TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ow’emyaka 6 jjajjaawe amusibye ku miguwa n’amukuba mizibu

Ow’emyaka 6 jjajjaawe amusibye ku miguwa n’amukuba mizibu

By Moses Lemisa

Added 14th September 2018

Wabula abamu ku batuuze abaludde nga balaba Nawati ng’atulugunya muzzukulu we ku luno beebaatemezza ku LC eyasitukiddemu n’esanga Nawati ng’asibye omwana amagulu n’emikono ng’amusibidde mu nju amukuba era olwalabye abakulembeze Nawati omwana n’amusindika wansi w’ekitanda.

Nsanjaamyukasentebewassebinazooningaakeberaembaleezirikumwana1 703x422

Nsanja amyuka ssentebe wa Ssebina zooni ng’akebera embale eziri ku mwana. Mu katono ye Nawati.

ABAKULIRA eby’okwerinda ku LC banunudde omwana ow’emyaka omukaaga ku jjajja we eyamusibye emiguwa n’atandika okumukuba kumpi kwagala kumutta.

Abudurakuman  Ssekito 6,   ye yanunuddwa  abakulembeze ba LC ya Ssebina zooni mu muluka gwa Makerere III e Kawempe oluvannyuma lwa jjajjaawe, Masitula Nawati okumusiba emikono n’amagulun’atandika okumukuba ng’amulanga obubbi, emputtu n’ekyejo.

Wabula abamu ku batuuze abaludde nga balaba Nawati ng’atulugunya muzzukulu we ku luno beebaatemezza ku LC eyasitukiddemu n’esanga Nawati ng’asibye omwana amagulu n’emikono ng’amusibidde mu nju amukuba era olwalabye abakulembeze Nawati omwana n’amusindika wansi w’ekitanda.

Nawati yategeezezza nti kituufu omusango yagukoze kuba omwana aludde ng’ababba enva, sukaali  n’ebirala.  Yagasseeko nti  Ssekito mwana wa muwala ng’abadde naye omwaka mulamba wabula waliwo lwe  yamulemerera n’amuddiza nnyina, Haisha Nabatanzi abeera e Bwaise kyokka naye n’amulemwa olw’obubbi n’amumuddiza.

Isma Nsanja omumyuka wa ssentebe wa LC ya Ssebina yategeezezza nti  abazadde bangi balina omuze gw’okutulugunya abaana kye yagambye nti nga LC terina gw’egenda kuttira ku liiso  bajja kukwatibwa amateeka gabalamule. Nawati yasoose n’atwalibwa ku poliisi y’oku kaleerwe n’agulwako omusango gw’okutulugunya omwana ku fayiro nnamba SD:20/11/09/2018 oluvannyuma yatwaliddwa ku poliisi y’e Wandegeya

Wabula omukyala ono si gwe mulundi gwe ogusoose ng’atulugunnya abaana kuba poliisi yamukwatako mu nsonga ze zimu era abaana ne bamuggyibwako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa...

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa ku ttaka n’okufi irwa ebyobugagga byo

Hab1 220x290

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu...

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu bamuziise mu ntaana ya People power omulala mu ya NRM

Kab1 220x290

Dokita eyabuze akwasizza omusawo...

Dokita eyabuze akwasizza omusawo

Broronnie1 220x290

Bro. `Ronnie Mabakai alagudde bannabyabufuzi:...

OMUSUMBA Ronnie Mabakai owa ETM Church esangibwa ku Salama Road e Makindye ne Holy City e Bwerenga azzeemu okulagula...

Komerera4webuse 220x290

Abaana bazannye okufa kwa Yesu...

Abaana bazannya olugendo lw'okufa kwa Yesu ne beewuunyisa abantu e Masajja