TOP

Babakutte n'emijoozi gy'abawagizi ba Bobi Wine

By Musasi wa Bukedde

Added 20th September 2018

Eggulo abavubuka ba DP bakwatiddwa n’emijoozi egisoba mu 500 ne giyoolebwa okumpi ne ofiisi zaabwe nga kigambibwa nti babadde bateekateeka kukola effujjo mu kwaniriza Bobi Wine.

Bobiwine 703x422

Bobi Wine

Abakwatiddwa kuliko Joseph Katumba ne Sipaya Ssepuuya nga basangiddwa n’emijoozi emipya nga giriko ebigambo 'People Power'.

Kino kitabudde aba UYD ne bategeeza nti balina eddembe okwaniriza omwagalwa waabwe ng’akomawo mu ggwanga.

Charles Wasswa owa UYD yagambye nti wadde poliisi egezezzaako okubataataaganya kyokka tegenda kubaggya ku mulamwa gwa kwaniriza Bobi Wine.

Ate omuteesiteesi mu DP Sulaiman Kidandala Sserwadda yategeezezza nti obukiiko bwonna butaano bwe baataddewo bukola emirimu.

Basalirwa yagambye nti okwaniriza kugenda kubeera kwa mirembe nga tekuliimu ffujjo nti, kyokka n’agattako bakitegeddeko nti abeebyokwerinda abamu bateeseteese okufunayo abavubuka ab’effujjo babambaze emijoozi emimyufu egiriko “People Power' babateeke mu bantu abaaniriza Bobi n’ekigendererwa eky’okukola effujjo olwo poliisi efunire okwo oluwenda olutulugunya abantu n’okuvumaganya Bobi Wine.

Munnamateeka Andrew Kalamagi yagambye nti buli kye bagenda okukola kiri mu mateeka era tebasuubira kukola kintu kyonna kikontana oba ekimenya amateeka nti poliisi esaana okukwatagana nabo mu kifo ky’okubalwanyisa.

Ssentebe wa Kikuubo Mohamed Katimbo ye yawandiikidde Pulezidenti okuyamba okukuuma ebintu by’abasuubuzi okukakasa nti ekitundu kyabwe tekibeeramu ffujjo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bim1 220x290

kkooti ewadde ekiragiro ku mpaka...

kkooti ewadde ekiragiro ku mpaka z'obubina

Lop1 220x290

Eyawambye omwana ku ssomero n'asaba...

Eyawambye omwana ku ssomero n'asaba ssente poliisi emukutte

Kis1 220x290

Omulimu gw'okuzimba ekisaawe kya...

Omulimu gw'okuzimba ekisaawe kya Nakivubo gutambula bulungi

Sarangabaagaembuzinekikondekyekunokwebayitaokugikubaekikondeweb 220x290

Ntunda mitwe gya mbuzi okuweerera...

Emitwe gy'embuzi gye nsasulwa mu kuzibaaga mwe mpeeredde abaana n'okwongerako emirimu emirala.

United1 220x290

Kiikino ekizembe kw’olabira Dubai...

DUBAI eyongedde okussaawo likodi! Ku kizimbe ekisinga obuwanvu mu nsi yonna, egasseeko ekizimbe ekyakulanga “Fuleemu”...