TOP
  • Home
  • Diaspora
  • Bannayuganda mu Amerika bagenda kusabira Bobi Wine leero ku Ssande

Bannayuganda mu Amerika bagenda kusabira Bobi Wine leero ku Ssande

By Musasi wa Bukedde

Added 16th September 2018

BANNAYUGANDA abali mu Amerika bategese okusabira omubaka Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Win mu kibuga Boston leero ku Ssande nga Sepetember 16 ,2018.

F832d04b282c4ddbb915ef09f1b6cb98cx0cy3cw0w1023r1s 703x422

Bobi Wine

BANNAYUGANDA abali mu Amerika bategese okusabira omubaka Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Win mu kibuga Boston leero ku Ssande nga Sepetember 16 ,2018.

Okusaba kugenda kubeera ku Klezia ya St. Mary’s Parish Waltham , Massachusetts 133 School street era kwakwetabwamu Bannayuganda ababeera mu Amerika n’abantu abalala okusinziira ku bubaka obuli ku mukutu gwe ogwa Twitter.

Mu ngeri y’emu Bobi  agenda maaso n’okusisinkana Bannayuganda abatali bamu abali mu Amerika okukubaganya ebirowoozo ku nsonga ezikwata ku Uganda.

Emu ku nsisinkano zino yabaddewo ku Lwomukaaga mu kifo ekimanyiddwa nga Greenbelt Library II Cresent road ,Greenbelt MD 20770 mu kibuga Washington DC.

Bobi Wine ali mu Amerika gye yagenda okujjanjabwa oluvannyuma lw’okufuna obuvune bwe yakwatibwa abeebyokwerinda mu kibuga Arua ng’agambibwa nti ye ne banne beetaba mu kukanyugira emmotoka za Pulezidenti amayinja ne basaako emu endabirwamu.

Omusango guno gubavunaanibwa ne banne 33 mu kkooti e Gulu. Wabula ng’omusango gw’okusangibwa n’emmundu ogwali gumussiddwaako gwamuggyibwako kkooti y’amagye nga kati ye banne bwe baakwatibwa bavunaanibwa gwa kulya mu nsi lukwe.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Seb2 220x290

Mulunde ebyennyanja - Museveni...

Mulunde ebyennyanja - Museveni

Naki 220x290

Grace Nakimera akomyewo na maanyi...

Grace Nakimera akomyewo mu nsike y'okuyimba abadde yawummulamu asooke atereeze obufumbo

Kibowa13webuse 220x290

Abakyala mwekolemu ebibiina mufune...

Abakyala b'e Mukono bakubiriziddwa okwekolamu ebibiina bafune ku ssente za Gavumenti ezitaliiko magoba n'okuwagira...

Acaya1webuse 220x290

Omuyizi akoze mmotoka ne yeewuunyisa...

Omuyizi Francis Ocaya akoze mmotoka ne yeewuunyisa Ababaka ba Palamenti ne bamusuubiza omulimu

Abamukubamusigansimbiabataddemuensimbiokuzimbazikabuyonjongabawayaamunabamukubaanawebuse 220x290

Temusimbira nkulaakulana kkuuli...

Abagirimaani bazimbidde essomero ly'e Ntenjeru kaabuyonjo ey'omulembe