TOP

Poliisi eweze ebikujjuko mu kudda kwa Bobi Wine

By Muwanga Kakooza

Added 19th September 2018

POLIISI erangiridde amateeka agagenda okugobererwa mu kudda kw’omubaka wa Kyadondo East Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga ‘Bobi Wine’ mw’eweredde ebikujjuko n’enkung’ana zonna ezibadde ziyinza okubaawo mu kudda kwe.

Kayima 703x422

Omwogezi wa poliisi Emilian Kayima (ow’okubiri ku kkono) n’abakungu abalala okuli Asuman Mugenyi (asooka ku kkono), Moses Kafeero ne Norman Musinga .

POLIISI erangiridde amateeka agagenda okugobererwa mu kudda kw’omubaka wa Kyadondo East, Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga ‘Bobi Wine’ mw’eweredde ebikujjuko n’enkung’aAna zonna ezibadde ziyinza okubaawo mu kudda kwe.

Bobi Wine olunaAtonnya ku kisaawe e Ntebe ajja kwanirizibwa ba famire ye yokka n’oluvannyuma ab’ebyokwerinda bamuwerekere okumutuusa mu maka e Magere ku lw’e Gayaza.

Bobi Wine abadde mu Amerika gye yagenda okujjanjabirwa oluvannyuma lw’okufuna obuvune mu kanyoolagano k’okukwatibwa ab’ebyokwerinda mu kibuga Arua gye yali ne banne nga bagenze okunoonyeza omubaka Kasiano Wadri akalulu.

Yakwatibwa n’abantu abalala 33 ne baggalirwa ku by'okukanyugira emmotoka za Pulezidenti Museveni amayinja ne bayasaako emu endabirwamu era emisango giri mu kkooti e Gulu. Ogw’okusangibwa n’emmundu gavumenti gwe yali emutaddeko yagumuggyako.

Nga boogera eri bannamawulire mu Kampala abakungu ba poliisi okwabadde  omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Emilian Kayima abadde n’abanene ba poliisi  abalala baategeezezza.

‘’Tukitegedde nti omubaka Robert Kyagulanyi akomawo nkya ku Lwokuna nga September 20. Ajja kwanirizibwa ba famire ye bokka era abeebyokwerinda bagenda kumukuuma okuva e Ntebe okumutuusa mu maka ge e (Magere)’’.

Poliisi etegeezezza ekitegedde  nti waliwo abantu abagenda bagaba T’ Shirt emmyuufu  n’okukunga abalala okwetaba mu bikujjuko by’okumwaniriza n’egamba nti bino bimenya mateeka era tebigenda kukkirizibwa kuba bijja kutataaganya enzirukanya y’emirimu.  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gab1 220x290

Omwana agambibwa okubuzibwawo ku...

Omwana agambibwa okubuzibwawo ku lwomukaaga atadde bazadde be ku bunkenke

Man2 220x290

Ebireetera omusajja okusuulawo...

Ebireetera omusajja okusuulawo omukazi gw’afunyisizza olubuto

Deb1 220x290

Ebivaako ‘kaseti’ okugaaya‘tteepu’...

Ebivaako ‘kaseti’ okugaaya‘tteepu’ n’egiremeramu

Web2 220x290

Enkuba egoyezza ekkanisa e Lwengo...

Enkuba egoyezza ekkanisa e Lwengo

Reb1 220x290

Aba Bbanka enkulu bannyonnyodde...

Aba Bbanka enkulu bannyonnyodde lwaki ebimu ku biwandiiko bya Bbanka ezaatundibwa tebabirina