TOP

Bobi Wine ayogeza maanyi

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd September 2018

NGA yaakatuuka mu maka ge e Magere, yayogezza maanyi wakati mu bikumi n’ebikumi by’abawagizi be abaakuhhaanye okumukulisaayo mu Amerika. Yaweze enkolokooto nti we yakoma waagenda okutandikira.

421977467557107247997131145953289536274432n 703x422

‘Ndi musanyufu okuba nga nkomyeewo mu nsi yange mwe banzaala. Sirina gye ndaga, nja kufiira wano,’ Bobi Wine bwe yategeezezza wakati mu mizira bakira egiva mu bawagizi obwedda abasaakaanyiza waggulu nti ‘obeewo Empologoma y’e Magere’.

Yagambye nti tajja kuggya kigere ku muliro n’avumirira ekya poliisi okumukunguzza ng’emuggya ku kisaawe n’agamba nti kyabadde kikolwa kya butiitiizi.

Yagambye nti abaserikale baamuvumbagidde ava ku nnyonyi.

Yagasseeko nti ng'atuuziddwa mu mmotoka baamuggyeko omuggo gwe yabadde atambuza n’enkoofiira ne bamuteeza nti bamutwala waka kyokka n’abasaba bamukkirize atuule n’omubaka Winnie Kiiza gwe yazze naye kyokka ne bakigaana.

Yababuuzizza ebibuuzo ng’ayagala okumanya lwaki bamukwata era yabadde azizza misango ki? nga tebamunyega."

Bobi agamba mu mbeera eno, teyayise mu mitendera mituufu omuntu ayingira eggwanga okuva ebweru gy'agoberera era abeebyokwerinda baamuwambyeko paasipooti n’empapula ze endala.

Ku nsonga y’obulwadde yagambye nti wadde kati alina enjawulo y’amaanyi, akyalumizibwa mu mugongo ne mu kibegabega ekya ddyo era aky’ali ku ddagala lye baamuwadde n’asuubiza okwogera ebisingawo mu lukuhhaana lwa bannamawulire lwatuuza leero.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namatambaga1 220x290

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa...

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa ne kabiite we mu kitiibwa

Kiru10 220x290

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe...

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe nga Kirumira bwe yakola - Bobi Wine

Twa 220x290

Museveni agguddewo olutalo oluggya...

PULEZIDENTI Museveni atongozza kaweefube ow’enjawulo agenderera okumalirawo ddala Siriimu omwaka 2030 we gunaatuukira....

Many 220x290

Eyazadde abaana 5 omulundi gumu...

Honoranta Nakato, 44, abaana yabazaalira mu ddwaliro lya Women’s Hospital ,International and Fertility Centre e...

Dpn6kdew0aa2dy 220x290

Putin asuubizza okuyamba Uganda...

PULEZIDENTI wa Russia, Vladimir Putin, akubagizza Uganda olw’okufiirwa abantu abasoba mu 46 abaabuutikiddwa ettaka...