TOP

Boogedde ebikankana mu kuziika Dr. Mugimu

By Musasi wa Bukedde

Added 20th September 2018

DR. David Mugimu eyafudde ng’alumiriza abaserikale okumunyagako obulindo bw’ensimbi, eggulo yaziikiddwa e Kagganda mu Ggombolola y’e Kingo Lwengo wakati mu booluganda abalumiriza bannaabwe okubeera mu lukwe olwamuviirako okufa.

Pala0 703x422

Abooluganda lwa Mugimu nga bamuziika ku biggya bya bajjajaabe e e Kagganda mu Ggombolola y’e Kingo - Lwengo

Bya TONY KALYANGO NE EDWARD LUYIMBAAZI

Can. Joseph Njagala okuva mu Busumba bw’e Kimwanyi eyakulembeddemu okusaba, yakuutidde abantu buli kiseera okubeera nga beetegese okusisinkana omutonzi kubanga okufa tekulaga ssaawa.

Mulekwa, Kennedy Matovu yeebazizza kitaabwe okubayigiriza okukola. Newankubadde yali abeera Namibia, ekiseera ekitono kye baamulabanga kyabayamba.

Dr. Mugimu baamusanze afiiridde mu nnyumba ku nkomerero ya wiiki ewedde e Namasuba mu Kikajjo ku Lw’e Ntebe.

Abooluganda baagala poliisi ebalage ekiwandiiko kye bagamba nti baakisanze mu nnyumba mwe baasanze omulambo kubanga omukono gwe bagumanyi bulungi. David Mpanga ng’ono kojja w’omugenzi, yasinzidde mu kuziika n’agamba nti babadde bakolagana naye okuva lwe yakomawo mu Uganda.

Nga October 2017, Mugimu bwe yali ava e Namibia gye yali abeera okumala emyaka 27, yatuuka ku nsalo ya Uganda ne Tanzania e Mutukula wano we yalumiririza abamu ku bantu be yali nabo okwekobaana n’abamu ku baserikale ne bamunyagako ssente eziri mu bukadde 700 nga n’emmotoka ssatu ze yali aleese baamulekerako emu era afudde agamba nti ebbiri baazibuzaawo.

David Ssemukasa, nga waaluganda lw’omugenzi, yasabye banne babeere bumu baleme kweyawulayawulamu kubanga abasaasaanya ebigambo ebibaawula mu kiseera kino banoonya luwenda we bayinza okubayingiriramu basobole okwekomya eby’obugagga omugenzi by’alese.

Omulambo baasoose kugusuza ewa kitaawe e Kikunyu Kabonera e Masaka kyokka baaguggyeeyo kubanga yali alaamye kumuziika mu kifo we baaziika nnyina.

BASONZE KU BOOLUGANDA

Okunoonyereza ku nfa y’omugenzi nga kukyagenda mu maaso, owooluganda lwe avuddeyo n’asonga ku booluganda bana nti bandiba nga be bamusse babuzeebuze obujulizi.

Bruce Katumba 19, abadde ayita Mugimu kojja era agamba nti, yabeerako naye okumala emyezi etaano nga yaakadda okuva e Namibia.

Omugenzi yasooka kusula mu wooteeri emu mu Kampala oluvannyuma n’apangisa omuzigo ku kalina emu e Kiwaatule gye yava n’agula amaka e Namasuba mu Kikajjo gye yafiiridde.

Mu maka Mugimu abadde abeeramu n’omukozi gwe yategeezezza nti amumanyiiko lya Hamza n’omuwala abadde muganzi wa Mugimu gw’abadde yeeyitira ‘Honey’.

Mugimu ne baganda be babadde mu kusika muguwa okuva lwe yakomawo mu Uganda mu October 2017 okutuusa lwe yafudde.

Katumba yagambye nti, abadde takyabeera na Kojja we wabula bwe yafudde yagenzeeyo nga bamutegeezezza nti, baamuyise alye emmere nga tawuuna.

