TOP

Agambibwa okuba omusezi obudde bumukeddeko

By Musasi wa Bukedde

Added 17th September 2018

Tumusiime yalayizza enduulu eyasombodde abantu oluvannyuma lwa Nalwanga okukonkona bamuggulirewo. Bagenze okubandula oluggi nga Nalwanga ali bute.

Musezi4 703x422

Nalwanga ku poliisi. Abatuuze be baamuwadde engoye okubikka ku bwerere bwe.

Bya FLORENCE TUMUPENDE
ABATUUZE okuva ku byalo mukaaga okuli Katovu T/c, Katovu-Mudaala, Kalegero, Ngango, Kiteredde ne Bitookebisalire ebisangibwa mu ggombolola y'e Malongo mu disitulikiti ey'e Lwengo
bekulumuludde ku poliisi y’e Katovu-Mudaala okwerolera ku mukazi agambibwa okuba omusezi obudde gwe bukeddeko ng'ali bukunya.
    Aisha Nalwanga 40, ng'akola mu wooteeri e Kyazanga yawunikirizza abantu  bwe bamusanze lubona ng'akonkomalidde mu maka ga mutuuze munne ategerekeseeko erya Tumusiime ng’alinga abuliddwa ekkubo.

 Tumusiime yalayizza enduulu eyasombodde abantu oluvannyuma lwa Nalwanga okukonkona bamuggulirewo. Bagenze okubandula oluggi  nga Nalwanga ali bute. 

Abadduukirize bamukkakkanyeko ng'abaagala ku mutta nga bagamba nti bakooye abasezi ababasuza ku tebuukye nga baziikula abafu baabwe era poliisi yasanze akaseera akazibu okumutaasa.

 
 
batuuze nga basonga awaasimuddwa ekituli ku ntaanaAbatuuze nga basonga awaasimuddwa ekituli ku ntaana.

 


  OMUKWATE AYOGEDDE
 Nalwanga yategeezeza nti yavudde awaka ne bagandabe basatu
okuli Sumayya Namukasa eyamuwadde ddiiru y'okukima omulambo ku kyalo
Bitookebisalire naweebwa obuti busatu okuli akaggyayo omulambo
mu ntaana, akaziika entaana ng'amaze okujjayo omulambo n’akamuggyako ekitambo ng'atuuse we bagenda okugabanira ennyama.

   Nalwanga bakira ayogera akontola yaweze nti yadde yasudde akati
akamujjako ekitambo naye ne bagandabe tebagenda kulya ku nnyama kuba ye
yekka yateekeddwa okusalako enviiri ku bafu.

  Abaserikale abaabadde bakyabiyita ebyokusaaga baasanze akaseera
akazibu mu kasenge mwe baasibidde omusezi ng’agira n’ayugumya ekkomera okwagala okulisuulaera bwe batyo ne bamutwala ku poliisi y’e Katovu T/c abalina ku bizimbe ebyamaanyi.

    Abatuuze baasabye poliisi enoonyereze ku baganda b'omusezi abadduse
n'omulambo era eggalewo mangu ne wooteri y'omukazi ono gye balumiriza
nti oba olyawo yabaliisa dda abafu.

 

ba famire ababbiddwako omulambo gwabweAba famire ababbiddwako omulambo gwabwe. 


     

BANNANYINI MUFU EYAZIIKUDDWA BOOGEDDE
   Gorette Nansamba yannyonyodde nti ku Lw'okutaano lwa wiiki ewedde
baziika muganda waabwe Madinah Namatovu eyafa ng'amaze emyaka 10
ng'avudde mu Busiraamu wabula nasigala n'amannyage.

     Kyokka baabadde bakyali mu kiyongobero mu kiro ekyakeesa Olw'omukaaga ku ssaawa nga 8:00 ez'ekiro ne bawulira essimu evigira ebweru.

   Baawulidde enswagiro ku biggya ne bakubira ku ssentebbe w’ekyalo John Kaboogere.
       Enkeera ku Ssande Kaboogere nafuna essimu okuva ku poliisi ng'emutegeeza nti bakutte omusezi eyaziikudde omufu ku kyalo.

    Nansamba yasabye poliisi enyweze Nalwanga asobole okukomyawo omulambo gwa muganda waabwe guziikibwe.
    Akulira poliisi y'e Katovu-Mudaala, Godfrey Wacibra yagambye nti baamaze okuggula omusango ku mukwate ogw'okusaalimba n'okutaataganya eddembe ly'omufu ku fayiro nnamba 04/16/09/2018.

 batuuze nga beesaze akajegere olwa alwanga eyakwatiddwa mu kitundu kyabwe Abatuuze nga beesaze akajegere olwa Nalwanga eyakwatiddwa mu kitundu kyabwe.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaavabazigu1 220x290

Abagambibwa okubba Abachina e Nkoowe...

ABAVUBUKA abagambibwa okubbisa eryanyi nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti Enkulu etuula...

Sooto2 220x290

Embeera ya Ppaaka Enkadde: Okw'enkuba...

Enkuba bw'etonnya Ppaaka enkadde fuula nga kiraalo kya nte!

Kubbiri6 220x290

Olutalo lwa Ssennyonga ne Kakande...

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga aguze ekizimbe okumpi n'ekkanisa ya Nabbi Samuel Kakande ku bbiri e Mulago, embiranye...

Kabz 220x290

Kabushenga asiimye KCCA FC

"Kino kigenda kumpaliriza okulaba emipiira gya KCCA nga ntandiika n'ogwa CAF Confederations Cup.

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...