TOP
  • Home
  • Agawano
  • Ab'eddwaaliro ly'e Kamuli batubidde n'omulambo gw'omukazi owoolubuto olukulu

Ab'eddwaaliro ly'e Kamuli batubidde n'omulambo gw'omukazi owoolubuto olukulu

By Musasi wa Bukedde

Added 21st September 2018

Poliisi y’e Kamuli n’abakulira eddwaliro ly’e Kamuli batubidde n’omulambo ogw’omukazi eyabadde olubuto olukulu mu ggwanika ly’eddwaaliro, nga kati ennaku taano bukya guleetebwa mu ddwaaliro abooluganda bakyabuze!

Ggwanika1 703x422

Abantu nga bakung'aanidde ku ggwanika ly'eddwaaliro Mulago

Bya TOM  GWEBAYANGA

Omulambo gw’omukazi ono ateeberezebwa okuba wakati w’emyaka 25 ne 30, nga guli lubuto lwa myezi nga munaana, gukyalemedde mu ddwaaliro wadde ng'abantu beesomba buli lunaku okulaba oba omuntu eyafa bamumanyi kyokka buli avaayo awoza kimu 'tetumumanyi'

Omulambo gw'omukyala ono gwasangibwa gugang'alamye ku mabbali g’oluguudo oluva e Kisozi okudda e Kamuli, ku kyalo Kiyunga-Bulamuka naye nga teguliiko kiwandiiko kyonna kuba n'akasawo ke baasangaawo temwali ssimu yadde ekintu kyonna!

Poliisi  omulambo yagutwaala mu ggwanika  ly’e Kamuli, n'eyisa n'ebirango nga ziweze ennaku ttaano abooluganda tebannamanyika.

Omwogezi wa Poliisi mu kitundu kya Busoga North, Michael Kasadha agamba bagenda kuwalirizibwa okuguziika mu limbo y’eddwaliro, abantu be bwe balirabika bamuziikuulayo nga bamubawa.

Kasadha yakubirizza nti okw’ewala nga bino, abantu batambulenga n’endagamuntu kuba buli ssaawa tutambulira mu kufa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ret2 220x290

Proline esuze bulindaala

Proline esuze bulindaala

Yes3 220x290

Uganda esubiddwa eza Afrika

Uganda esubiddwa eza Afrika

Bok1 220x290

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa...

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa bukadde 60

Mis1 220x290

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo...

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo

Kip2 220x290

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa...

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa y’okusiibulukuka Allah agyanukulirawo