TOP
  • Home
  • Agawano
  • Abagagga 36 baggyiddwaako abaserikale ababakuuma

Abagagga 36 baggyiddwaako abaserikale ababakuuma

By Musasi wa Bukedde

Added 20th September 2018

ABAGAGGA mu bitundu bya Kampala, Wakiso, Mukono, n’awalala baggyidwaako abaserikale abaabaweebwa eyali akulira Poliisi Gen. Kale Kayihura.

Occc 703x422

Aduumira Poliisi mu ggwanga, Martin Okoth Ochola

Mu Kampala mwokka, abagagga 36, bebaggyiddwaako abaserikale ku biragiro bya IGP Martin Okoth Ochola.

Mu kiwandiiko kye yawadde abakulira Poliisi ez’enjawulo, Ochola, yasabye omuntu yenna awulira ng’obulamu bwe bwetaaga abakuumi abafune okuva mu bitongole eby’obwannannyini.

Abagagga okuli John Bosco Muwonge, John Sebalamu, Drake Lubega, Ephraim Ntaganda, Hamis Kiggundu n’abalala, baamaze dda okwekubira enduulu eri omukulu wa Poliisi nga baagala babaddize abaserikale.

Ensonda mu Poliisi zaategeezezza nti, waliwo abagagga Kayihura be yali yawa abaserikale olw’enkolagana gye baalina naye ng’omuntu kyokka nga mu mateeka, omuntu aweereddwa abaserikale ba Poliisi okumukuuma eteekeddwa okusasula omusolo eri gavumenti buli mwezi, ekibadde kitakolebwa.

Bino we bijjidde ng’abantu bali mu kutya olw’ettemu erikolebwa ku bantu ab’amannya mu ggwanga, era ng’eyaakasemba okutemulwa ye ASP Muhammad Kirumira, eyali aduumira Poliisi mu disitulikiti y’e Buyende.

POLIISI EYOGEDDE

Omwogezi wa Poliisi, SSP Emilian Kayima yakakasizza nti olukiiko lwa Poliisi olw’oku ntikko lwatuula ne lusalawo okuyimiriza abaserikale ababadde bakuuma abantu bano naddala abo ababadde babeera mu maka gaabwe.

“Tulina abaserikale batono nga bwe tusalawo okuwa buli muntu abaserikale kitubeerera kizibu okumatiza bannayuganda bonna kwe kusalawo essira okulissa ku bukuumi obw’awamu mu byalo abantu gye bakolera, gye basula, oba mu nguudo gye bayitira,” Kayima bwe yayongeddeko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namatambaga1 220x290

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa...

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa ne kabiite we mu kitiibwa

Kiru10 220x290

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe...

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe nga Kirumira bwe yakola - Bobi Wine

Twa 220x290

Museveni agguddewo olutalo oluggya...

PULEZIDENTI Museveni atongozza kaweefube ow’enjawulo agenderera okumalirawo ddala Siriimu omwaka 2030 we gunaatuukira....

Many 220x290

Eyazadde abaana 5 omulundi gumu...

Honoranta Nakato, 44, abaana yabazaalira mu ddwaliro lya Women’s Hospital ,International and Fertility Centre e...

Dpn6kdew0aa2dy 220x290

Putin asuubizza okuyamba Uganda...

PULEZIDENTI wa Russia, Vladimir Putin, akubagizza Uganda olw’okufiirwa abantu abasoba mu 46 abaabuutikiddwa ettaka...