TOP

Kitaawe wa Kirumira agobye abaserikale ewuwe

By Musasi wa Bukedde

Added 18th September 2018

“Omwana wange baalemwa okumuwa obukuumi ng’akyali mulamu n’attibwa mu bukambwe kati okukuuma amaka ge nga yafa kigasa ki?’’, Hajji Abubaker Kawooya Mulaalo bwe yeebuuzizza.

Kawooya2 703x422

Kawooya taata wa Kirumira

Bya MUSASI WAFFE
KITAAWE w’omugenzi Afande Muhammad Kirumira atabukidde gavumenti eggye amagye mu maka ga mutabaniwe g’agamba nti gamaze ku famire emirembe.
 
“Omwana wange baalemwa okumuwa obukuumi ng’akyali mulamu n’attibwa mu bukambwe kati okukuuma amaka ge nga yafa kigasa ki?’’, Hajji Abubaker Kawooya Mulaalo bwe yeebuuzizza.
 
Hajji Kawooya yagambye nti, ayagala gavumenti okugumbulula abaamagye bonna mu bwangu okuva mu maka ga mutabani we agasangibwa e Bulenga kubanga gataataganya abantu abagenda okukubagiza.
 
Yategeezezza nti, tebasabangako gavumenti bukuumi bwonna wabula baalabira awo ng’amagye gagumbye mu maka g’omugenzi Kirumira okuva lwe yatemulwa. Basooka kulowooza nti okuziika olunaggwa, ng’amagye gagumbulukula nti kyokka n’okutuusa kati gakyagumbye.
 
Yayongeddeko nti, agenda kuyita mu Afande Sam Omara amuyambeko okutuusa okusaba kwe eri be kikwatako okulaba ng’abajaasi baggyibwa mu maka ga mutabani we kisobozese abakungubazi n’aba famire okwetaaya.
 mugenzi irumira Omugenzi Kirumira

 

 
Mu kiseera kino okuyingira mu maka g’omugenzi Kirumira osooka kwazibwa okuli n’okwennyonnyolako ennyo.
 
Abamu ku babadde bagenda okuli ne bannamawulire baategeezezza nti, abaserikale bamanyi n’okubuuza oba aba famire ya Kirumira bakusuubira oba wabakubidde essimu ekintu ekijja abamu mu mbeera ne bakyusa ne badda gyebavudde awatali kukubagiza na kubuuza ku b’awaka.
 
Ssentebe wa LC I eya Ggogonya, Sarah Kalule agamba nti, naye yeewuunya okusanga abakuumi mu maka ga Kirumira ng’ate mu kitundu temuli mbeera yonna ya butali butebeenkevu.
 
Yayongeddeko nti, Kirumira yadde abadde muserikale naye abadde muntu w’abantu era bangi bagenda mu maka ge okukubagiza abooluganda wabula nga kati abamu batyayo olw’ebibuuzo abaserikale bye bababuuza.
 
Omumyuka w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga Patrick Onyango yategeezezza nti, poliisi yali teyinza butawa famire ya Kirumira bukuumi mu mbeera eno olw’ensonga nti abantu bangi abagendayo ng’abagenze okukubagiza ate nga balina ebigendererwa ebirala.
 
“Tubadde tetunnategeezebwako nti Hajji Kawooya abakuumi tabeetaaga era mmuwa amagezi okutuukirira atwala poliisi y’e Bulenga amutegeeze ku nsonga eno oba okujja ku kitebe kya poliisi e Naggulu tutuule tulabe kye bayinza okusalawo ku nsonga eno” Onyango bwe yagambye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

A Pass yeegobye mu luyimba lwa...

A Pass atabukidde Bebe Cool ku luyimba lwa ‘Corona Distance’, amulanga kumugattika na Fresh Daddy gw'ayita kazannyirizi...

Kagame 220x290

E Rwanda bongezzaayo kalantiini...

Gavumenti ya Rwanda yalangiridde nti eyongezzaayo ennaku abantu ze balina okumala nga tebava waka okutuuka April...

W1240p169s3reutersmedianet68 220x290

Coronavirus: World Bank ewadde...

Bbanka y’ensi yonna yawadde Kenya obuyambi bwa doola za Amerika obukadde 50 okuyambako mu kutangira okulwanyisa...

Kyuka 220x290

Abantu 1,000 bafudde Corona mu...

ABANTU 1,047 olufudde mu Amerika ebintu ne bikyuka. Trump obuyinza bw’okuteekawo kalantiini n’okusibira abantu...

Whatsappimage20200402at65210pm 220x290

Bajjo ayagala Full-Figure amuliyirire...

Bajjo ayagala Full-Figure amuliyirire obukadde 500 lwa kumwonoonera linnya.