TOP

Bba w’omuserikale bamukwatidde mu bubbi

By Paddy Bukenya

Added 20th September 2018

BBA w'omuserikale wa Poliisi bamukwatidde mu bubbi ng’amenya edduuka abatuuze ne bamukuba ne bamwasa omutwe ne bookya n’emmotoka ye.

Bba 703x422

Waswa Ssempijja bba w’omuserikale akola ku kunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi y’e Kanoni mu Gomba, Hellen Hashya yakwatiddwa abatuuze b’e Bukasa mu ggombolola y’e Kituntu mu Mpigi ng’agezaako okumenya edduuka ly’omutuuze.

Ssempijja ng’ono musawo wa kinnansi e Waduduma mu Bulo-Butambala okukwatibwa kiddiridde abatuuze b’e Bukasa okuwulira ababbi abamenya edduuka lya mutuuze munaabwe ategeerekeseeko erya Kigundu ne bakuba enduulu ababbi ne badduka ne balekawo emmotoka gye bagiddemu ekika kya Premio nnamba UAL 300T.

Oluvannyuma Ssempijja yakomyewo okuginona we baamukwatidde. Poliisi yeyamutaasizza ku batuuze olwo ekiruyi abatuuze ne bakimalira ku mmotoka eyabengeye n’eggwawo.

Okusinziira ku batuuze, babadde baludde nga baliimisa mmotoka y’ababbi eno era nga yasoose kulawuna akawungeezi olwo ne babalumba ku ssaawa 9:00 ez’ekiro ne batandika okumenya amaduuka.

Ssempijja ebyokubba abyegaanye n’ategeeza nti mmotokaye abadde agirese ku loogi ng’agenze kuwummulamu n’asanga nga bagigyewo kwe kugiwondera ne bamukwata. Yayise mukyala we omuserikale, Hashya amuyambe okumuwolerezaako kyokka poliisi n’emwongerayo e Mpigi.

Mu mmotoka mwasangiddwaamu magalo ennene, emisumeeni n’ebyuma ebirala ebyeyambisibwa mu kumenya amayumba ne jaketi y’amagye kyokka n’abyegaana nti kirabika mulwaddewe yeyabitaddemu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Benitez22 220x290

Benitez munyiivu olwa Newcastle...

Newcastle yeggyeeko omutendesi Benitez oluvannyuma lw'endagaano ye okuggwaako.

Oketchinstructinghisstudentswebuse 220x290

Oketch obwavu abugobye na kukola...

Mu kukola fulasika z'embaawo mwe nfuna ssente

Wanikaamaguluwebuse11 220x290

Bw'oyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa...

By'olina okukola okuyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa wa musawo okumutaasa obuzibu obuyinza okumutuukako

Lan1 220x290

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero...

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero mu Badminton

Gr2 220x290

Abagambibwa okutta owa Mobile Money...

Abagambibwa okutta owa Mobile Money babazizza e Zzana