TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Yeefudde omulalu n’ayingira ofiisi za NRM abbemu ebiwandiiko

Yeefudde omulalu n’ayingira ofiisi za NRM abbemu ebiwandiiko

By Paddy Bukenya

Added 21st September 2018

Omuvubuka ono yasoose kwesuula mu kidiba ky’ebbumba mu kabuga k’e Mpigi kyokka poliisi y’e Mpigi n’emunnyululayo n’emutwala ku kitebe wabula olutuuseewo n’abuuka ku kabangali ne yeetooloola emmanju okukkakkana ng’ayingidde mu ofiisi.

Omuvubukaabaddeyefuddeomulalungalikukabangaliyapoliisiempigi 703x422

Omuvubuka abadde yeefudde omulalu ng'ali ku kabangali ya poliisi nga tannagiddukako.

OMUSAJJA yeefudde omulalu n’alumba ofiisi  ya NRM n’agezaako okubbamu ebiwandiiko eby’omugaso kyokka bwe yalabye poliisi ne yeemulula n’abulawo.

Kyokka omuwandiisi w’ekibiina kino e Mpigi, Darlington Ssendowooza bwe yalabye ng’omusajja ono ali mu ofiisi eno yeekebejja ebiwandiiko kwe kukubira poliisi era olugirengedde ne yeemulula.

Omuvubuka ono yasoose kwesuula mu kidiba ky’ebbumba mu kabuga k’e Mpigi kyokka poliisi y’e Mpigi n’emunnyululayo n’emutwala ku kitebe wabula olutuuseewo n’abuuka ku kabangali ne yeetooloola emmanju okukkakkana ng’ayingidde mu ofiisi eno mw’asanze  Ssendowooza n’amugobayo olwo n’atandika okutaganjula ebiwandiiko eby’omugaso nga bw’abisomamu n’alondamu by’ayagala n’abissa ku bbali.

Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu Katonga, Joseph Musana, omusajja ono yandiba ng’abadde n’ekigendererwa ky’okubba ebiwandiiko bya NRM n’ategeeza nti bali mu kumuyigga akwatibwe bamutwale e Butabika okukakasa oba mulalu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oketchinstructinghisstudentswebuse 220x290

Oketch obwavu abugobye na kukola...

Mu kukola fulasika z'embaawo mwe nfuna ssente

Wanikaamaguluwebuse11 220x290

Bw'oyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa...

By'olina okukola okuyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa wa musawo okumutaasa obuzibu obuyinza okumutuukako

Lan1 220x290

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero...

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero mu Badminton

Gr2 220x290

Abagambibwa okutta owa Mobile Money...

Abagambibwa okutta owa Mobile Money babazizza e Zzana

Hat1 220x290

Ebivuddeko ettemu okweyongera

Ebivuddeko ettemu okweyongera