TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisita alabudde abalinnyisizza ebisale mu lusoma luno

Minisita alabudde abalinnyisizza ebisale mu lusoma luno

By Lawrence Kitatta

Added 18th September 2018

Abaabadde ab’okuddayo ku Ssande n’okutuusa kati abamu bakyali waka olw’ebisale okulinnya ate nga n’ebintu ebimu ebyasabiddwa biri ku buseere.

Bisale 703x422

Abamu ku bayizi abadda ku ssomero.

Bya LAWRENCE KITATTA NE SCOVIA BABIRYE
Olusoma olufundikira omwaka lwatandise eggulo wakati mu bazadde okwesooza olw’abakulira amasomero okulinnyisa ebisale n’okusaba olukunkumuli lw’ebikozesebwa. Bangi bazzizzaayo abaana kikeerezi.
 
Abaabadde ab’okuddayo ku Ssande n’okutuusa kati abamu bakyali waka olw’ebisale okulinnya ate nga n’ebintu ebimu ebyasabiddwa biri ku buseere.
 
Ekirala abazadde kye beemulugunyizzaako bagamba nti olusoma luno lumpi ate amasomero mu kifo ky’okubakendeereza ku bisale oba okubakuumira awo we babadde, baayongezza bwongeza ekintu ekitali kyabwenkanya.
 
Kyokka minisita w’ebyenjigiriza ebisookerwako, Rosemary Sseninde yawadde
ekiragiro ku masomero ng’agalabula ku kusaba ebintu ebingi nga n’ebimu abazadde
ssi be balina okubigula.
 
Yalambise ebintu ebirina okusabibwa okuli enjeyo, ebikuuta kaabuyonjo
n’okuziyonja, liimu z’empapula ensaamusaamu ate abaana abali mu Baby ne P1 tebalina kutwala bintu bino okuggyako aba P2 n’okudda waggulu.
 
Ebintu ebitakkirizibwa kusabibwa masomero mulimu emikebe gya langi, seminti, ssehhenge, enkumbi, ebitiiyo n’ebirala.
 
Yagambye abakulira amasomero ag’enjawulo obutasaba bazadde bintu bingi kuba olusoma lutuuka okuggwaako nga n’ebimu tebikozeseddwa ekireetera abazadde okufiirwa ensimbi.
 
Sseninde yagambye nti n’amasomero agayongezza ebisale by’amasomero nga
beekwasa ebbeeyi y’ebintu omuli emmere n’ebirala nti eri waggulu ekyo
baakikoze mu bukyamu kuba mu kiseera kino akawunga ebbeeyi eri wansi ddala,
ebijanjaalo nabyo tebiri ku buseere kuba by’ebisinga okukozesebwa.
 
ESSOMERO OKWONGEZA EBISALE LIRINA OKUSABA OLUKUSA
Yakikkaatirizza nti essomero lyonna okwongeza ebisale lirina okufuna olukusa okuva ewa minisita w’ebyenjigiriza nga lirambise bulungi ensonga lwaki lyongezza ebisale nga liyita mu muwandiisi ow’enkalakkalira owa minisitule.
 
Joyce Nabukenya ow’e Zzana agambye nti minisitule ne bw’eneeyogera ku ky’okwongeza ebisale ng’ekizibu ekyo tebakisalidde magezi, baba tebalina kye
bayambye bazadde.
 
Yayongeddeko nti abazadde banyigiriziddwa ekisusse olw’amasomero agongeza
buli kiseera kyokka nga bannanyini masomero tebafuddeeyo .
 
AYOGEDDE KU KY’OKUKABASSANYA ABAANA
Eggulo mu Bukedde twafulumizza nnannyini ssomero lya Hillside SS Matugga eyakwatiddwa poliisi ku misango egy’okusobya ku muyizi we.
 
Ku nsonga eno minisita Sseninde yagambye nti waakufiirawo okulaba ng’omuyizi eyasobezeddwaako afuna obwenkanya era singa kinaazuulibwa nga kituufu, ebbaluwa eyamuwa olukusa okutandikawo essomero yaakusazibwamu n’essomero liggalwe.
 
Yayongeddeko nti, “ebintu bino abazadde bennyini be balina okuyambako tukirwanyise nga tuli kitole kuba abamu ensonga baagala kuzimalira mu bukiiko bwa byalo olwo omwana n’asigala nga tafunye bwenkanya ate ng’atulugunyiziddwa mu bwongo.”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabakafitri1 220x290

Kabaka ayagalizza Abasiraamu Idd...

KABAKA Ronald Muwenda II alagidde Bannayuganda okukuuma emirembe n’okusonyiwagana mu kiseera kino ng’Abasiraamu...

Mknded4 220x290

Famire eziyiridde mu nnyumba nga...

Abasiraamu mu kibuga ky’e Mukono baaguddemu encukwe ku Iddi munnaabwe eyabadde akedde ku maliiri okufumba emmere...

Mknmm3 220x290

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa...

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa Mukono ng’alina Corona virus-atwaliddwa mu kalantiini n’abalala babiri be...

Ssaavasennyonga 220x290

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere...

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere ya bukadde 300 okudduukirira abali ku muggalo

Lockdown309 220x290

Eyali awola ssente azzeeyo mu nnimiro...

ENSWA bw'ekyusa amaaso naawe ng'envubo okyusa ne Charles Tamale envubo agikyusirizza mu nkumbi okubaako ettofaali...