TOP
  • Home
  • Kasababecca
  • Mujje mbalage ekitone ly’okuyimba – Gravity Omutujju

Mujje mbalage ekitone ly’okuyimba – Gravity Omutujju

By Martin Ndijjo

Added 19th September 2018

Oluvannyuma lw’emyezi ebiri ng’ali mu kutendekebwa okwa kasammeme n'okugoggola eddoboozi, Gravity Omutujju ayise abawagizi be abalage waaka ku konsati ya Gravity Omutujju etuumiddwa “Embuzi Zakutudde Concert

Grav 703x422

Gravity

NG’EBUULA ennaku biri okutuuka ku konsati ya Gravity Omutujju etuumiddwa “Embuzi Zakutudde Concert’ okubawo, Gravity akunze abawagizi be n’abantu abalala okujja mu bungi ajjagulize wamu nabbo emyaka omunana gy’amaze mu nsike y’okuyimba.

Konsanti eno egenda okubeera ku kisaawe kya Cricket Oval e Lugogo ku Lwomukaaga luno (September 22) ewagiddwa kkampuni ezenjawulo okuli Vision Group efulumya ne Bukedde.

Gravity agambye nti ku mulundi guno waakubeera ku siteegi y’emu ne bannakatemba ba Ebonies muzannyo gwabwe gwe batuumye Embuzi zaakutudde.

Nga bulijjo agenda kuwa abawagizi be eky’enjawulo omuli n’ennyimba empya z’aleese ne z’abadde nazo era awerekeddwako abayimbi bangi ng’okuyingira osasula 10,000/- ne 20,000/- ate abagala emmenza ya kakadde kamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namatambaga1 220x290

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa...

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa ne kabiite we mu kitiibwa

Kiru10 220x290

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe...

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe nga Kirumira bwe yakola - Bobi Wine

Twa 220x290

Museveni agguddewo olutalo oluggya...

PULEZIDENTI Museveni atongozza kaweefube ow’enjawulo agenderera okumalirawo ddala Siriimu omwaka 2030 we gunaatuukira....

Many 220x290

Eyazadde abaana 5 omulundi gumu...

Honoranta Nakato, 44, abaana yabazaalira mu ddwaliro lya Women’s Hospital ,International and Fertility Centre e...

Dpn6kdew0aa2dy 220x290

Putin asuubizza okuyamba Uganda...

PULEZIDENTI wa Russia, Vladimir Putin, akubagizza Uganda olw’okufiirwa abantu abasoba mu 46 abaabuutikiddwa ettaka...