeera mw’abo abayitiddwa ku mukolo nga September 13, 2018. Nja kubeerayo (tekyasobose).

Olunaku lwa Iddi August 21: ‘Eid Mubarak’, essaala za Iddi zonna tuziwaddeyo ku lwa baganda baffe ne bannyinaffe abali mu bizibu eby’enjawulo ku mitendera egy’enjawulo mu bulamu Katonda ng’akkirizza.

August 7, 2018: Bwe yali ayogera ku kiragiro ky’okuwera ebikwekweto ebyali bikolebwa poliisi y’ebidduka mu Kampala; Emyaka ebiri egiyise ekiragiro kye kimu kyayisibwa oluvannyuma lwa baddereeva okwegugunga nga bawakanya okuwa ebipapula okubabonereza mu ngeri erimu ebirumira. Omulundi guno kirabikidde ku nguzi esusse.

August 6, 2018: Ng’ayogera ku kukyusa omuserikale wa tulafiki Luyima eyali akaabya abavuga ebidduka mu Kampala. Okukaaba kw’abantu kwanukuddwa, Asp Luyima bamukyusizza bamututte Masindi.

Bateekwa okubeera nga batandise okumunoonyerezaako okusinziira ku kwemulugunya okwateekeddwaayo abantu.

Ng’ayogera ku ky’okuva mu poliisi: Omuntu weetaaga okwetengerera ng’okola okusalawo okuleeta enkyukakyuka mu bulamu bwo, abamu ku bakama baffe batutunuulira ng’ebyuma ebirina okukozesebwa so si ng’omuntu alina ky’osobola okugattako. Kino kivaako bangi okulekulira olumu n’okusuulawo emirimu ne tudda mu bulamu obulala obutugasa okugenda mu maaso.

Ku nkomerero y’omwaka guno hhenda kwetaba mu lukuhhaana lw’okulwanirira eddembe ly’obuntu olutegekeddwa ekibiina ky’amawanga amagatte olugenda okutuula e Geneva mu Switzerland.

Nasooka kukizuula nti Kirumira omuntu waamugaso nnyo okusinga Kirumira Omuduumizi wa poliisi.

July 26, 2018: Kkooti okusazaamu ddiiru ya Palamenti okweyongeza emyaka 7, abamu ku ffe tusuubira nti kijja kutuyamba okuwanulayo ababaka abamu. Siraba nnyo mulimu gwabwe kubanga abamu babadde beepena abantu be bakiikirira so nga be bakama baabwe.

Tujja kubasangayo mu byalo kubanga ssente zaabwe zibasaanyizzaawo era Mawokota North 2021 agenda kubeera ng’ayokya. Abantu balina okusalawo wakati w’okufuna essuubi ne ssente, nze nondawo kusigaza ssuubi.

July 24, 2018: Buli nsonga gye nakoonako ge gaali amazima naye bansibira ekikookolo. Ekisinga okunsanyusa nti waliwo abanene abanneegattako okutuusa eddoboozi lyerimu, tuteekwa okukkiriza nti ebintu si birungi, abamu basooka kwekweka ne balyoka boogera naye bwe mbasanga nga bagamba nti musajja ggwe watutaasa.

July 18, 2018: Bwe yali awandiika ku mugenzi Andrew Felix Kaweesi gwe baakuba amasasi nga March 17, 2017; kintawaanya nnyo obwongo buli lwe ndowooza ku bantu abatuula ne bateesa nga bategeka kutemula muntu!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Uni 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUNA AKULEETEDDE...

Bobi Wine olusimbudde okuva mu Amerika, abawagizi be ne batandikirawo okujeemera poliisi. Amagye gakutte owa Flying...

Banyarwanda2 220x290

Abanyarwanda basabye Kabaka ettaka,...

ABANYARWANDA ababeera mu Uganda basabye Kabaka asiime abawe ettaka Ssekabaka Muteesa II lyeyali abawadde e Kibuye...

Fortunessentamu2 220x290

Abagwira 6 bakuvuganya ne Bannayuganda...

Laawundi y'empaka za ddigi eyoomukaaga ku kalenda ya Uganda yakwetabwaamu abagwira 6.

Courtgavelscales1024683 220x290

Kkooti zonna zaakujjukira Benedicto...

Mu 1972 abajaasi ba Amin baalumba Benedicto Kiwanuka mu ofiisi ye ku Kkooti Enkulu ne bamuwalawala mu kifo ekitaategeerekeka...

Omwanangasenaamazzikuluzziwebusemwana 220x290

Ab'e Birinzi balindiridde kulwala...

Kaabuyonjo ze tusima mu musenyu okw'enkuba zibooga kazambi n'ajjula enju zaffe