TOP

'Kirumira abadde agenda Russia kutendekebwa'

By Musasi wa Bukedde

Added 14th September 2018

MUHAMMAD Kirumira w’afi iridde ng’alinda kkooti ya Poliisi ejulirwamu okutuula okuwulira okujulira kwe ng’awakanya eky’akakiiko akakwasisa empisa mu Poliisi okumuggyako amayinja ababiri ku nnyota ze.

Send 703x422

Kirumira lwe yali agenda okukola ekikwekweto mu Kisenyi.

Akakiiko ka Poliisi akakwasisa empisa nga April 19, 2018 kaasingisa Kirumira egimu ku misango gye yali awerennemba nagyo ne kasemba aggyibweko amayinja abiri kyokka Kirumira n’ajulira nga April 23, 2018.

W’afiiridde, wabadde waakayita emyezi ena ne wiiki bbiri bukya ajulira kyokka abadde yeemulugunya nti talina ky’awuliza mu bavunaanyizibwa ku kkooti ejulirwamu ku musango gwe.

Omwogezi wa Poliisi, Emilian Kayima yategeezezza nti mu mateeka ga Poliisi, omuntu bw’ajulira nga takkaanya na kibonerezo kimuweereddwa, asigala ku ddaala lye ly’abaddeko nga tannasalirwa n’annyonnyola nti Kirumira abadde akyali w’amayinja asatu (ASP) okutuusa kkooti ejulirwamu lwe yandisazeewo.

ABADDE AGENDA RUSSIA KUTENDEKEBWA?

Kirumira afudde alina essuubi nti kkooti ya Poliisi ejulirwamu ebadde egenda kumwejjeereza emisango wabula ng’agamba nti talina nteekateeka edda mu Poliisi kubanga obukulembeze bwa Poliisi obuliko tebulina njawulo n’obukulembeze bwa Gen. Kale Kayihura.

Kirumira abadde akyogera lunye nti okudda mu Poliisi nga mpozzi Pulezidenti Museveni amuyise n’amuwa omulimu mu Poliisi nga bwe yakola Brig. Muzeeyi Sabiiti, tayinza kuddayo mu Poliisi.

Ensonda mu mikwano gya Kirumira gyategeezezza nti Kirumira abadde ayogeza maanyi mu wiiki ezisembyeyo nga kigambibwa nti wabaddewo enteekateeka ezibadde zikoleddwa okumusindika e Russia okusoma kkoosi mu by’ekijaasi bw’adda, akuzibwe bamuwe n’ekifo mu Poliisi.

Kirumira yatendekebwako mu ttendekero ly’ebyekijaasi erya Non Commissioned Offi cers Academy (NCOA) e Kimaka mu disitulikiti y’e Jinja gye yamala emyezi mwenda mu 2014 ng’atendekebwa era yavaayo akutte ekifo kyakubiri mu bayizi bonna.

ALANGIRIRA OKWESIMBAWO E MAWOKOTA NORTH

Bwe yalekulira obwa DPC bw’e Buyende mu January 2018, Kirumira yategeeza nti aweerezza mu Polisi n’omutima gumu kyokka asiimiddwa na kuggulibwako gasangosango n’alangirira nti ateekateeka kwenyigira mu byabufuzi bamwasimule.

Kirumira abadde alina enteekateeka ez’okwesimbawo ku bubaka bwa Palamenti mu 2021 e Mawokota North okuvuganya Minisita w’Ebyobusuubuzi Amelia Kyambadde.

N’okutuusa w’afi iridde, Kirumira abadde akyanyweredde ku ky’okwesimbawo ku bubaka bwa Palamenti mu 2021 n’agamba nti abadde ali mu nteeseganya n’abebibiina byonna omuli aba NRM, DP, FDC, n’abalala okumuwagira ng’omuntu Mwoyo gwa ggwanga.

Abadde nfanfe w’omubaka Robert Kyagulanyi Sentamu era y’ensonga lwaki Bobi Wine yasinzidde mu Amerika gye yagenda okujjanjabwa n’aweereza obubaka obukubagiza.

Bobi Wine era yasindise mukulu we Eddie Yawe n’atuusa obubaka bwe n’obwa ‘People Power’, eri abakungubazi e Mpambire.

Aba People Power abaabadde baambadde ebimyufu beefuze omukolo gw’okuziika era be baagobye Minisita Jeje Odongo n’omwogezi wa Poliisi Kayima okuva ku mukolo gw’okuziika.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwanangaluaekikajjyo11webuse 220x290

Endabirira y'amannyo g'omwana eneegakuuma...

Okuziyiza amannyo g'omwana okulwala mu bukulu otandika mu buto okugayonja n'okugajjanjaba.

Katereggangalagaapozatundawebuse 220x290

Okutunda apo nkuguzeemu embuzi...

Nasooka kusiika capati e Iganga ne nzija e Kampala okutunda apo mwe nfuna 200,000/- omwezi era nguzeemu embuzi...

Sserunkuuma2webuse 220x290

Ebbumba eryenyinyalwa abasinga...

Bulikye mmumba nkijjuukirirako maama eyambeererawo mu bulamu kyokka n'atabaawo kugabana ku ntuuyo ze.

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa