TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Tewali Muzungu ampa ssente okutabula eggwanga - Bobi Wine

Tewali Muzungu ampa ssente okutabula eggwanga - Bobi Wine

By Martin Ndijjo

Added 18th September 2018

“Tusabire eggwanga lyaffe Katonda ayongere okuggula amaaso n’emitima gy’abatukulembera bamanye nti baliwo kuweereza bantu era oluvannyuma lwa byonna Mukama atusaasire tusobole okukyusa Uganda ng’abantu be balina obuyinza (Masters) ate abakulembeze babeere baweereza baffe (Servants) nga bwe kiri mu mawanga amalala”-Bobi Wine

Bobius1 703x422

Bobi Wine ng’ayogera eri abantu abaakung’aanye mu Boston.

Bya MARTIN NDIJJO
OMUBAKA Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) awakannyizza ebimwogerwako Gavumenti nti alina Abazungu abamuvujjirira ssente atabule eggwanga.
 
Yagambye nti okwo kutiisatiisa okuzze kukolebwa kyokka kati takyalina kyatya kubanga buli ekisoboka bakimutuusizzaako, amagezi gabaweddeko batandise
kumuwaayiriza.
 
Mu Bazungu abagambibwa okumuwa ssente mulimu ne munnamateeka we Robert Amsterdam. Yagambye nti kino si kituufu, bigambo by’abo abali mu gavumenti abaagala okumuggya ku mulamwa gw’aliko.
 
“Buli muzungu gwe bandaba naye okuli ne mikwano gyange bagamba nti banteekamu ssente ekitali kituufu kubanga n’abamu ku Bazungu bano mbasinga ssente wadde ng’ennaku zino ndi mwavu era mbasaba abalinamu ku ssente mutuwagire kubanga
twetaaga ssente mu kaweefube gwe tuliko kubanga abantu baffe bangi abavuddeyo okuwagira omulamwa gwa ‘People Power’ bakwatibwa ate okubeeyimirira mu kkooti kyetaagisa ssente’’.
 
“Kituufu amagezi gabeesibye kubanga ffenna twegasse, tebakyalina kye batulimba era wadde tubatya naye ate bbo batutya nnyo,” Bwe yayongeddeko.
 
Wabula Gavumenti egamba nti Bobi Wine talina kweraliikirira era terina bulabe bwonna bw’ejja kumutuusaako, ky’alina okukola kwe kudda mu Uganda avunaanibwe emisango gy’okulya mu nsi olukwe ate yeewale n’okukola effujjo eritabangula eggwanga.
 mwana ngasaasira obi ine ebyamutuukako gye buvuddeko Omwana ng’asaasira Bobi Wine ebyamutuukako gye buvuddeko.

 

 
Okwogera bino yabadde ayanukula ekibuuzo ekyamubuuziddwa munnamawulire Ronnie Mayanja omu ku Bannayuganda abeetabye mu lukung’aana olwabadde ku wooteeri ya Embassy Suites e Waltham, Boston mu Amerika ku Ssande mwe yasisinkanidde Bannayuganda ababeerayo.
 
Waaviriddeyo ku nsonga eno ng’Omumerika mukwano gwe Jackie Wolfson nnannyini kibiina ky’obwannakyewa ekya ‘Shule Foundation’ bamugobye mu Uganda olw’ebigambibwa nti abadde akoleramu mu bukyamu nga talina mpapula zimukkiriza
kukolera kuno ate Anne Whitehead enzaalwa ya Canada abadde amuyamba mu by’amawulire naye yadduka.
 
Nga tannaba kugenda ku wooteeri, Bobi yasoose kwetaba mu kitambiro kya mmisa ku Klezia ya St. Mary’s e Boston gye yasinzidde n’akubiriza Bannayuganda bonna
gye bali okwagala n’okusabira eggwanga lyabwe era abo abali ku kyeyo yabasabye okudda eka (Uganda) bakulaakulanyeyo.
 
