TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gwe balumiriza okukuba Kirumira amasasi abadde yaakava e Luzira

Gwe balumiriza okukuba Kirumira amasasi abadde yaakava e Luzira

By Musasi wa Bukedde

Added 14th September 2018

EBITONGOLE by’Ebyokwerinda biriko omusajja gwe birinnya akagere oluvannyuma lw’okukukuhhaanya obujulizi obulaga nti ye yaluse olukwe olw’okutta Afande Muhammad Kirumira. Kirumira yakubiddwa amasasi n’omuwala Resty Nalinnya Mbabazi abadde atunda 'Airtime' e Bulenga.

Kirumira1 703x422

Omugenzi Kirumira Muhammad

Omuyiggo gw’okukwata omusajja ono n’abatemu abalala gulimu ebitongole okuli Poliisi, CMI, ne ISO nga gwatandikiddewo oluvannyuma lw’obujulizi obwakakuhhaanyiziddwa amangu ddala nga Kirumira yaakattibwa.

Obujulizi bulaga engeri omusajja oyo n’abantu abalala abali mu kibinja kye, gye baalondedde Kirumira okumala wiiki bbiri okutuusa lwe baamukwatirizza ku Lwomukaaga, ng’asimbye emmotoka ye ku mabbali g’ekkubo e Bulenga mu kifo kye bayita ewa Musoke.

Ensonda mu bambega zaategeezezza nti, amawulire ge baakafuna galaga nti omusajja eyaluse olukwe lw’okutta Kirumira, yasooka kulabibwa mu bitundu eby’oku ku nkulungo y’e Busega okumpi n’oluguudo lw’e Mityana.

Omusajja ayogerwako kigambibwa nti abadde yaakayimbulwa okuva mu kkomera e Luzira, era ng’okugendayo, Kirumira ye yamukwasisa oluvannyuma lw’okwanika ebikoloberero bye eby’obumenyi bw’amateeka.

Okunoonyereza kulaga nti Kirumira aliko mikwano gye be yagamba ku musajja ono nti engeri gy’ayimbuddwa okuva e Luzira, essaawa yonna ayinza okumukola ekikyamu era abadde mu kutya okw’amaanyi nga yeeraliikirira omusajja ono.

Kigambibwa nti Kirumira yatuukirira bakama be ku kitebe kya Poliisi e Naggulu ng’asaba obukuumi.

Kyokka yavaayo ng’amaanyi gamuweddemu n’ategeeza mikwano gye nti kati asigadde ku bwa Katonda kubanga tafunye kuyambibwa kwonna wadde okumusuubiza.

Ensonda zaategeezezza nti ku Lwomukaaga lw’atemulwa, Kirumira aliko omu ku bakulira ebitongole ebyokwerinda gwe yakubira essimu enfunda eziwera kyokka nga takwata era kirowoozebwa nti yali alabika etegedde nti waliwo abaagala okumutta ng’alabika asaba bukuumi kyokka n’atayambibwa.

Omusajja ono ng’amannya ge ab’ebyokwerinda bakyagaanyi okugoogera olw’okutya nti ayinza okulabuka n’adduka, asuubirwa okubeera mu bitundu ebya Kampala, Wakiso ne Mpigi. Omuyigga ogw’okumukwata gwatandikiddewo ku Ssande.

Ensonda zaategeezezza nti omusajja ono yakolako mu kitongole kya Poliisi ekirwanyisa ababbi b’emmundu ekya ‘Flying Squad Unit’ era nga yateranga okubeera ne Faisal Katende, eyakwatibwa amagye ku by’okuwamba n’okutta Abanyarwanda abanoonyi b’obubudamu abaali baddukira mu Uganda.

Bambega baategeezezza nti, ebiseera ebimu omusajja ono yali atera okulabwako mu bitundu by’e Gganda ekisangibwa mu munisipaali y’e Nansana, mu disitulikiti ey’e Wakiso, era nga ne Katende gye yali abeera.

Akulira ekitongole kya ISO, Col. Frank Bagyenda Kaka yetegeezezza Bukedde nti okunoonyereza ku kutemula Kirumira kugenda mu maaso n’agamba nti buli mawulire ge bafuna nga gayinza okubayamba okuzuula abatemu bagatwala nga kikulu.

Col. Kaka yagambye nti abamenyi b’amateeka bangi basinziira mu makomera ne bateesa okukola ebikolobero ku abo be balowooza nti baali mabega w’okusibibwa kwabwe.

Yayongeddeko nti, ng’oggyeeko abamenyi b’amateeka Kirumira be yalwanyisanga, Kirumira abadde ne bannabyabufuzi abamulwanira nga buli ludda lumwagala ekyavaako n’okulangirira nti yali agenda kwesimbawo ng’omubaka wa Palamenti mu Mawokota North ng’alaba wattutumu ng’oba oli awo, n’ensonga eno, teyeetaaga kugibuusa maaso mu kunoonyereza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...

Morning 220x290

Obulamu bw’okweyombekera kkoyi...

OBULAMU obw’omu bumenya! Bayibuli ekirambika nti ekitonde ekisajja kineegattanga n’ekitonde ekikazi ne bakola obufumbo...

Ssenga1 220x290

Bakwana batya?

Ekizibu kye nnina kya nsonyi ate nga ndi muvubuka wa myaka 21. Ntya n’okugamba ku muwala yenna. Ssenga nsaba kunnyamba...

Yaga 220x290

‘Muntaase puleesa egenda kunzita...

MUSAJJA mukulu Ssaalongo Vincent Kigudde 78, awanjagidde akakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka kamuyambe ku...

Nyanzi 220x290

Dr. Stella Nyanzi alemedde e Luzira...

Dr. Stella Nyanzi ajeemedde ebiragiro bya kkooti bw’agaanye okulinnya bbaasi y’abasibe emuleeta ku kkooti nga bwe...