TOP

Polof. Bukenya ayogedde ku biriwo mu ggwanga

By Musasi wa Bukedde

Added 19th September 2018

EYALIKO omumyuka wa pulezidenti Polof. Gilbert Baalibaseka Bukenya avumiridde ebikolwa ebitali bya buntu ebiriwo ensangi zino.

201111largeimg214nov2011072058023703422703422 703x422

Polof. Gilbert Baalibaseka Bukenya

Ebikolwa bino agambye nti tebisaana kubeera mu ggwanga eririna moto egamba nti, ‘Ku lwa Katonda n’ensi yange’ kubanga abantu tebakyalina mutima gusonyiwa.

Bukenya okwogera bino yabadde mu lukuhhaana lwa bannamawulire olwategekeddwa ekitongole kya Heal the Planet Global Organization ku Hotel Africana mu Kampala eggulo.

Ekibiina kino kiteeseteese olukuhhaana olw’awamu okusonyiwagana olugenda okubeerawo nga October 29 ku Twin Towers wansi w’omulamwa “Okusonyiwagana n’okussa ekitiibwa mu ddembe ly’obuntu by’ebiseera bya Uganda eby’omu maaso” okusinziira ku Ernest Benjamin Kivumbi pulezidenti, waakyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kim1 220x290

Minisita Muyingo akubirizza amatendekero...

Minisita Muyingo akubirizza amatendekero okussa essira ku masomo agalina akatale

Det22 220x290

Ssemaka ow'emyaka 56 atudde senior...

Ssemaka ow'emyaka 56 atudde senior 6 ne mutabani ne basibagana mu bubonero.

Nom1 220x290

Poliisi ennyonnyodde entabula y'ebidduka...

Poliisi ennyonnyodde entabula y'ebidduka ku mukolo gw'okutuuza omulabirizi

Grave1 220x290

Abaffamire ya Nkoyooyo batabuse...

ABA FFAMIRE y’eyali Ssaabalabi­rizi w’ekkanisa ya Uganda, omu­genzi Bp. Livingstone MpalanyiNkoyoyo baguddemu ekikang­abwa...

Sit24 220x290

Abawala babuutikidde abalenzi mu...

Abawala babuutikidde abalenzi mu bya senior 6