TOP

Bobi Wine alangiride ekiddako

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd September 2018

ENKAMBI ya Bobi Wine erangiridde nti erumba Masaka ekube olukung'aana olw’amaanyi okunnyonnyola abantu ku biriwo mu ggwanga.

Funa 703x422

Akuliddemu enteekateeka zino, Samuel Lubega Mukaaku, yategeezezza nti olukuhhaana luno lwakubeerawo ng’ennaku z’omwezi 28/9/2018, nga lwakugatta disitulikiti endala nnya.

Mukaaku agamba nti olukung'aana luno era bajja kulweyambisa okuddamu okugatta UYD.

Yagambye nti omulamwa omukulu kunnyonnyola bigendererwa bya People Power naddala mu kiseera kino nga bwekyamaze okweraga nti abantu batandise okufaayo ku bigende mu maaso mu kisinde kya People Power.

Mukaaku yasoomozza ababadde balowooza nti ekisinde kya People Power kya Bobi Wine yekka ng’omuntu, n’agamba nti kino kyavuddewo okusinziira ku bungi bw’abantu abaabadde beewaddeyo okwaniriza omuntu waabwe.

Yayogedde ku mbeera eyabaddewo ku Lwokuna n’agamba nti baakubirizza abawagizi baabwe obutasika muguwa na babyakwerinda olw’obutayagala bawagizi baabwe kufunira buzibu mu kavuyo kano kyokka ekyabasanyusizza, bwe bunkenke gavumenti bwe yabaddeko n’eragira ddala amaanyi ga Bobi Wine n’ekisinde kya People Power aba gavumenti kye baasooka okunyooma.

Bannabyabufuzi ab’enjawulo baayogedde ku mbeera gye baayiseemu eggulo era eyali omubaka wa Makindye East Micheal Mabikke yagambye nti baamusibidde mu maka ge kyokka yasobodde okwebba n’agenda e Magere okwegatta ku banne okwaniriza Bobi Wine.

Mabikke yategeezezza nti abantu baabwe bangi baabakute n’abalala ne babalemesa okutuuka ku kisaawe ky’ennyonyi e Ntebe kyokka wadde baakikoze ekisinde kyeyongedde buganzi.

Yagambye nti obukiiko butaano obwasiddwaawo okukola ku kwaniriza Bobi Wine bw'akoze nnyo era bammemba baabwo bagenda kutuula leero okwongera okugaziya ekiddako kubanga kati People Power ekoledde nga luyiira lwa muliro mu kusaasaanira eggwanga era tewali asobola kuluzikiriza kati.

Sulaiman Kidandala yagambye nti bagenda mu maaso n’okwetegereza embeera naddala abantu baabwe abaakwatiddwa okulaba nga babaggya mu buduukulu bwa poliisi.Yayongeddeko nti ebyabaddewo biraga bulungi nti kati ekisinde kino kya bantu bonna abakooye embeera embi.

“Buli kitundu wakirabye nga kirina abantu baakyo abakiragira eky'okukola. Tewali atambula kugenda mu kitundu kirala wabula ababeera mu bitundu bo bennyini be basalawo eky'okukola akabonero akaalaze nti embeera eri mu ggwanga ekwata ku bonna naye si ya muntu omu” Kidandala bwe yagambye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namatambaga1 220x290

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa...

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa ne kabiite we mu kitiibwa

Kiru10 220x290

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe...

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe nga Kirumira bwe yakola - Bobi Wine

Twa 220x290

Museveni agguddewo olutalo oluggya...

PULEZIDENTI Museveni atongozza kaweefube ow’enjawulo agenderera okumalirawo ddala Siriimu omwaka 2030 we gunaatuukira....

Many 220x290

Eyazadde abaana 5 omulundi gumu...

Honoranta Nakato, 44, abaana yabazaalira mu ddwaliro lya Women’s Hospital ,International and Fertility Centre e...

Dpn6kdew0aa2dy 220x290

Putin asuubizza okuyamba Uganda...

PULEZIDENTI wa Russia, Vladimir Putin, akubagizza Uganda olw’okufiirwa abantu abasoba mu 46 abaabuutikiddwa ettaka...