TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abali ku gw’okutta Magara beeyongeddeyo mu kkooti Enkulu

Abali ku gw’okutta Magara beeyongeddeyo mu kkooti Enkulu

By Musasi wa Bukedde

Added 20th September 2018

EBY’OKUTULUGUNYA Abasiraamu abagambibwa okutta Susan Magara bikyalanda. Ensonga bazongeddeyo mu kkooti enkulu y’eba ebawa ekiwandiiko basobole okwekebejjebwa mu ddwaaliro eryetongodde.

Wano 703x422

Abavunaanibwa omusango gw’okutta Suzan Magara nga bali mu kaguli ka kkooti ya Buganda Road.

BYA ALICE NAMUTEBI

Bano okugenda mu kkooti enkulu bawakanya ensala y'omulamuzi Robert Mukanza eyagoba okusaba kwabwe n’abawa amagezi nti bwe baba baagala lipooti y’omusawo balina kugenda mu kkooti enkulu.

Abasiraamu bakyakiremeddeko nti, baatulugunyizibwa mu ngeri ez’enjawulo nga bakyali ku poliisi omwali okubakubisa amasannyalaze ne waya, okubasiibya nga babasibye amaaso n’engeri endala nga kati baafuna obuvune obw’amaanyi kungulu ne munda ng’abamu tebakyasobola kulaba na kuwulira bulungi.

Bano baagala okufuna lipooti y'omusango eyeetongodde basobole okuggula ku bapoliisi omusango gw'okubatulugunya, saako okulaga kkooti nti okukkiriza emisango n'okukola sitaatimenti baakikola luvannyuma lw'okubakaka n’okubatulugunya ennyo.

Ye akulidde oludda lwa gavumenti oluwaabi, Patricia Cingitho yategeezezza omulamuzi Mukanza owa kkooti ya Buganda Road gye baabadde bazze okweyanjula nti okunoonyereza kukyagenda mu maaso era poliisi eneetera okumutegeeza we bakutuusizza.

Abavunaanibwa kuliko: Mahad Kasalita, Yusuf Lubega, Muzamiru Ssali, Hussein Wasswa, Hajara Nakandi, Abubaker Kyewolwa, Hassan Kato, Miiro Ismail Bukenya ne Abas Musa. Wabula n'okutuusa kati tekinnamanyika poliisi weetuuse n’ebyokukomyawo owooluganda lwa Magara, Patrick Kasaija amanyiddwa nga Pato eyaddukira mu South Afrika agambibwa okuba nga ye yaluka olukwe lw'okuwamba n'okutta Magara.

Magara yattibwa mu February omwaka guno oluvannyuma lw'okuwambibwa, omulambo gwe ne bagusuula e Kigo.

Abatemu okutta Magara baasooka kusaba bazadde be obukadde 700 kyokka olwazifuna ne bamutulugunya omwali n'okumusalako engalo nga bwe bakwata akatambi ke baaweereza bazadde be.

Oludda oluwaabi lwategeezezza kkooti nti, okunoonyereza kukyagenda mu maaso abasibe ne bazzibwayo ku limanda okutuusa nga October 3, 2018.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gab1 220x290

Omwana agambibwa okubuzibwawo ku...

Omwana agambibwa okubuzibwawo ku lwomukaaga atadde bazadde be ku bunkenke

Man2 220x290

Ebireetera omusajja okusuulawo...

Ebireetera omusajja okusuulawo omukazi gw’afunyisizza olubuto

Deb1 220x290

Ebivaako ‘kaseti’ okugaaya‘tteepu’...

Ebivaako ‘kaseti’ okugaaya‘tteepu’ n’egiremeramu

Web2 220x290

Enkuba egoyezza ekkanisa e Lwengo...

Enkuba egoyezza ekkanisa e Lwengo

Reb1 220x290

Aba Bbanka enkulu bannyonnyodde...

Aba Bbanka enkulu bannyonnyodde lwaki ebimu ku biwandiiko bya Bbanka ezaatundibwa tebabirina