TOP

‘Abakyala mukomye okwetonaatona emibiri’

By Musasi wa Bukedde

Added 19th September 2018

AKULIRA ekibiina ky’abakyala abafumbo mu bulabirizi bwe Namirembe ekya Mother’s Union, Josephine Kasaato akuutidde abakyala okukomya okwetonaatona emibiri gyabwe mu ngeri enkyamu kibayambe okubeera ekyokulabirako eri abalala.

Wereza 703x422

Abamu ku bakyala b’abaawule abeetabye mu lukuhhaana.

Kasaato yategeezezza nti abakyala b’abaweereza balina kuba kyakulabirako kinene mu ggwanga.

Yabadde mu lukung'aana lw’abakyala b’abaawule mu bulabirizi bw’e Namirembe olubeerawo buli mwaka nga lwategekeddwa ku Eka Hotel e Munyonyo.

Ate mukyala wa Ssaabadinkoni w’e Mengo, John Gitta Kavuma nga ye Margaret Kavuma yasoomoozezza abakyala abambala enkunamyo n’engoye ezitabaweesa kitiibwa ekituuse okubatwalira mu kifaananyi ekirala.

Olukuhhaana luno lwaggulwawo ku Lwomukaaga, mukyala w’Omulabirizi w’e Namirembe, Faith Luwalira eyasaba Abakristaayo okuteeseza awamu n’okuba abanywevu kubanga eggwanga lijjudde ebikolwa eby’ekko bingi omuli ettemu, okutulugunya abaana, obutabanguko mu maka n’ebirala nga birina kukomezebwa okuyita mu kukoowoola Mukama.

Ssentebe w’ekibiina ky’abakyala b’abaawule, Agnes Nnalongo Kisakye yategeezezza nti buli mwaka basisinkana ng’abakyala b’abaweereza ne beebuulirira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsa 220x290

Nnejjusa ekyanziggya mu kusoma...

Omuyimbi Busy Criminal yejjusa ekyamuggya mu kusoma ntandike okuyimba, agamba nfubye okukuba emiziki naye tebinnaba...

Omugagga abadde avunaanibwa okwekomya...

Omugagga abadde avunaanibwa okwekomya ebintu bya mukyala we ayimbuddwa

Kwata 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YATUUSE DDA...

Tukulaze omusajja gwe baakutte mu bukambwe ne bamukubisa ebigala by’emmundu mu Kampala. Aba famire ye bagguddewo...

Hib2 220x290

EBIKWATA KU KICONCO

EBIKWATA KU KICONCO

Co2 220x290

Akakiiko kakunyizza Kiconco ku...

Akakiiko kakunyizza Kiconco ku ttaka ly’e Lusanja