TOP

Mulago agenda kuba waakusasulira

By Musasi wa Bukedde

Added 14th September 2018

KATIKKIRO wa Uganda, Dr. Ruhakana Rugunda ng'ali ne baminisita balambudde eddwaaliro ly'abakyala eppya e Mulago erigenda okuggulibwawo mu October 2018.

Upet 703x422

Dr. Ruhakana Rugunda ne baminisita nga balambuzibwa emu ku sweeta ezigenda okulongoosebwamu abalwadde.

Eddwaaliro lino lya bitanda 450, wabula ku Mmande nga September 17, 2018 abalwadde lwe batandika okujjanjabibwa.

Obujjanjabi bwa kusasulira era Pulezidenti Museveni y’asuubirwa okuliggulawo mu butongole.

Dr. Rugunda yasiimye aba Arab Contractors olw'omulimu ogukoleddwa. Eddwaaliro lino lyakujjanjaba abakyala abafuna obuzibu mu kuzaala n'abaana abazaaliddwa n’obuzibu nga betaaga okulongoosebwa.

Abakyala abatazaala n'abo baakuyambibwa ng'eddwaaliro likozesa ebyuma ebireeteddwa mu ddwaaliro lino nga babassaamu amagi agafunye enkaso. Basuubira okukola kw’abo bokka abali obubi era nga basindikiddwa awo okuva mu malwaliro amalala. Mulago yatandika okuddaabirizibwa mu 2014.

Mu ddwaaliro lino mulimu ekifo awanajjanjabirwa omukulembeze w’eggwanga, ekifo ky'abakungu, mulimu ekifo awajjanjabirwa abayi (ICU) kya bitanda 25 nga buli kitanda kuliko ebyuma ebyomulembe ebikebera omulwadde.

Dr Jane Nakibuuka eyebuuzibwako ku byobujjanjabi n'abalwadde abayi yagambye nti ekifo ekinajjanjabirwamu abakyala abayi kirimu ebitanda 25 nga bano babawulamu okusinziira ku mbeera omulwadde gy’anaabaamu.

Dr. Nakibuuka yayongeddeko nti ICU eno egenda kubeera nga yeesinga obunene era ng'erina abakugu abasinga mu ggwanga lyonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Drssempangieyasingaanidwamumakagenanyonyolawebuse 220x290

Abaana Abakaramoja basomesebwe...

Ssempangi awabudde gavumenti ku baana b’e Karamoja abasibira ku nguudo n’ategeeza nga bwe batundibwa abazadde okujja...

Chozenbeckyclearwebuse 220x290

Abayimbi beesunga kusanyusa badigize...

Abayimbi ab'amannya bali mu kuwawula maloboozi olw'okwesunga okuyimba mu Kyepukulu ekiwagiddwa Vision Group ne...

Lukiikombalirira7 220x290

Buganda eyisizza embalirira yaayo...

OBWAKABAKA bwa Buganda buyisizza embalirira y’Omwaka 2019/2020 ng’eno ya nsimbi 121,079,490,880/- nga kweyongera...

Samba 220x290

Omusika atunze ebiggya ku 1500/=!...

PULOFEESA Kiwanuka Ssemakula amaziga gaamuyunguse bwe yatuuse ku butaka gy’asibuka ng’amalaalo ga kitaawe gaatundibwa...

Kub2 220x290

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza...

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza abavubuka okuyingira obulimi n’obulunzi