 
“Tusabire eggwanga lyaffe Katonda ayongere okuggula amaaso n’emitima gy’abatukulembera bamanye nti baliwo kuweereza bantu era oluvannyuma lwa byonna Mukama atusaasire tusobole okukyusa Uganda ng’abantu be balina obuyinza (Masters) ate abakulembeze babeere baweereza baffe (Servants) nga bwe kiri mu mawanga amalala”
 
Ku Embassy Suites, yeebazizza abantu bonna mu nsi abaamulwanirira ne banne bwe baakwatibwa mu Arua ne baggalirwa era n’asaasira n’abo abafiiriddwa abantu baabwe mu kaweefube gwe baliko. Abasabye obutatirira bawagire ‘People Power’ ng’agamba nti mwe bayinza okuyisa n’eddoboozi eryawamu okulaga ebyo ebibanyigiriza
n’okukwata obukulembeze.
 
“Tetulina kuddamu kukozesa mmundu okukwata obukulembeze kubanga bonna abayise mu nkola eno gye biggweera ng’eggwanga balifudde lyabwe ssekinnoomu boogera kimu nti baayigga ensolo yaabwe kati tulina kukolera wamu tufune
obuyinza nga bwaffe kyenkanyi.
 
“Ndi musanyufu nti kaweefube waffe ono asobodde okutugatta n’aggyawo enjawukana z’eddiini n’amawanga ezibadde zitulemesa okwegatta, era nkakasa nti tujja
kuwangula.
 
Abo abampita omununuzi (Savior) kubanga nkulembeddemu ‘People Power’ njagala okubagamba nti nze ndi omu ku Bannayuganda obukadde 40 obutulugunyizibwa abantu ab’olubatu era tulina kukolera wamu, era kisobokera ddala ne bwemba siriiwo.
 
Okukakasa kino ebbanga lye nnamala mu kkomera nga sirina na busobozi kulaba oba okusoma amawulire ku bigenda mu maaso abantu mwekolamu omulimu ne
munnwanirira ne bannange bwe twali mu busibe.” Mu kumubuuza ebibuuzo waliwo abaamusabye abakakase oba anaavuganya ku ntebe ya pulezidenti mu kulonda
okuddako n’ebiruubirirwa bye (Vision) eri Uganda n’abategeeza nti mu kiseera kino talowooza ku kya ntebe ya pulezidenti, omulamwa gw’aliko kutereeza ebyo
ebisobaganye omuli n’entambula y’emirimu n’agattako nti Uganda erimu abantu bangi abalina obusobozi okubeera Pulezidenti.
 
Ate ku biruubirirwa yagambye nti ayagala Uganda ey’awamu nga buli muntu asobola okugyeyagaliramu kyenkanyi.
 
Yagambye nti ssente gavumenti z’etandise okuwa ab’omu Ghetto tezijja
kubayamba wabula kubateekerawo mbeera ebasobozesa okwetuusaako bye baagala n’emirimu egy’okukola.
 
Ye Shiekh Abdal Ddumba omu ku baakulembeze b’Abasiraamu e Boston yasabye gavumenti eveeyo ennyonnyole ku Basiraamu abazze battibwa n’abatemu abali emabega w’ebikolwa bino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sev3 220x290

Museveni agguddewo olusirika lwa...

Museveni agguddewo olusirika lwa NRM

Kab2 220x290

Ababadde bazze okupima ettaka emmotoka...

Ababadde bazze okupima ettaka emmotoka yaabwe bagikumyeko omuliro

Lab2 220x290

Kirya yeesozze "quarter" za Uganda...

Kirya yeesozze "quarter" za Uganda Cup n'okontola

Pop1 220x290

Okusunsula abayizi abagenda mu...

Okusunsula abayizi abagenda mu S5 kuwedde

Lop2 220x290

Ababbi balumbye ebyalo abatuuze...

Ababbi balumbye ebyalo abatuuze ne battako omu