TOP
  • Home
  • Masaka
  •  Abasuubuzi b’e Masaka beezoobye n’abakebera omutindo gw’ebyamaguzi.

 Abasuubuzi b’e Masaka beezoobye n’abakebera omutindo gw’ebyamaguzi.

By Musasi wa Bukedde

Added 19th September 2018

“Abasuubula ebintu bino mubamanyi era mmwe mubakkiriza nga babawadde enguzi bwe mumala n emwefuulira ffe abatalina musango. Lwaki temugenda e Nakawa gye biterekebwa ne mujjamu ebifu nga tebinnajja ku katale?” bakira abasuubuzi bwe babuuza.

Omukoziwekitongolengapakiraebyamaguziebitalikumutindo 703x422

Omukozi w'ekitongole ng'apakira ebyamaguzi ebitali ku mutindo.

Wabaddewo akanyoolagano n’okuwanyisiganya ebisongoza wakati w’abasuubuzi n’abakungu okuva mu kitongole ekikebera omutindo gw’ebyamaguzi, ekya Uganda National Bureau of Standards bwe basazeeko amaduuka mu kibuga Masaka ne batandika okuyoola ebintu ebitatuukana na mutindo.

Kino kiggye abasuubuzi mu mbeera ne batandika okuboogerera ebisongovu n’abamu okukalambira nti ebyaabwe tebijja kutwalibwa naye okukkakkana ng’abeekitongole awamu ne poliisi babasinzizza amaanyi era ebintu  bya bukadde ne biyoolebwa ne bitwalibwa ku poliisi.

Abasinze okukosebwa be batunda eby’amasannyalaze ku luguudo lwa Elgin ne Supermarket ez’enjawulo mu Nyendo ezitunda ebintu ebitali ku mutindo ate ng’ebisinga byayitako. Ebyakwatiddwa mw’abaddemu ebyamasannyalaze ng’amataala, ebyuma ebifumba amazzi, ebizigo, toilet papers n’ebirala bye bagamba nti bya bulabe eri obulamu bw’abantu.

Newankubadde abasuubuzi abamu baayagadde okuggalawo amaduuka, poliisi teyabaganyizza nga abeekitongole kya UNBS olutandise ogwaayo ne batandika okwezooba nabo nga bagamba nti ebintu bye batunda byonna bya mutindo. Obwedda balangira ekitongole kino okulya enguzi nga babalumiriza  okukkiriza ebyamaguzi ebifu okuyingira ku katale ate ne bamala ne batigomya ababisanga ku katale  nga byakkirizibwa dda.

“Abasuubula ebintu bino mubamanyi era mmwe mubakkiriza  nga babawadde enguzi bwe mumala n emwefuulira ffe abatalina musango. Lwaki temugenda e Nakawa gye biterekebwa ne mujjamu ebifu nga tebinnajja ku katale?” bakira abasuubuzi bwe babuuza.

Oluvannyuma lw’okuwamba ebintu ebyenjawulo poliisi yeezoobye n’abasuubuzi abaabadde baagala waakiri bye baakutte byokebwe nga balaba nga bagamba nti bino ate biddamu ne bitundibwa ne bikomawo ku katale kyokka poliisi n’ebasinza amaanyi n’ebibaggyako.

Sarah Nantongo eyakuliddemu ttiimu eno yagambye nti ebintu bye baakutte ebisinga bikukusibwa okuyingizibwa mu ggwanga, yayongeddeko nti abasuubuzi nga tebannaggyibwako byamaguzi babasaba empapula kwe byakakasibwa okuyingizibwa mu ggwanga gavumenti ebaliyirire oba lisiiti okuva ku baabibaguza olwo bbo baliyirire abasuubuzi olw’okubaguza ebicupuli kyokka bonna baalemereddwa okulaga empapula zino ekikakasa nti baabikukusa bukukusa okubiyingiza eggwanga.

Yategeezezza nti obuvunaanyizibwa bwabwe kutaasa Bannayuganda ku bintu ebiyinza okukosa obulamu bwaabwe, “kino tukikola kutaasa bantu abeeyambisa ebintu bino kubanga bya bulabe eri obulamu bwabwe.” Yanokoddeyo omuliro ogukwata ebizimbe n’obubenje obuva ku masannyalaze, endwadde nga kkookolo  nti bino byonna biva ku bikozesebwa ebikyaamu ebiri ku katale.

Vicent Kasumba omu ku bakulembera abasuubuzi mu kibuga Masaka yasabye ekitongole kino okwongera amaanyi  mu kunyweeza ensalo ebyamaguzi bino we biyita kubanga abasinga okunyigirizibwa ate si beebabiyingiza mu ggwanga.

Ebikwekweto bino bikyagenda mu maaso mu Masaka era abasuubuzi bangi baweze obutaddamu kuggulawo maduuka gaabwe olw’okutya okubayoolako emmaali.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Keb2 220x290

Vicent Ssegawa akyadde ewa ssenga...

Vicent Ssegawa akyadde ewa ssenga wa mukyala we gwe yaggya ku banoonya

Tip1 220x290

Jennifer Musisi akoledde abasambi...

Jennifer Musisi akoledde abasambi ba KCC n'abawagizi akabaga

Wab2 220x290

Tukuyigiddeko bingi ng'oweereza...

Tukuyigiddeko bingi ng'oweereza mu kkanisa

Dep2 220x290

Jjajja otukoze bulungi okutulekera...

Jjajja otukoze bulungi okutulekera omusingi gw'eddiini mu bulamu

Rp1 220x290

Eddiini gye watusigamu etuyambye...

Eddiini gye watusigamu etuyambye okuba obumu