TOP

Kirumira bamubbuddemu oluguudo e Mpigi

By Paddy Bukenya

Added 21st September 2018

Abakiise batenderezza Kirumira omwana waabwe enzaalwa y’e Mpambire mu Mpigi Town Council okubeera omusaale mu kutunda n’okufuula ekitundu kyabwe eky’ettutumu olw’ebikolwa bye ebirungi ne bakkiriziganya okumujjuukirira ku luguudo lwe bamubbuddemu n’abaana be bakule balusangewo.

Meeyassenoganomumyukawekansalakaggwangaayogeramulukiikolwampigitowncouncil 703x422

Meeya Sennoga ng'ayogera mu lukiiko. Addiriddwa omumyuka we, kansala Kaggwa..

OLUKIIKO lw’ekibuga kye Mpigi lubbudde mu Kirumira oluguudo ng’akabonero k’okusiima emirimu gy’akoledde eggwanga n’ekitundu kyabwe.

Ekiteeso kireeteddwa meeya w’ekibuga ky’e Mpigi, Richard Ssenoga ne kisembebwa kansala w’omuluka gw’e Mpambire, Charles Kaggwa mu lukiiko lwa Kanso olutudde ku kitebe kya Mpigi Town Council ba kansala ne bassa kimu nti oluguudo oluva e Mpambire okudda e Mpanga okumpi n’awaziikibwa Kirumira lubbulwemu erinnya lya Muhammad Kirumira era nga kati luyitibwa Kirumira Road.

Abakiise batenderezza Kirumira omwana waabwe enzaalwa y’e Mpambire mu Mpigi Town Council okubeera omusaale mu kutunda n’okufuula ekitundu kyabwe eky’ettutumu olw’ebikolwa bye ebirungi ne bakkiriziganya okumujjuukirira ku luguudo lwe bamubbuddemu n’abaana be bakule balusangewo.

Mu lukiiko lwe lumu abakiise baayisizza ekiteeso ky’okuteeka amataala ku nguudo z’ekibuga ky’e Mpigi mu kaweefube w’okukendeeza obumenyi bw’amateeka ekiro obuva ku nzikiza n’okwongera omutindo n’okukulaakulanya ekibuga.

Mu kaweefube w’okutumbula omutindo gw’obyuyonjo mu kibuga ky’e Mpigi, abakiise baasazeewo okuzimba lufula empya okwewala endwadde eziva ku bucaafu ne basalawo n’okuteekawo amateeka ku baweebwa ttenda y’okuyoola kasasiro asusse mu kibuga.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Benitez22 220x290

Benitez munyiivu olwa Newcastle...

Newcastle yeggyeeko omutendesi Benitez oluvannyuma lw'endagaano ye okuggwaako.

Oketchinstructinghisstudentswebuse 220x290

Oketch obwavu abugobye na kukola...

Mu kukola fulasika z'embaawo mwe nfuna ssente

Wanikaamaguluwebuse11 220x290

Bw'oyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa...

By'olina okukola okuyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa wa musawo okumutaasa obuzibu obuyinza okumutuukako

Lan1 220x290

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero...

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero mu Badminton

Gr2 220x290

Abagambibwa okutta owa Mobile Money...

Abagambibwa okutta owa Mobile Money babazizza e Zzana