TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ndirangwa asabye poliisi esookenga kunoonyereza nga tennakwata bantu

Ndirangwa asabye poliisi esookenga kunoonyereza nga tennakwata bantu

By Edward Luyimbazi

Added 20th September 2018

Ndirangwa agambye nti singa poliisi ekwata omuntu ng’emaze okumunoonyerezaako obulungi ku musango gwe babeera bamukwatidde, kyakuyambako okunyweza enkolagana ya poliisi n’abantu kubanga abatalina misango bajja kuba tebakwatibwa.

Supremenew 703x422

Omuduumizi wa Poliisi, Martin Okoth Ochola (ku kkono) ng’ayaniriza Supreme Mufti, Siliman Kasule Ndirangwa ku kitebe kya Poliisi e Naggulu.

SUPREME Mufti  wa Uganda, Sheikh Siliman Kasule Ndirangwa asabye abakulira ebyokwerinda okusookanga okukola okunoonyereza okumala nga tebannakwata gwe basuubira okubeera ng’azzizza omusango

Bino yabyogeredde mu ku kitebe kya Poliisi e Naggulu mu kulambula ebitongole eby’enjawulo mu masekkati ga Uganda. Ndirangwa agambye nti  singa poliisi ekwata  omuntu ng’emaze  okumunoonyerezaako obulungi ku musango gwe babeera bamukwatidde, kyakuyambako okunyweza enkolagana ya poliisi n’abantu kubanga abatalina misango bajja kuba tebakwatibwa.

Omuduumizi wa poliisi, Martin Okoth Ochola ategeezezza  Ndirangwa  nga bw’atukidde mu kiseera ekituufu  nga Poliisi  eri  mu kaweefube wa kukyusa kifaananyi kyayo ekyali kyayonooneka n’ategeeza ng’ensisinkano  eno bw’egenda okubayamba okunyweza enkolagana yaabwe wakati wa Poliisi  n’omuntu waabulijjo.

Yeebazizza Ndirangwa  olw’okufaayo okukolera awamu okugatta Bannayuganda n’ategeeza nti bukyanga ayingira Poliiisi  talabanga ku mukulembeze wa ddiini abakyaliddeko nga ye bw’akoze.

Supreme Mufti Ndirangwa oluvannyuma yasisinkanye olukiiko olufuga ekibuga kya Kampala nga bano babadde bakulembeddwaamu Minisita  wa Kampala, Betty Olive Namisango Kamya ng’eno Ndirangwa yeebazizza abakulembeze mu kitongole kya KCCA olw’emirimu emirungi gye bakoledde Bannakampala.

Abasabye okukyusa mu ngeri gye bakwatamu abatembeeyi mu kibuga n’ategeeza ng’abantu bano bwe beetaaga okulung’amya mu nkola yaabwe ey’emirimu kubanga beeyiya bweyiiya  nga bwe bakwatibwa  ne basibibwa ate bwe bakomawo mu bantu beenyigira mu bumenyi bw’amateeka.

Mu nsisikano eno ku City Hall, Loodi Meeya  wa Kampala, Elias Lukwago asabye Minisita  Betty Kamya  okutuusa obubaka eri Pulezidenti  wa Uganda ng’Abasiraamu bwe batali bamativu olw’engeri gye battibwamu n’amusaba  wabeewo ekikolebwa mu bwangu.

Beti Kamya yeebazizza Ndirangwa  olw’emirimu gy’akoledde Obusiraamu ne Bannayuganda   n’amutegeeza ng’ensisinkano  bw’eyongedde okunyweza enkolagana wakati wa gavumenti n’obukulembeze  bw’Obusiramu obw’e  Kibuli.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namatambaga1 220x290

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa...

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa ne kabiite we mu kitiibwa

Kiru10 220x290

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe...

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe nga Kirumira bwe yakola - Bobi Wine

Twa 220x290

Museveni agguddewo olutalo oluggya...

PULEZIDENTI Museveni atongozza kaweefube ow’enjawulo agenderera okumalirawo ddala Siriimu omwaka 2030 we gunaatuukira....

Many 220x290

Eyazadde abaana 5 omulundi gumu...

Honoranta Nakato, 44, abaana yabazaalira mu ddwaliro lya Women’s Hospital ,International and Fertility Centre e...

Dpn6kdew0aa2dy 220x290

Putin asuubizza okuyamba Uganda...

PULEZIDENTI wa Russia, Vladimir Putin, akubagizza Uganda olw’okufiirwa abantu abasoba mu 46 abaabuutikiddwa ettaka...