TOP
  • Home
  • Agawano
  • RDC alabudde ku bafere abeelimbise mu kuwandiika aba LDU

RDC alabudde ku bafere abeelimbise mu kuwandiika aba LDU

By Henry Nsubuga

Added 14th September 2018

Haji Munuulo agamba nti abafere bano baawuliddwako mu byalo eby’enjawulo mu ggombolola okuli ey’e Ntunda, Mpatta n’e mu divizoni y’e Goma mu munisipaali y’e Mukono.

Mknrd2 703x422

RDC Haji Munuulo ng'ayogera eri abakulembeze b'abayizi mu masomero ga Seeta High 3 ag'e Mukono. (Ekif. Henry Nsubuga)

Oluvannyuma lwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okutegeeza eggwanga nga gavumenti bw’egenda okuddamu okuwandiika aba LDU batendekebwe baweebwe emmundu okuyambako okukuuma obutebenkevu bw’ebitundu n’okumalawo ebikolwa eby’ettemu ebizze bikolebwa ku bantu naddala abakozesa emmundu, poliisi ne woofiisi ya RDC e Mukono Haji Nasser Munuulo bali mu kulinnya kagere abafere abagambibwa nti bali mu kutalaaga ebyalo eby’enjawulo nga bagenda basolooza ensimbi ku bantu nga babawundiisa nti babawandiika kugenda kukola ng’aba LDU.

RDC yalabudde abantu obutageza kubaako muntu yenna gwe bawuliriza ng’abategeeza nga bw’awandiika aba LDU olw’ensonga nti enteekateeka eno tennaba kutandika ng’abakulu abakwatibwako byakyakola nteekateeka okulaba butya bw’enatambuzibwamu.

“Nsaba bassentebe b’ebyalo, ab’amagombolola ne bakkansala okuyambako okulabula abantu obutagwa mu butego bw’abafere bano ate bwe mubalaba eyo mutegeeze ab’eby’okwerinda basobole okukwatibwa,” Munuuno bwe yasabye.

Okwogera bino, RDC yabadde ku ssomero lya Seeta High School Main Campus ku Lwokutaano ng’ayogera eri abakulembeze b’abayizi okuva ku masomero ga Seeta High gonna okuli Main Campus, Green Campus ne Mbalala Campus ababadde mu musomo okumala wiiki nnamba nga balungamizibwa ku ngeri y’okukulemberamu bannaabwe ate n’okusobola okugatta obukulembeze n’okusoma.

Munuulo yasabye abayizi okwewala okwegulumiza n’okwetwalira waggulu ssaako okweteekamu amalala n’okutuuka okukulembera abayizi okwenyigira mu butabanguko ku masomero gaabwe n’agamba nti omukulembeze omulungi abeera mukkakkamu, ng’awuliriza era ng’assa ekitiibwa mw’abo b’akulembera n’abamuli waggulu gamba ng’abasomesa baabwe.

Paul Alibundi omukulu w’essomero lya Seeta High Main Campus yagambye nti mu wiiki ennamba gye bamaze n’abayizi nga bannaabwe tebannaba kuddayo ku ssomero, bababuuliridde ku bintu bingi ne babafunira n’abantu ab’enjawulo abebuuzibwako era abakola ng’eby’okulabirako mu bifo by’obukulembeze.

“Abayizi bano tetubateekateeka kubeera bakulembeze balungi eri bayizi bannaabwe kyokka wabula era tubateekateeka n’okubeera abakulembeze abalungi bwe baliba bamaze okusoma. Okuva lwe twatandika enteekateeka eno tulabye abayizi baffe nga bwe bava wano bagenda mu yunivasite gye balaze ne basaba obukulembeze era bannaabwe ne babuwa ate bwe batyo ne mu bukulembeze ku byalo, amagombolola n’ebifo ebirala ebyawaggulu,” Alibundi bwe yagambye.

Ate omuyima w’abakuembeze b’abayizi, Godfrey Bwanika, yategeezezza nti enteekateeka eno yatandika emyaka 5 egiyise ng’egenda yeetoolola mu masomero ga Seeta High asatu buli mwaka.

Bwanika yagambye nti enteekateeka eno eyambye okufuula abakulembeze b’abayizi ab’akulembeze abalungi era ab’omugaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mema 220x290

Eyanoonyeza mu Bukedde ayanjudde...

ENDUULU ez’olulekereeke zaakubiddwa abeetabye ku mukolo nga Hadijah Namakula omutunzi w’engoye ayanjula bba Musa...

Lina 220x290

Balamu bange bannemesa eddya

NZE Grace Kentuwa 28, mbeera mu Zooni 7 e Makerere Kikoni mu muluka gwa Kawempe. Twasisinkana ne baze mu 2014 e...

Sadblackcouple 220x290

Omwami wange alina buzibu ki?

OMWAMI wange ansobedde. Nga tugenda okwebaka tayagala kwegatta naye mu kiro ssaawa nga 9:00 mu matumbibudde ankwata...

Rupiny1 220x290

Africell eyiye kavu wa bukadde...

KAMPUNI y’amasimu eya Africell etadde kavu wa bukadde 15 mu mpaka z’omupiira ez’okukuza amazaalibwa ga Yesu ezitegekeddwa...

Title 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO YATUUSE DDA...

Militale etandise ebikwekweto bya Ssekukkulu era eyodde 200 abatigomya Kampala n’emiriraano.