TOP

Kkooti zonna zaakujjukira Benedicto Kiwanuka

By Musasi wa Bukedde

Added 19th September 2018

Mu 1972 abajaasi ba Amin baalumba Benedicto Kiwanuka mu ofiisi ye ku Kkooti Enkulu ne bamuwalawala mu kifo ekitaategeerekeka ne bamutta nga n’okutuusa kati teri amanyi mulambo gwe gye gwaziikibwa.

Courtgavelscales1024683 703x422

Kkooti zonna mu ggwanga zaakusigala nga nzigale ng’essiga eddamuzi lijjukira emirimu amatendo n'obuweereza bwa Ssaabalamuzi Benedicto Kiwanuka eyattibwa ku mulembe gwa Amin. 

Mu 1972 abajaasi ba Amin baalumba Benedicto Kiwanuka mu ofiisi ye ku Kkooti Enkulu ne bamuwalawala mu kifo ekitaategeerekeka ne bamutta nga n’okutuusa kati teri amanyi mulambo gwe gye gwaziikibwa. 

Okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa omuwandiisi wa kkooti,  Esta Nambayo, kkooti zonna ku Lwokutaano tezijja kukola abalamuzi ne balooya basobole okwetaba mu mukolo ogugenda okuba ku Kkooti Enkulu. 

 

 mugenzi enedicto iwanuka Omugenzi Benedicto Kiwanuka

 

Nambayo era alagidde abalamuzi bonna okwongezaayo emisango gyonna egibadde egy’okuwulirwa ku Lwokutaano. 

Pulezidenti Museveni y’asuubirwa  okubeera omugenyi omukulu ng’era omukolo gusuubirwa okwetabwako Ssaabalamuzi eyawummula, Wako Wambuzi ng’omwogezi omukulu. 

Mu kiseera Benedicto Kiwanuka we yattibwa, yalina emyaka 46 gyokka. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Keb2 220x290

Vicent Ssegawa akyadde ewa ssenga...

Vicent Ssegawa akyadde ewa ssenga wa mukyala we gwe yaggya ku banoonya

Tip1 220x290

Jennifer Musisi akoledde abasambi...

Jennifer Musisi akoledde abasambi ba KCC n'abawagizi akabaga

Wab2 220x290

Tukuyigiddeko bingi ng'oweereza...

Tukuyigiddeko bingi ng'oweereza mu kkanisa

Dep2 220x290

Jjajja otukoze bulungi okutulekera...

Jjajja otukoze bulungi okutulekera omusingi gw'eddiini mu bulamu

Rp1 220x290

Eddiini gye watusigamu etuyambye...

Eddiini gye watusigamu etuyambye okuba obumu