Yagambye nti, baamutegeezezza nti Hamza yalingizza wansi w’oluggi n’amulengera nga yeebase ku buliri ng’ebigere birengejja. Katumba agamba nti, emboozi eno baagifumbye okumatiza abantu nti yesse.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Lucas Owoyesigyire yagambye Bukedde nti, Hamza yabategeeza nti, teyali waka mukama we we yafiira, yaddayo n’amukonkona nga taggulawo n’alingiza mu ddirisa kyokka Katumba baamugamba nti baamuyita kulya kyaggulo.

Katumba agamba nti, tewaaliwo nsonga lwaki baali bamenya eddirisa nga baali basobola okuliggula nga baseetula sseetule.

Katumba alumiriza nti, Mugimu batta mutte kubanga baali baagala kwezza byabugagga bye.

Agamba nti n’akapapula akagambibwa nti kaasangiddwa Mugimu we yafiiridde keetaaga okwekebejja.

Ku ssaawa emu ey’ekiro Katumba agamba nti baliraanwa baawulira enduulu ne badduukirira owooluganda omu n’abagoba ng’agamba nti zaabadde nsonga zaabwe za mu nju.

Enduulu zaddamu ku ssaawa 4:00 ez’ekiro ne baddayo ne babategeeza nti Mugimu yali afudde.

Yeewuunya obudde obwo bwonna, ku poliisi baagendayo ku ssaawa 9:00 ez’ekiro.

Agamba nti, owooluganda ono yali tabeera na Mugimu wabula mu kiseera we yafiira, yali mu maka.

Yeebuuza kye yali akimyeyo. Katumba agamba nti, yagenda okutuuka awaka, yasanga omukozi Hamza afulumya mmotoka ya Mugimu ez’ebbeeyi n’okutuusa kati tebamanyi mmotoka gye ziri.

Mugimu mu kwekengera, yakwata ekyapa ky’ennyumba ne kaadi z’emmotoka zonna n’aziwa mwannyina azaala Katumba. Bino abaagala emmaali ya Mugimu baagezezzaako okubimuggyako ebbanga ddene.

Yagambye nti, Mugimu engeri gye yafuna obuzibu, abadde azibuwalirwa okufuna otulo. Abadde yeekuba eddagala ekika kya Ketamine okusobola okufuna otulo.

Mu Amerika, eddagala lino baaliteekako ekkomo ku bungi omuntu bw’alina okukozesa kubanga abamu baali balikozesa mu kifo ky’enjaga.

Katumba agamba nti, Mugimu abadde musawo omukugu era ng’amanyi ekipimo kye yeekuba wabula abaamusse bandiba nga baamubazizza ng’otulo tumukutte ne babaako ekirala kye bamukuba kubanga baamusanze abimbye ejjovu.

BAASOOKA KWAGALA KUMUTTIRA NAMIBIA;

Katumba yagambye nti, omu ku bantu abeefudde abafaayo ng’amaze okufa (amannya gasirikiddwa), yagezaako okumuttira e Namibia atwale emmaali yonna. Era nti yandiba nga yapanze n’abooluganda abalala okutta Mugimu yeddize emmaali nga bwe yali akyagala.

Yagambye nti bwe yamanya nga baagala kumutta, nga n’emmaali ye Gavumenti egiboye, kwe kusalawo okukomawo e Uganda atandike obulamu obupya.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namatambaga1 220x290

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa...

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa ne kabiite we mu kitiibwa

Kiru10 220x290

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe...

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe nga Kirumira bwe yakola - Bobi Wine

Twa 220x290

Museveni agguddewo olutalo oluggya...

PULEZIDENTI Museveni atongozza kaweefube ow’enjawulo agenderera okumalirawo ddala Siriimu omwaka 2030 we gunaatuukira....

Many 220x290

Eyazadde abaana 5 omulundi gumu...

Honoranta Nakato, 44, abaana yabazaalira mu ddwaliro lya Women’s Hospital ,International and Fertility Centre e...

Dpn6kdew0aa2dy 220x290

Putin asuubizza okuyamba Uganda...

PULEZIDENTI wa Russia, Vladimir Putin, akubagizza Uganda olw’okufiirwa abantu abasoba mu 46 abaabuutikiddwa ettaka...