TOP
  • Home
  • Amawulire
  • ‘Mulondoole ssente Gavt. z’ewa abakyala okwekulaakulanya’

‘Mulondoole ssente Gavt. z’ewa abakyala okwekulaakulanya’

By Musasi wa Bukedde

Added 14th September 2018

“Abamu ku mwe mwesuulirayo gwa nnagamba, temufaayo kumanya makubo matuufu wa ssente ezo gye zituukira kubanga oluusi zituukira ku bantu abakyamu ne bazikozesa ebyabwe."

Esthernakyazzebaromangalayirakukifokyobwanaabakyalawadisitulikitiyemukonokuddyoyemulamuzistellaokwongeyakulembeddemuokulayir 703x422

Esther Nakyazze Baroma ng' alayizibwa Stella Okwong ku kifo ky'obwa nnabakyala wa disitulikiti y'e Mukono. Mu katono ye Hajati Kibowa.

Abakulembera abakyala mu byalo eby’enjawulo mu disitulikiti y’e Mukono bakubiriziddwa okufaayo okulondoola ensimbi ezibaweebwa gavumenti obutagwa mu mikono gy’abantu abakyamu, ate n’okuzikozesa mu kwekulaakulanya.

Bino byayogeddwa akulira abakyala mu ggwanga, Hajat Faridah Kibowa mu kulayiza abakyala abaayitamu okukulembera bakyala bannaabwe mu disitulikiti y'e Mukono okwategekeddwa ku kitebe kya disitulikiti y'e Mukono.

Kibowa yategeezezza ng'abakyala bwe bakozesa ssente zino mu ngeri enkyamu ate abalala ne beefaako bokka n'abenganda zaabwe ne beerabira bakyala bannaabwe abaabawa obululu ate ng’ekigendererwa kyabwe kya kukolaganira wamu n’okugatta abakyala bonna mu ggwanga mu bitundu byabwe awatali kusosola.

“Abamu ku mwe mwesuulirayo gwa nnagamba, temufaayo kumanya makubo matuufu wa ssente ezo gye zituukira kubanga oluusi zituukira ku bantu abakyamu ne bazikozesa ebyabwe. Ssente ezo oba ebintu byonna ebiweebwa abakyala okuva mu gavumenti ng’ ensigo z’ebirime, buvunaanyizibwa bwammwe okulaba nga zituuka ku bakyala bonna mu byalo byamwe ate ne mubawandiika baleme okudda okufuna  ebirala,” Kibowa bwe yategeezezza.

Yayanjudde ezimu ku nteekateeka ze bagenda okutandikirako ng’ abakyala olw’enkulaakulana ng’emu ku zzo, ye y’okulaba nga balafuubana ku nsoma y’omwana omuwala okunywerera ku masomero n’okubuulirira abavubuka okukomya emize ng’okunywa enjaga n’okufuuweeta ssigala.

“Tugenda kutegeka emisomo eri abaana abo wabula nga tugenda kutandika na kusomesa bazadde ku ngeri gye bayinza okubuulirira abaana baabwe mu ngeri etali ya bukambwe nga kino kijja kuyamba abaana baffe okumanya ensobi zaabwe n’okuzireka ettale,” Kibowa bwe yagambye.

Asabye abaami okuyamba ku bakyala baabwe naddala  okubawa ensimbi, basobole okwekulaakulanya olw’ensonga nti nabo basobola okubaako bye bayamba mu maka gaabwe ng’okugula emmere n’okusasula fiizi z’abaana n’ebirala.

Akulira abakyala mu disitulikiti y’e Mukono, Esther Nakyazze Baroma abasabye okwesonyiwa engambo n’okulera engalo olw’ensonga nti ebikolwa ng’ebyo bibazza mabega ate byongera ne ku mikisa gy’abaami okubanyooma.

Ono era asabye abakyala okwekolamu ebibiina bya bantu 20 mu buli ggombolola mw'agenda okubayamba okubasomesa eby’emikono  ku bwereere.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...