TOP

Abagenda ku kyeyo 54 bakwatiddwa

By Lawrence Kitatta

Added 18th September 2018

MINISITULE y’ensonga z’omunda eraze Bannayuganda 54 abaakwatiddwa ku kisaawe kya Kenyatta International Airport nga bakukusibwa okutwalibwa mu mawanga ga Buwalabu okukola obwayaaya.

Kyeyo 703x422

Binoga ng’ayogerako n’abaana abaakomezeddwawo. Baakwatiddwa ku kisaawe e Kenya.

Bya LAWRENCE KITATTA
MINISITULE y’ensonga z’omunda eraze Bannayuganda 54 abaakwatiddwa ku kisaawe kya Kenyatta International Airport nga bakukusibwa okutwalibwa mu mawanga
ga Buwalabu okukola obwayaaya.
 
Moses Binoga akulira ekitongole kya poliisi ekirwanyisa okukukusa abantu mu minisitule ye yayanjudde abantu bano eri bannamawulire ku Ssande ku minisitule.
 
Yagambye nti bano baakwatiddwa ku Lwokuna akawungeezi nga bamaze okutuusibwa
ku kisaawe we baabadde bagenda okulinnyira ennyonyi ebongerayo.
 
Okubakwata kyaddiridde abakola ku kisaawe okwetegereza ebiwandiiko kwe baabadde bagenda okutambulira omuli ne paasipooti zaabwe nga sitampu ezirimu njingirire ate nga ziraga z’e Kenya.
 
Baabakwasizza poliisi ebanoonyerezeeko eyakizudde nti Bannayuganda. Oluvannyuma baabakwasizza ab’obuyinza okubatwala ku kitebe kya Uganda mu Kenya.
 
Binoga yagambye nti eno gye baafunidde essimu nga babayita okubanona bakomezebwewo kuno. Yannyonnyodde nti Bannayuganda abava wano nga bagenda
mu mawanga ga Buwalabu okukola bangi bagendayo ku lwabwe okuggyako mu mawanga abiri gokka Saudi Arabia ne Jordan.
 
Yalambuludde ku makampuni agaweebwa olukusa okutwala abakozi ebweru w’eggwanga okukola nti gali 101 era ng’enkalala zaabwe ziri ku poliisi divizoni zonna mu ggwanga, ewa Diso, Minisitule y’ensonga z’omunda ne ku minisitule ey’ensonga z’abakozi.
 
BALOMBOZZE BYE BAAYITAMU OKUTUUKA E KENYA
Omu ku bawala ataayagadde kumwatuukiriza mannya yagambye nti bwe yali atwalibwa okuva wano, yafuna mukwano gwe mu bitundu by’e Mukono eyamusomera
eby’emirimu.
 
Yamusaba okumuwa Paasipooti wabula olunaku lwe yagimuwa lwe lwasembayo okugiraba ekyaddirira yamuyita buyisi n’amutegeeza nga bwe bagenda e Kenya.
 
Yagambye nti baalinnya bbaasi ne bagenda naye nga n’okuyita ku nsalo byali bya kwebuzaabuza ky’atasooka kutegeererawo.
 
Bwe baatuuka e Kenya, baalina ekiyumba gye baatuukira wabula nga waliyo banne abalala bangi omwali Abanyarwanda, Bannayuganda n’Abarundi.
 
Yagambye nti ekiyumba kino mwalimu abawala abasoba mu 200 wabula yategeddeko
nti omukazi ayitibwa Jackie nti ye nnannyini byo era yabadde abatwala Oman okukola kyokka ng’ebbanga ery’emyezi esatu gy’abadde amazeeyo abadde tamulabangako.
 
Yagambye nti bwe baatuuka e Kenya, baabayingiza ekikomera era ng’eyo tebakkirizibwa kufuluma era nga buli kimu bakikolera omwo era ng’omukisa gukukwata bukwasi ne bakulonda kw’olwo ne bagamba nti ggwe ogenda era
nga ku luno yabadde omu ku bannamukisa abaalondedwaamu okutwalibwa.
 
Agamba nti waliyo banaabwe abalala abasigaddeyo nga n’abamu bali mu myezi mukaaga e Kenya era tebamanyi lwe baligenda kyokka nga n’ebyokulya tebabirina bulungi ate nnannyini biyumba ebyo olumanya nti bamutegedde alina ebifo bingi mu
Nairobi gy’abakuumira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namatambaga1 220x290

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa...

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa ne kabiite we mu kitiibwa

Kiru10 220x290

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe...

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe nga Kirumira bwe yakola - Bobi Wine

Twa 220x290

Museveni agguddewo olutalo oluggya...

PULEZIDENTI Museveni atongozza kaweefube ow’enjawulo agenderera okumalirawo ddala Siriimu omwaka 2030 we gunaatuukira....

Many 220x290

Eyazadde abaana 5 omulundi gumu...

Honoranta Nakato, 44, abaana yabazaalira mu ddwaliro lya Women’s Hospital ,International and Fertility Centre e...

Dpn6kdew0aa2dy 220x290

Putin asuubizza okuyamba Uganda...

PULEZIDENTI wa Russia, Vladimir Putin, akubagizza Uganda olw’okufiirwa abantu abasoba mu 46 abaabuutikiddwa ettaka...