TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Leero mu mboozi z'Omukenkufu tukulaze ennima ya ‘Flax’ ekuwa ssente mu myezi ena

Leero mu mboozi z'Omukenkufu tukulaze ennima ya ‘Flax’ ekuwa ssente mu myezi ena

By Musasi wa Bukedde

Added 19th September 2018

WIIKI ewedde nawandiise ku birime by’osobola okulima n’ofunamu ssente mu nkuba eno etonnya. Ekimu ku bye nakonyeeko kye kya ‘flax’ era abasomi bange ne bansaba okwongera okulambulula ku nnima ya ‘flax’ ezza amagoba.

Funayo1 703x422

Ensigo za ‘Flax’ nga bwe zifaanana.

ENTEEKATEEKA Y’ENNIMIRO

Ennimiro w’ogenda okulima olina okusooka okugikabala obulungi n’ogonza ettaka. Funa ekigimusa ekya nakavundira, obusa, kalimbwe avudde mu nkoko ez’amagi nga biwoze bulungi.

Bitabule mu ttaka ly’ogenda okusimbamu obusigo bwo. Bw’oba tosobodde kutabulamu nga tonnasimba, oyinza okugimusiza kungulu. Musimbe butereevu mu binnya by’osimye mu layini.

Okuva ku kikolo ekimu okutuuka ku kirala lekawo ffuuti bbiri ate ne mu layini wakati nawo olekewo ffuuti bbiri.

Mu binnya mw’osimba, birina okuba bya yinsi ssatu kungulu ne wansi. Kino kitegeeza nti okwanguyirwa okusima ebinnya olina okuba ng’okozesa akaguwa.

Omukebe gumu ogwa 10,000/- gusimba yiika. Simba obusigo busatu mu kinnya. Ssinga obeera tewatabula ttaka, lindako bumale okumera ogimusize kungulu, kuba bw’okikola nga waakasimba kijja kuvunza obusigo.

Nga bumaze okumera, ebigmusa biteeke mu mabanga agali mu layini. Mukuume nga temuli muddo, kasita atandika okumulisa teekako ebigimusa nga birimu ekirungo kya ‘Potassium” okugeza NPK.

Bw’oba tosobola kugula NPK, funa ebikolokoomba n’ebikuta by’amatooke obikaze n’oluvannyuma obyokye, evvu eribivaamu olifuuyireko ng’otabula kkiro emu mu liita z’amazzi 20.

Potassium ayamba ekirime kino okubala obulungi, okugejja n’okuvaamu butto omungi bw’otuuka okukikamula.

Ate bw’oba nga wakozesa obusa kimuyamba obutakulukuta n’anywera mu ttaka ekirime kyo ne kifunamu.

Ensigo nga zikyali nto, zijja kubeera mu kapiira akakiragala era bw’olaba nga kengedde omanya nti akuze, ng’onogamu obwo bwokka obwengedde obwanike mu kifo ekitukula obulungi.

Buteeke mu buveera obupya n’oluvannyuma obukube buveemu owewe bulungi. Bw’omala okuwewa buleete tubugule ku 20,000/- buli kkiro.

Osobola okumunogera emyezi mukaaga wabula agenda akendeera mpolampola ng’ebirime ebirala bwe biri.

Ennimiro esobola okuwangaala emyaka ebiri. Gw’okungudde osobola okuddamu n’omusimba era naye akola bulungi.

Wiiki ejja ngenda okukulaga emigaso gy’ebyobulamu egiri mu ‘Flax’ Asangibwa ku Equatorial Mall dduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namatambaga1 220x290

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa...

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa ne kabiite we mu kitiibwa

Kiru10 220x290

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe...

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe nga Kirumira bwe yakola - Bobi Wine

Twa 220x290

Museveni agguddewo olutalo oluggya...

PULEZIDENTI Museveni atongozza kaweefube ow’enjawulo agenderera okumalirawo ddala Siriimu omwaka 2030 we gunaatuukira....

Many 220x290

Eyazadde abaana 5 omulundi gumu...

Honoranta Nakato, 44, abaana yabazaalira mu ddwaliro lya Women’s Hospital ,International and Fertility Centre e...

Dpn6kdew0aa2dy 220x290

Putin asuubizza okuyamba Uganda...

PULEZIDENTI wa Russia, Vladimir Putin, akubagizza Uganda olw’okufiirwa abantu abasoba mu 46 abaabuutikiddwa ettaka...